33 Naye n’abaddamu nti: “Maama wange ne baganda bange be baani?” 34 Awo n’atunuulira abo abaali batudde nga bamwetoolodde, n’agamba nti: “Laba, maama wange ne baganda bange be bano!+ 35 Buli akola Katonda by’ayagala, ye muganda wange, mwannyinaze era maama wange.”+