-
2 Bassekabaka 19:19, 20Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
19 Naye kaakano Ai Yakuwa Katonda waffe, tukwegayiridde, tununule mu mukono gwe, obwakabaka bwonna mu nsi bulyoke bumanye nti ggwe, Ai Yakuwa, ggwe Katonda wekka.”+
20 Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’aweereza Keezeekiya obubaka obugamba nti: “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Mpulidde essaala yo+ ekwata ku Kabaka Sennakeribu owa Bwasuli.+
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 6:24, 25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 “Era abantu bo Abayisirayiri bwe banaawangulwanga omulabe olw’okuba banaabanga boonoonye mu maaso go,+ naye ne bakyuka ne batendereza erinnya lyo,+ ne basaba+ era ne beegayirira mu maaso go obakwatirwe ekisa mu nnyumba eno,+ 25 owuliranga ng’oyima mu ggulu+ n’osonyiwa abantu bo Isirayiri ekibi kyabwe, n’obakomyawo mu nsi gye wabawa bo ne bajjajjaabwe.+
-