Engero
3 Obugolokofu bw’abatuukirivu bwe bubaluŋŋamya,+
Naye obutali bwesigwa bw’ab’enkwe bujja kubaviirako okuzikirira.+
4 Obugagga tebujja* kuba na mugaso ku lunaku olw’obusungu,+
Naye obutuukirivu bwe bujja okuwonya omuntu okufa.+
5 Obutuukirivu bw’omuntu ataliiko kya kunenyezebwa butereeza ekkubo lye,
Naye omubi ajja kugwa olw’ebintu ebibi by’akola.+
7 Omubi bw’afa, by’abadde asuubira biggwaawo;
N’amaanyi agabadde gamweyinuza gaggwaawo.+
8 Omutuukirivu bamuwonya ennaku,
Ennaku n’eddira omubi.+
10 Empisa ennungi ez’abatuukirivu zisanyusa ekibuga,
Naye omubi bw’afa, abantu bajaguza.+
14 Awatali bulagirizi bulungi* abantu babonaabona,
Naye awali abawi b’amagezi* abangi ebintu bitambula bulungi.*+
15 Eyeeyimirira omuntu gw’atamanyi agwa mu mitawaana,+
Naye oyo atayanguyiriza kukola ndagaano* yeewala ebizibu.
18 Omuntu omubi afuna empeera eterina ky’egasa,+
Naye oyo asiga obutuukirivu afuna empeera eya nnamaddala.+
19 Anywerera ku butuukirivu aliba mulamu,+
Naye oyo akola ebibi ajja kufa.
21 Ba mukakafu ku kino:* Omubi talirema kubonerezebwa,+
Naye abaana b’omutuukirivu tebalituukibwako kabi.
22 Omukazi alabika obulungi naye nga talina magezi
Alinga empeta eya zzaabu eri mu nnyindo y’embizzi.
23 Omutuukirivu bye yeegomba bimutuusa ku birungi,+
Naye omubi by’asuubira bisunguwaza Katonda.
26 Oyo atatunda mmere ye ey’empeke abantu bamukolimira,
Naye oyo agitunda abantu bamusabira emikisa.
27 Oyo afuba okukola ebirungi aba ayagala okusiimibwa,+
Naye oyo ayagala okukola ebibi, ebibi birimutuukako.+
29 Oyo aleetera ab’omu maka ge emitawaana* ajja kusikira mpewo,+
Era omusirusiru ajja kuba muweereza w’oyo alina omutima ogw’amagezi.