Okubikkulirwa
12 Ne walabika akabonero ak’ekitalo mu ggulu: Omukazi+ yali ayambadde enjuba, ng’omwezi guli wansi w’ebigere bye, nga ku mutwe gwe kuliko engule ey’emmunyeenye kkumi na bbiri, 2 era yali lubuto. N’akaaba ng’ali mu bulumi, ng’alumwa okuzaala.
3 Akabonero akalala ne kalabika mu ggulu. Laba! Ogusota ogunene ogumyufu+ nga gulina emitwe musanvu n’amayembe kkumi, era ku mitwe gyagwo nga kuliko engule musanvu; 4 omukira gwagwo ne guwalula ekitundu kimu kya kusatu eky’emmunyeenye+ eziri mu ggulu ne guzisuula ku nsi.+ Ogusota ne guyimirira mu maaso g’omukazi+ eyali anaatera okuzaala, bw’azaala gulyoke gulye omwana we.
5 Omukazi n’azaala omwana+ ow’obulenzi, ajja okulunda amawanga gonna n’omuggo ogw’ekyuma.+ Omwana we n’atwalibwa mangu eri Katonda n’eri entebe ye ey’obwakabaka. 6 Omukazi n’addukira mu ddungu Katonda gye yamutegekera ekifo, era gye baali bagenda okumuliisiza okumala ennaku 1,260.+
7 Ne wabaawo olutalo mu ggulu: Mikayiri*+ ne bamalayika be ne balwana n’ogusota, n’ogusota nagwo ne gubalwanyisa nga guli wamu ne bamalayika baagwo, 8 naye tebaawangula,* era tewaalabika kifo kyabwe nate mu ggulu. 9 Ogusota ogunene,+ omusota ogw’edda+ oguyitibwa Omulyolyomi+ era Sitaani,+ alimbalimba ensi yonna,+ ne gusuulibwa ku nsi+ ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo. 10 Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka mu ggulu nga ligamba nti:
“Kaakano obulokozi buzze,+ n’amaanyi, n’Obwakabaka bwa Katonda waffe,+ n’obuyinza bwa Kristo we, kubanga avunaana baganda baffe asuuliddwa wansi, abavunaana emisana n’ekiro mu maaso ga Katonda waffe!+ 11 Era baamuwangula+ olw’omusaayi gw’Omwana gw’Endiga+ n’olw’obubaka bwe baalangirira,*+ era tebaayagala bulamu bwabwe+ ne bwe baali nga boolekaganye n’okufa. 12 N’olwekyo, musanyuke mmwe eggulu nammwe abalibeeramu! Zisanze ensi n’ennyanja,+ kubanga Omulyolyomi asse gye muli, ng’alina obusungu bungi ng’amanyi nti alina akaseera katono.”+
13 Ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi,+ ne guyigganya omukazi+ eyazaala omwana ow’obulenzi. 14 Naye omukazi n’aweebwa ebiwaawaatiro bibiri eby’empungu+ ennene asobole okubuuka agende mu ddungu mu kifo kye; gye balina okumuliisiza okumala ekiseera, n’ebiseera, n’ekitundu ky’ekiseera,*+ okuva awali ogusota.+
15 Ogusota ne guwandula amazzi agalinga omugga okuva mu kamwa kaagwo, ne gugoolekeza omukazi asaanewo mu mugga. 16 Naye ensi n’eyamba omukazi, n’eyasamya akamwa kaayo n’emira omugga ogusota gwe gwawandula okuva mu kamwa kaagwo. 17 Ogusota ne gusunguwalira omukazi, ne gugenda okulwanyisa ab’ezzadde ly’omukazi+ abaasigalawo, abakwata ebiragiro bya Katonda era abalina omulimu gw’okuwa obujulirwa ku Yesu.+