1 Samwiri
15 Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti: “Yakuwa yantuma okukufukako amafuta obeere kabaka w’abantu be Abayisirayiri;+ kale kaakano wuliriza Yakuwa ky’agamba.+ 2 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: ‘Nja kuwoolera eggwanga ku Bamaleki olw’ekyo kye baakola Abayisirayiri, bwe baabalwanyisa nga bava e Misiri.+ 3 Kaakano genda otte Abamaleki+ obazikirize+ awamu ne byonna bye balina. Tobasaasira;* ojja kutta+ abasajja n’abakazi, abaana abato n’abawere, ente n’endiga, eŋŋamira n’endogoyi.’”+ 4 Awo Sawulo n’ayita abantu n’ababalira e Terayimu. Abasirikale abatambuza ebigere baali 200,000 ate abasajja ba Yuda baali 10,000.+
5 Awo Sawulo n’agenda n’atuuka ku kibuga kya Amaleki n’ateegera okumpi n’ekiwonvu.* 6 Sawulo n’agamba Abakeeni+ nti: “Muve mu Bamaleki mugende, nneme okubazikiririza awamu nabo,+ kubanga mwalaga abantu ba Isirayiri bonna okwagala okutajjulukuka+ nga bava e Misiri.” Awo Abakeeni ne bava mu Bamaleki. 7 Oluvannyuma Sawulo n’atta Abamaleki+ okuva e Kavira+ okutuukira ddala e Ssuuli,+ ekiriraanye Misiri. 8 Yakwata Agagi+ kabaka w’Abamaleki nga mulamu, naye abantu abalala bonna n’abazikiriza n’ekitala.+ 9 Naye Sawulo n’abantu baataliza* Agagi n’ebisingayo obulungi mu bisibo ne mu magana, ensolo engevvu, endiga ennume, n’ebintu byonna ebyali ebirungi.+ Tebaayagala kubizikiriza. Naye ebintu byonna ebitaalina mugaso n’ebiteetaagibwa baabizikiriza.
10 Awo Yakuwa n’agamba Samwiri nti: 11 “Nnejjusa* olw’okufuula Sawulo kabaka, kubanga alekedde awo okungoberera, era takoze bye nnagamba.”+ Samwiri n’anakuwala nnyo, era n’akaabirira Yakuwa ekiro kyonna.+ 12 Samwiri bwe yagolokoka ku makya ennyo okugenda okusisinkana Sawulo, ne bamutegeeza nti: “Sawulo yagenze Kalumeeri,+ era yeezimbidde eyo ekijjukizo.+ Awo Samwiri n’akyusa n’agenda e Girugaali.” 13 Oluvannyuma Samwiri bwe yagenda eri Sawulo, Sawulo n’amugamba nti: “Yakuwa akuwe omukisa. Nkoze Yakuwa bye yagamba.” 14 Kyokka Samwiri n’amugamba nti: “Lwaki ate mpulira endiga ezikaaba, n’ente eziŋooŋa?”+ 15 Sawulo n’amuddamu nti: “Zaggiddwa ku Bamaleki, kubanga abantu baatalizza* ebisingayo obulungi mu magana ne mu bisibo, babiweeyo nga ssaddaaka eri Yakuwa Katonda wo; naye ebyasigaddewo twabizikirizza.” 16 Samwiri n’agamba Sawulo nti: “Koma awo! Ka nkubuulire Yakuwa kye yaŋŋambye ekiro.”+ Awo n’amuddamu nti: “Yogera!”
17 Samwiri n’agamba nti: “Wali teweenyooma+ we wafuukira omukulu w’ebika bya Isirayiri, era ne Yakuwa we yakufukirako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri?+ 18 Oluvannyuma Yakuwa yakutuma okukola omulimu n’akugamba nti, ‘Genda ozikirize Abamaleki+ aboonoonyi. Balwanyise okutuusa lw’onoobamalirawo ddala.’+ 19 Kati olwo lwaki tewagondedde ddoboozi lya Yakuwa, wabula n’ogwa ku munyago+ n’amaddu, n’okola ekintu ekibi mu maaso ga Yakuwa?”
20 Kyokka, Sawulo n’agamba Samwiri nti: “Naye nnagondedde eddoboozi lya Yakuwa, kubanga nnagenze ne nkola Yakuwa bye yantuma okukola ne ndeeta Agagi kabaka w’Abamaleki, era ne nzikiriza Abamaleki.+ 21 Naye abantu baggye ku munyago endiga n’ente ebyabadde bisinga obulungi mu ebyo ebyabadde eby’okuzikirizibwa, babiweeyo nga ssaddaaka eri Yakuwa Katonda wo e Girugaali.”+
22 Awo Samwiri n’agamba nti: “Yakuwa asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka+ nga bw’asanyukira okugondera eddoboozi lya Yakuwa? Okuba omuwulize kisinga ssaddaaka,+ n’okussaayo omwoyo kisinga amasavu+ g’endiga ennume; 23 kubanga obujeemu+ bwenkanankana n’ekibi eky’obulaguzi,+ n’okwetulinkiriza kwenkanankana n’okukozesa eddogo era n’okusinza ebifaananyi.* Nga bw’ojeemedde ekigambo kya Yakuwa,+ naye akuggyeeko obwakabaka.”+
24 Awo Sawulo n’agamba Samwiri nti: “Nnyonoonye, kubanga njeemedde ekiragiro kya Yakuwa n’ebigambo byo; olw’okuba nnatidde abantu ne mpuliriza bye baagambye. 25 Kaakano nkwegayiridde nsonyiwa ekibi kyange, era oddeyo nange nvunname mu maaso ga Yakuwa.”+ 26 Naye Samwiri n’agamba Sawulo nti: “Siddayo naawe, kubanga weesambye ekigambo kya Yakuwa; Yakuwa naye akwesambye, era tojja kweyongera kuba kabaka wa Isirayiri.”+ 27 Samwiri bwe yali akyuka okugenda, Sawulo n’akwata ekirenge ky’ekizibaawo kye ekitaliiko mikono, ne kiyulika. 28 Awo Samwiri n’amugamba nti: “Yakuwa akuggyeeko* obwakabaka bwa Isirayiri olwa leero, era ajja kubuwa omuntu omulala akusinga.+ 29 Ate era Katonda wa Isirayiri ow’Ekitiibwa+ tajja kulimba+ oba okukyusa ekirowoozo kye,* kubanga si muntu okukyusa ekirowoozo kye.”*+
30 Awo Sawulo n’agamba nti: “Nnyonoonye. Naye nkwegayiridde ngulumiza mu maaso g’abakadde b’abantu bange ne mu maaso ga Isirayiri, oddeyo nange nvunname mu maaso ga Yakuwa Katonda wo.”+ 31 Awo Samwiri n’addayo ne Sawulo, Sawulo n’avunnama mu maaso ga Yakuwa. 32 Samwiri n’agamba nti: “Mundeetere wano Agagi kabaka wa Amaleki.” Awo Agagi n’agenda w’ali ng’asikattira,* kubanga emabegako yali alowooza nti: ‘Mazima ddala sikyafudde.’ 33 Kyokka, Samwiri n’agamba nti: “Ng’ekitala kyo bwe kyaleka abakazi abazadde nga tebalina baana, bw’atyo ne nnyoko bw’anaaba nga talina mwana.” Awo Samwiri n’atemaatema Agagi mu maaso ga Yakuwa e Girugaali.+
34 Awo Samwiri n’agenda e Laama, ate Sawulo n’agenda ewuwe e Gibeya ekya Sawulo. 35 Samwiri yanakuwalira nnyo Sawulo, era Samwiri teyaddamu kulaba Sawulo okutuusa ku lunaku lwe yafa.+ Yakuwa yejjusa olw’okuba yafuula Sawulo kabaka wa Isirayiri.+