Eby’Abaleevi
6 Yakuwa era n’agamba Musa nti: 2 “Omuntu bw’alimbanga munne ku bikwata ku kintu ekiba kimutereseddwa,+ oba kye baamulekera ng’omusingo, oba bw’abbanga ekintu ku munne, oba n’akumpanya munne, bw’atyo n’ayonoona era n’ataba mwesigwa eri Yakuwa,+ 3 oba bw’azuulanga ekintu ekibadde kibuze naye ne yeegaana, era n’alayira eby’obulimba ng’agamba nti talina kibi ky’akoze,+ kino ky’alina okukola: 4 Bw’abanga ayonoonye era ng’aliko omusango, anazzangayo ekyo kye yabba, oba kye yanyaga, oba kye yafuna mu bukumpanya, oba kye yateresebwa, oba ekyali kibuze kye yazuula, 5 oba ekintu kyonna kye yalayirira ng’alimba; anaakisasulanga mu bujjuvu+ era anaayongerangako kimu kya kutaano eky’omuwendo gwakyo. Anaakiddizanga nnannyini kyo ku lunaku lwe kinaakakasibwanga nti aliko omusango. 6 Era anaatwalanga eri kabona ekiweebwayo kye olw’omusango eky’okuwaayo eri Yakuwa, endiga ennume ennamu obulungi, ng’egya mu muwendo omugereke ogw’ekiweebwayo olw’omusango.+ 7 Kabona anaatangiriranga ekibi kye mu maaso ga Yakuwa, era ekintu kyonna kye yakola ekyamuviirako okubaako omusango+ kinaamusonyiyibwanga.”
8 Yakuwa era n’agamba Musa nti: 9 “Gamba Alooni ne batabani be nti, ‘Lino lye tteeka ery’ekiweebwayo ekyokebwa:+ Ekiweebwayo ekyokebwa kinaabeeranga ku kyoto ekiro kyonna okutuusa ku makya, era omuliro gunaasigalanga nga gwaka ku kyoto. 10 Kabona anaayambalanga ekyambalo kye eky’obwakabona ekya kitaani+ n’empale ennyimpi* eya kitaani.+ Olwo anaggyanga ku kyoto evvu*+ ery’ekiweebwayo ekyokebwa ekyayokeddwa ku kyoto n’aliteeka ku mabbali g’ekyoto. 11 Anaayambulangamu ebyambalo bye+ n’ayambala ebirala, n’atwala evvu mu kifo ekirongoofu ebweru w’olusiisira.+ 12 Omuliro gujja kusigalanga nga gwaka ku kyoto. Teguzikiranga. Buli ku makya kabona anaateekanga enku+ ku muliro oguli ku kyoto, n’ateekako ekiweebwayo ekyokebwa, era anaagwokerangako+ amasavu ga ssaddaaka ez’emirembe. 13 Omuliro gujja kusigalanga nga gwaka ku kyoto ekiseera kyonna. Teguzikiranga.
14 “‘Lino lye tteeka ery’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke:+ Batabani ba Alooni banaakiwangayo eri Yakuwa mu maaso g’ekyoto. 15 Omu ku bo anaayoolanga olubatu ku buwunga obutaliimu mpulunguse obw’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke obulimu amafuta n’obubaani obweru bwonna obuli ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, era anaabwokeranga ku kyoto okuba evvumbe eddungi,* okukiikirira ekiweebwayo kyonna ekiweebwayo eri Yakuwa.+ 16 Ekinaasigalangawo kinaaliibwanga Alooni ne batabani be.+ Kinaafumbibwangamu emigaati egitali mizimbulukuse ne giriirwa mu kifo ekitukuvu. Banaagiriiranga mu luggya lwa weema ey’okusisinkaniramu.+ 17 Tekifumbirwangamu kizimbulukusa.+ Nkibawadde ng’omugabo gwabwe okuva ku biweebwayo byange ebyokebwa n’omuliro.+ Kintu kitukuvu nnyo,+ ng’ekiweebwayo olw’ekibi era ng’ekiweebwayo olw’omusango. 18 Buli musajja mu baana ba Alooni anaakiryanga.+ Mugabo gwabwe ogw’olubeerera mu mirembe gyammwe gyonna okuva ku biweebwayo eri Yakuwa ebyokebwa n’omuliro.+ Buli kintu ekinaabikoonangako* kinaafuukanga kitukuvu.’”
19 Yakuwa era n’agamba Musa nti: 20 “Kino kye kiweebwayo Alooni ne batabani be kye banaawangayo eri Yakuwa ku lunaku lwe banaafukibwangako amafuta:+ bajja kuwangayo kimu kya kkumi ekya efa*+ y’obuwunga obutaliimu mpulunguse ng’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke;+ kimu kya kubiri eky’ekiweebwayo ekyo kinaaweebwangayo ku makya ate ekimu eky’okubiri ekirala kinaaweebwangayo akawungeezi. 21 Kijja kuteekebwangamu amafuta g’ezzeyituuni kifumbirwe ku kikalango.+ Onookireetanga nga kitabuddwamu bulungi amafuta g’ezzeyituuni n’okiwaayo ng’omugaati ogw’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ogumenyeddwamu obutundutundu, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa. 22 Kabona anaafukibwangako amafuta anaabanga asikidde Alooni mu batabani be+ y’anaakiwangayo. Lino tteeka lya lubeerera: Ekiweebwayo kyonna kinaayokebwanga okuweebwayo eri Yakuwa. 23 Buli kiweebwayo eky’emmere ey’empeke kabona ky’anaawangayo kinaayokebwanga kyonna. Tekiiriibwenga.”
24 Yakuwa era n’agamba Musa nti: 25 “Gamba Alooni ne batabani be nti, ‘Lino lye tteeka ery’ekiweebwayo olw’ekibi:+ Mu kifo awattirwa ensolo ey’ekiweebwayo ekyokebwa,+ ensolo y’ekiweebwayo olw’ekibi nayo w’enettirwanga mu maaso ga Yakuwa. Kintu kitukuvu nnyo. 26 Kabona anaagiwangayo olw’ekibi y’anaagiryanga.+ Eneeriirwanga mu kifo ekitukuvu mu luggya lwa weema ey’okusisinkaniramu.+
27 “‘Buli ekinaakoonanga ku nnyama yaakyo kinaabanga kitukuvu, era omuntu yenna bw’anaamansiranga omusaayi gwakyo ku kyambalo kye, ekyambalo ekyo ekimansiddwako omusaayi onookyolezanga mu kifo ekitukuvu. 28 Entamu ey’ebbumba mwe kinaafumbirwanga eneeyasibwanga. Naye bwe kinaafumbirwanga mu ntamu ey’ekikomo, eneekuutibwanga n’eyozebwa n’amazzi.
29 “‘Buli musajja aweereza nga kabona anaakiryanga.+ Kintu kitukuvu nnyo.+ 30 Naye ekiweebwayo olw’ekibi ekiggiddwamu omusaayi, ogumu ne gutwalibwa mu weema ey’okusisinkaniramu okutangirira ebibi mu kifo ekitukuvu,+ tekiiriibwenga. Kinaayokebwanga omuliro.