1 Bassekabaka
6 Mu mwaka ogw’ebikumi ebina mu ekinaana ng’Abayisirayiri* bavudde mu nsi ya Misiri,+ mu mwaka ogw’okuna okuva Sulemaani lwe yatandika okufuga Isirayiri, mu mwezi gwa Ziivu,*+ (kwe kugamba, omwezi ogw’okubiri), Sulemaani yatandika okuzimba ennyumba ya Yakuwa.*+ 2 Ennyumba Kabaka Sulemaani gye yazimbira Yakuwa yali emikono* 60 obuwanvu, emikono 20 obugazi, n’emikono 30 obugulumivu.+ 3 Ekisasi+ ekyali mu maaso ga yeekaalu* kyali emikono 20 obuwanvu,* ng’obugazi bwakyo bwenkanankana n’obugazi bw’ennyumba. Ekisasi kyayongera ku buwanvu bw’ennyumba emikono kkumi.
4 Ennyumba yagikolera amadirisa agaalina fuleemu ezigenda zifunda.+ 5 Ate era yazimba ekizimbe eky’oku bbali ng’akikookedde ku nnyumba; ekizimbe ekyo kyali kyetooloodde ennyumba, kwe kugamba, yeekaalu* n’ekisenge ekisingayo okuba munda,+ era okwo kwe kwali ebisenge eby’oku bbali.+ 6 Omwaliiro ogwa wansi ogw’ekizimbe eky’oku bbali gwali emikono etaano obugazi, ogwa wakati gwali emikono mukaaga obugazi, ate ogwa waggulu gwali emikono musanvu obugazi; ku kisenge ky’ennyumba okwetooloola kwaliko awatuula embaawo, zireme kuyingira mu kisenge ky’ennyumba.+
7 Ennyumba baagizimbisa amayinja ag’omu kirombe agaali gamaze okutemebwa obulungi,+ ne kiba nti tewaali nnyondo wadde embazzi oba ekintu kyonna eky’ekyuma ekyawulirwa mu nnyumba nga bagizimba. 8 Omulyango gw’omwaliiro ogwa wansi gwali ku luuyi olw’ebukiikaddyo* olw’ennyumba,+ era baalinnyanga madaala okugenda ku mwaliiro ogwa wakati n’ogwa waggulu. 9 Sulemaani yeeyongera okuzimba ennyumba era n’agimaliriza,+ n’agiseresa emirabba n’embaawo eby’emiti gy’entolokyo.+ 10 Yazimba ebisenge eby’oku bbali okwetooloola ennyumba yonna,+ era buli kisenge kyali emikono etaano obugulumivu; ebisenge ebyo byali biyungiddwa ku nnyumba n’emiti gy’entolokyo.
11 Awo Yakuwa n’agamba Sulemaani nti: 12 “Ku bikwata ku nnyumba eno gy’ozimba, bw’onootambuliranga mu mateeka gange, n’okwatanga ebiragiro byange byonna,+ nja kutuukiriza gy’oli kye nnasuubiza kitaawo Dawudi;+ 13 nja kubeeranga mu Bayisirayiri,+ era siryabulira bantu bange Abayisirayiri.”+
14 Sulemaani yeeyongera okuzimba ennyumba asobole okugimaliriza. 15 Ku bisenge byayo munda yabikkako embaawo z’emiti gy’entolokyo. Okuva wansi okutuuka ku mikiikiro gy’akasolya, ne ku bisenge byayo eby’omunda, yabikkako embaawo, era wansi yayaliirawo embaawo z’emiberosi.+ 16 Mu nnyumba emabega yazimbayo ekisenge eky’embaawo z’emiti gy’entolokyo kya mikono 20 okuva wansi okutuuka waggulu ku mikiikiro, era yazimbamu* ekisenge ekisingayo okuba munda,+ Awasinga Obutukuvu.+ 17 Ate yeekaalu*+—ekitundu ky’ennyumba ekyali mu maaso g’Awasinga Obutukuvu—yali emikono 40. 18 Embaawo z’emiti gy’entolokyo ze baabikkisa ku bisenge munda mu nnyumba zaali zooleddwako ebifaananyi by’obutanga+ n’eby’ebimuli ebyeyanjuluzza.+ Munda waayo yonna ku bisenge yali ebikkiddwako embaawo z’emiti gy’entolokyo, nga tewali jjinja na limu lirabika.
19 Yateekateeka ekisenge ekisingayo okuba munda+ mu nnyumba, ateekemu essanduuko ey’endagaano ya Yakuwa.+ 20 Ekisenge ekisingayo okuba munda kyali emikono 20 obuwanvu, emikono 20 obugazi, n’emikono 20 obugulumivu;+ kyonna yakibikkako zzaabu omulongoofu; n’ekyoto+ yakibikkako embaawo z’entolokyo. 21 Sulemaani ennyumba yonna munda yagibikkako zzaabu omulongoofu,+ n’ateeka enjegere za zzaabu mu maaso g’ekisenge ekisingayo okuba munda,+ ekyali kibikkiddwako zzaabu. 22 Ennyumba yonna yagibikkako zzaabu, okutuusa yonna lwe yaggwa okubikkibwako zzaabu; ekyoto kyonna+ ekyali okumpi n’ekisenge ekisingayo okuba munda nakyo yakibikkako zzaabu.
23 Mu kisenge ekisingayo okuba munda yakolamu bakerubi babiri.+ Yabakola mu muti gwa payini. Buli kerubi yali aweza emikono kkumi obuwanvu.+ 24 Ekiwaawaatiro ekimu ekya kerubi kyali kiweza emikono ettaano n’ekiwaawaatiro ekirala kyali kiweza emikono ettaano. Okuva ekiwaawaatiro ekimu we kikoma okutuuka ekiwaawaatiro ekirala we kikoma, waaliwo emikono kkumi. 25 Kerubi ow’okubiri naye yali aweza emikono kkumi. Bakerubi bombi baali benkana era nga bafaanagana. 26 Kerubi omu yali aweza emikono kkumi obuwanvu, n’omulala bw’atyo. 27 Awo n’ateeka bakerubi+ mu Awasinga Obutukuvu. Ebiwaawaatiro bya bakerubi byali byanjuluziddwa, ng’ekiwaawaatiro kya kerubi omu kituuka ku kisenge eky’oludda olumu, ate ng’ekiwaawaatiro kya kerubi omulala kituuka ku kisenge eky’oludda olulala. Ebiwaawaatiro byabwe ebirala byali bituuka wakati w’ennyumba era nga bikoonagana. 28 Bakerubi yababikkako zzaabu.
29 Ku bisenge byonna eby’ennyumba, ku bisenge by’ekisenge eky’omunda n’eky’ebweru,* Sulemaani yayolako ebifaananyi bya bakerubi,+ n’eby’enkindu,+ n’eby’ebimuli ebyeyanjuluzza.+ 30 Wansi mu nnyumba, mu kisenge eky’omunda n’eky’ebweru, yabikkawo zzaabu. 31 Omulyango oguyingira mu kisenge ekisingayo okuba munda yagukolera enzigi ez’embaawo ez’omuti gwa payini, n’agukolera n’empagi, n’emyango, ng’ekitundu ekimu eky’okutaano.* 32 Enzigi ebbiri yazikola mu mbaawo z’omuti gwa payini, era yaziyolako ebifaananyi bya bakerubi, n’eby’enkindu, n’eby’ebimuli ebyeyanjuluzza; ku bakerubi ne ku bifaananyi by’enkindu yakubako zzaabu ng’akozesa ennyondo. 33 Bw’atyo bwe yakola n’omulyango oguyingira mu yeekaalu:* yagukolera omwango mu muti gwa payini, nga gwa kitundu ekimu eky’okuna.* 34 Yakola enzigi bbiri mu mbaawo z’omuti gw’omuberosi. Oluggi olumu lwalina ebiwayi bibiri ebyakyukiranga ku nkondo, n’oluggi olulala lwalina ebiwayi bibiri ebyakyukiranga ku nkondo.+ 35 Yayolako bakerubi n’ebifaananyi by’enkindu n’eby’ebimuli ebyeyanjuluzza, n’abibikkako zzaabu.
36 Yazimba oluggya olw’omunda+ nga lwetooloddwa ekisenge kya mbu ssatu ez’amayinja amateme obulungi, n’olubu lumu olw’embaawo ez’entolokyo.+
37 Omusingi gw’ennyumba ya Yakuwa gwazimbibwa mu mwaka ogw’okuna, mu mwezi gwa Ziivu;*+ 38 mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi gwa Buuli,* (kwe kugamba, omwezi ogw’omunaana), buli kimu ekyali kirina okukolebwa ku nnyumba kyaggwa okukolebwa era yamalirizibwa okuzimbibwa nga pulaani yaayo bwe yali;+ bw’atyo n’aba nga yagizimbira emyaka musanvu.