Ekyamateeka
22 “Bw’olabanga ente ya muganda wo oba endiga ye ng’ebula, togirekanga mu bugenderevu.+ Ogizzangayo eri muganda wo. 2 Naye muganda wo bw’anaabanga tabeera kumpi naawe oba nga tomumanyi, onoogitwalanga eka ewuwo n’obeera nayo okutuusa muganda wo lw’aliginoonya, olwo n’ogimuddiza.+ 3 Era bw’otyo bw’onookolanga ng’osanze endogoyi ye oba engoye ze oba ekintu kye ekirala kyonna ekinaabanga kimubuzeeko. Obifangako.
4 “Bw’olabanga endogoyi ya muganda wo oba ente ye ng’egudde ku kkubo, togirekangawo mu bugenderevu. Omuyambanga n’ogiyimusa.+
5 “Omukazi tayambalanga engoye z’abasajja, n’omusajja tayambalanga engoye z’abakazi, kubanga buli akola ekintu ekyo Yakuwa Katonda wo amukyayira ddala.
6 “Bw’obanga otambula n’osanga ekisu nga kirimu amagi oba obwana, ka kibe ku muti oba wansi, ng’ekinyonyi kitudde ku bwana oba ku magi, totwalanga ekinyonyi awamu n’obwana bwakyo.+ 7 Ekinyonyi okirekanga ne kigenda naye obwana oyinza okubutwala. Kolanga bw’otyo olyoke obeerenga bulungi era owangaale.
8 “Bw’ozimbanga ennyumba, waggulu ku nnyumba eyo oteekangako omuziziko,+ oleme kuleeta ku nnyumba yo musango gwa kuyiwa musaayi singa wabaawo awanukayo n’agwa.
9 “Tosimbanga nsigo za bika bibiri+ mu nnimiro yo ey’emizabbibu. Bw’onoozisimbanga, ebibala byonna ebiva mu nsigo z’onoobanga osimbye era n’eby’ennimiro y’emizabbibu binaabanga bya kifo kitukuvu.
10 “Tolimisanga nte ng’eri wamu n’endogoyi.+
11 “Toyambalanga lugoye olwakolebwa mu wuzi ez’ebyoya by’endiga nga zitobekeddwamu wuzi eza kitaani.+
12 “Oteekanga ebijwenge ku nsonda ennya ez’engoye z’oyambala.+
13 “Omusajja bw’awasanga omukazi ne yeegatta naye kyokka n’amukyawa, 14 era n’amulumiriza nti yakola ebitasaana era n’ayonoona erinnya lye ng’agamba nti: ‘Nnawasa omukazi ono naye bwe nneegatta naye saalaba kiraga nti mbeerera;’ 15 kitaawe w’omuwala ne nnyina banaatwalanga obukakafu obulaga nti omuwala yali mbeerera eri abakadde ku mulyango gw’ekibuga. 16 Kitaawe w’omuwala anaagambanga abakadde nti, ‘Omusajja ono nnamuwa muwala wange amuwase kyokka n’amukyawa, 17 era kaakano amulumiriza nti yakola ebitasaana ng’agamba nti: “Nkizudde nti tewali kiraga nti muwala wo yali mbeerera.” Buno bwe bukakafu obulaga nti muwala wange yali mbeerera.’ Era banaayanjuluzanga olugoye mu maaso g’abakadde b’ekibuga. 18 Abakadde b’ekibuga ekyo+ banaatwalanga omusajja ne bamukangavvula.+ 19 Era banaamutanzanga sekeri* za ffeeza 100 ne baziwa kitaawe w’omuwala, kubanga omusajja oyo aliba ayonoonye erinnya ly’omuwala wa Isirayiri embeerera,+ era omuwala oyo anaasigalanga nga mukazi we. Takkirizibwenga kumugoba obulamu bwe bwonna.
20 “Naye ky’amulumiriza bwe kinaabanga ekituufu, nga ddala tewaliiwo bukakafu bulaga nti omuwala yali mbeerera, 21 banaaleetanga omuwala ku mulyango gw’ennyumba ya kitaawe, era abasajja b’ekibuga kye banaamukubanga amayinja n’afa, kubanga yakola eky’obuswavu+ mu Isirayiri bwe yakola ekintu eky’obugwenyufu* mu nnyumba ya kitaawe.+ Bw’otyo onoggyangawo ekibi mu mmwe.+
22 “Omusajja bw’anaasangibwanga nga yeebase n’omukazi ow’omusajja omulala, bombi banattibwanga, omusajja eyeebaka n’omukazi awamu n’omukazi oyo.+ Bw’otyo onoggyangawo ekibi mu Isirayiri.
23 “Bwe wanaabangawo omuwala embeerera eyalagaana okufumbiriganwa n’omusajja, omusajja omulala n’amusanga mu kibuga ne yeebaka naye, 24 bombi mubaleetanga ku mulyango gw’ekibuga ekyo ne mubakuba amayinja ne bafa; omuwala, olw’okuba teyakuba nduulu ng’ali mu kibuga, ate ye omusajja olw’okuba yaweebuula muka munne.+ Bw’otyo onoggyangawo ekibi mu mmwe.
25 “Naye omusajja bw’anaasanganga ku ttale omuwala eyalagaana okufumbiriganwa n’omusajja, n’amusinza amaanyi ne yeebaka naye, omusajja eyeebaka n’omuwala y’anattibwanga yekka, 26 era omuwala tomukolanga kintu kyonna. Omuwala anaabanga talina kibi kimugwanyiza kuttibwa, kubanga ng’omuntu bw’afubutukira munne n’amutemula,+ na kino bwe kityo bwe kiri. 27 Kubanga omuwala oyo omusajja yamusanga ku ttale, era yakuba enduulu naye nga tewali ayinza kumuyamba.
28 “Omusajja bw’asanganga omuwala embeerera atannalagaana kufumbiriganwa na musajja, n’amukwata lwa mpaka ne yeebaka naye, ne kimanyibwa,+ 29 omusajja eyeebaka naye anaawanga kitaawe w’omuwala sekeri za ffeeza 50, era omuwala oyo anaafuukanga mukazi we.+ Olw’okuba anaabanga amuweebudde, takkirizibwenga kumugoba obulamu bwe bwonna.
30 “Omusajja tawasanga muka kitaawe, aleme kuweebuula kitaawe.*+