Okuva
13 Yakuwa era n’agamba Musa nti: 2 “Ntukuliza* buli mwana ow’obulenzi omubereberye* mu Bayisirayiri. Omwana ow’obulenzi omubereberye wange, era n’ensolo ennume esooka okuzaalibwa yange.”+
3 Awo Musa n’agamba abantu nti: “Mujjukiranga olunaku luno lwe muviiriddeko e Misiri+ mu nnyumba y’obuddu, kubanga Yakuwa abaggyeeyo n’omukono ogw’amaanyi.+ N’olwekyo, temulyanga kintu kyonna ekirimu ekizimbulukusa. 4 Muvaayo ku lunaku luno, mu mwezi gwa Abibu.*+ 5 Yakuwa bw’alikutuusa mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abaamoli, n’Abakiivi, n’Abayebusi,+ ensi gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa,+ ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki,+ okwatanga omukolo guno mu mwezi guno. 6 Onoolyanga emigaati egitali mizimbulukuse+ okumala ennaku musanvu, era ku lunaku olw’omusanvu wanaabangawo embaga mu linnya lya Yakuwa. 7 Emigaati egitali mizimbulukuse ginaaliibwanga okumala ennaku musanvu,+ era tobanga na kizimbulukusa+ mu nsi* yo yonna. 8 Era ku lunaku olwo ogambanga omwana wo nti, ‘Kino nkikola olw’ebyo Yakuwa bye yankolera ng’anzigya e Misiri.’+ 9 Era omukolo ogwo gunaabanga ng’akabonero ku mukono gwo era ng’ekijjukizo ku kyenyi kyo,*+ etteeka lya Yakuwa liryoke libeerenga mu kamwa ko, kubanga Yakuwa yakuggya mu Misiri n’omukono ogw’amaanyi. 10 Onookwatanga etteeka lino mu kiseera kyalyo ekigereke buli mwaka.+
11 “Yakuwa bw’alikutuusa mu nsi y’Abakanani gye yalayira okukuwa ggwe ne bajjajjaabo,+ 12 owanga Yakuwa buli mwana ow’obulenzi omubereberye,* na buli nsolo ennume esooka okuzaalibwa gy’onoobanga ofunye. Buli kisajja kinaabanga kya Yakuwa.+ 13 Buli mwana gw’endogoyi omubereberye onoogununuzanga endiga; bw’otoogununulenga, omenyanga ensingo yaagwo. Era onoonunulanga buli mwana ow’obulenzi omubereberye mu baana bo.+
14 “Omwana wo bw’akubuuzanga nti, ‘Kino kirina makulu ki?’ omuddangamu nti, ‘Yakuwa yatuggya mu Misiri mu nnyumba y’obuddu n’omukono ogw’amaanyi.+ 15 Falaawo bwe yaguguba n’agaana okutuleka okugenda,+ Yakuwa yatta buli mubereberye mu nsi ya Misiri, okuva ku baana ababereberye ab’abantu okutuuka ku bibereberye eby’ensolo.+ Eno ye nsonga lwaki mpaayo eri Yakuwa ebibereberye byonna ebisajja* nga ssaddaaka, era ne nnunula buli mwana ow’obulenzi omubereberye mu baana bange.’ 16 Omukolo guno gunaabanga ng’akabonero ku mukono gwo era ng’eky’okwesiba mu kyenyi*+ kyo, kubanga Yakuwa yatuggya mu Misiri n’omukono ogw’amaanyi.”
17 Falaawo bwe yaleka abantu okugenda, Katonda teyabayisa mu kkubo ery’omu nsi y’Abafirisuuti wadde nga lyali lya kumpi, kubanga yagamba nti: “Abantu bwe banaalaba nga kibeetagisa okulwana, bayinza okukyusa ebirowoozo ne baddayo e Misiri.” 18 Bwe kityo Katonda yabeetoolooza n’abayisa mu kkubo ery’omu ddungu okumpi n’Ennyanja Emmyufu.+ Abayisirayiri baava mu nsi ya Misiri mu ngeri entegeke obulungi, ng’ebibinja by’abasirikale. 19 Musa yatwala amagumba ga Yusufu kubanga Yusufu yali yalayiza abaana ba Isirayiri ng’agamba nti: “Katonda talirema kubayamba, era amagumba gange mugaggyangayo eno ne mugenda nago.”+ 20 Baava e Sukkosi ne basiisira mu Esamu ku njegoyego z’eddungu.
21 Emisana Yakuwa yabakulemberangamu ng’ali mu mpagi ey’ekire okubalaga ekkubo,+ ate ekiro yabakulemberangamu ng’ali mu mpagi ey’omuliro okubawa ekitangaala, basobole okutambula emisana n’ekiro.+ 22 Empagi ey’ekire teyavanga mu maaso g’abantu emisana, ate empagi ey’omuliro teyavanga mu maaso gaabwe ekiro.+