Abaggalatiya
5 Okusobola okufuna eddembe eryo, Kristo yatufuula ba ddembe. N’olwekyo, mube banywevu,+ era temukkiriza kuddamu kusibibwa mu kikoligo kya buddu.+
2 Laba! Nze Pawulo mbagamba nti, bwe mukomolebwa, Kristo ajja kuba takyalina ky’abagasa.+ 3 Ate era, mbuulira buli muntu akomolebwa nti alina okutuukiriza Amateeka gonna.+ 4 Mweyawudde ku Kristo, mmwe abagezaako okufuna obutuukirivu olw’amateeka;+ muvudde mu kisa kye eky’ensusso. 5 Naye ffe ku bw’omwoyo tulindirira obutuukirivu obwasuubizibwa, obujja okufunibwa olw’okukkiriza kwe tulina. 6 Mu Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa si kikulu;+ ekikulu kwe kukkiriza okuba kukolera ku kwagala.
7 Mwali mutambula* bulungi.+ Ani yabalemesa okweyongera okugondera amazima? 8 Ani yabasendasenda okweyisa bwe mutyo? Oyo abayita si y’akola bw’atyo. 9 Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna.+ 10 Ndi mukakafu nti mmwe abali obumu ne Mukama waffe+ temujja kufuna ndowooza ndala; naye oyo abaleetedde ebizibu,+ k’abe ani, ajja kuweebwa ekibonerezo ekimugwanira. 11 Naye nze, ab’oluganda, bwe mba nga nkyabuulira okukomolebwa, ate lwaki nkyayigganyizibwa? Bwe kiba nti okukomolebwa kwe nkyabuulira, omuti ogw’okubonaabona*+ olwo guba tegukyali kyesittaza. 12 Nnandyagadde abo abagezaako okubatabulatabula beeraawe.
13 Ab’oluganda, mwayitibwa mubeere ba ddembe; kyokka eddembe lino temulikozesa ng’eky’okusinziirako okugoberera okwegomba okw’omubiri,+ naye buli omu aweereze munne mu kwagala.+ 14 Kubanga Amateeka gonna gatuukirizibwa* mu kiragiro kimu, ekigamba nti: “Yagalanga muliraanwa* wo nga bwe weeyagala.”+ 15 Naye, bwe muba nga mugenda mu maaso okulumagana n’okulyaŋŋana,+ mwegendereze muleme kwemalawo.+
16 Naye ŋŋamba nti, Mutambulirenga mu mwoyo,+ era temujja kukola kintu kyonna mubiri kye gwegomba.+ 17 Kubanga omubiri gukontana n’omwoyo mu ebyo bye gwegomba, era n’omwoyo gukontana n’omubiri; omubiri n’omwoyo bikontana ne kiba nti bye mwagala okukola byennyini si bye mukola.+ 18 Ate era, bwe muba nga mukulemberwa omwoyo, temuba wansi w’amateeka.
19 Kaakano, ebikolwa eby’omubiri bya lwatu era bye bino: ebikolwa eby’obugwenyufu,*+ obutali bulongoofu, obugwagwa,*+ 20 okusinza ebifaananyi, eby’obusamize,*+ empalana, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okweyawulamu, okwekutulamu obubiina, 21 ensaalwa, obutamiivu,+ ebinyumu, n’ebiringa ebyo.+ Mbalabula ku bintu bino nga bwe nnasooka okubalabula, nti abakola ebintu ng’ebyo tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.+
22 Ku luuyi olulala, ebyo ebiri mu kibala eky’omwoyo kwe kwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi,+ okukkiriza, 23 obukkakkamu, n’okwefuga.+ Ebiri ng’ebyo tebiriiko tteeka libikugira. 24 Ate era, abo aba Kristo Yesu baakomerera ku muti omubiri awamu n’okwegomba kwagwo okubi.+
25 Bwe tuba ng’obulamu bwaffe tubutambuliza ku bulagirizi bw’omwoyo, ka tweyongere okugoberera obulagirizi bw’omwoyo.+ 26 Ka tulemenga okwetwala nti tuli ba kitalo,+ nga tuleetawo okuvuganya wakati mu ffe,+ era nga tukwatirwagana obuggya.