Yokaana
3 Waaliwo omusajja Omufalisaayo ayitibwa Nikodemu,+ eyali omufuzi mu Bayudaaya. 2 Ono yajja eri Yesu ekiro+ n’amugamba nti: “Labbi,+ tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda, kubanga tewali muntu ayinza kukola byamagero bino+ by’okola okuggyako nga Katonda ali naye.”+ 3 Yesu n’amuddamu nti: “Mazima ddala nkugamba nti okuggyako ng’omuntu azaaliddwa omulundi ogw’okubiri,*+ tasobola kulaba Bwakabaka bwa Katonda.”+ 4 Nikodemu n’amugamba nti: “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa nga mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogw’okubiri n’azaalibwa?” 5 Yesu n’addamu nti: “Mazima ddala nkugamba nti okuggyako ng’omuntu azaaliddwa amazzi+ n’omwoyo,+ tayinza kuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda. 6 Ekizaaliddwa omubiri kiba mubiri, n’ekizaaliddwa omwoyo, kiba mwoyo. 7 Teweewuunya kubanga nkugambye nti: Muteekwa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. 8 Embuyaga ekuntira gy’eyagala, era owulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gy’eva na gy’egenda. Bwe kityo bwe kiri eri oyo yenna azaaliddwa omwoyo.”+
9 Nikodemu n’amuddamu nti: “Ebintu bino biyinzika bitya?” 10 Yesu n’amuddamu nti: “Ggwe oli muyigiriza mu Isirayiri n’oba nga tomanyi bintu bino? 11 Mazima ddala nkugamba nti, bye tumanyi bye twogera, era bye tulabye bye tuwaako obujulirwa, naye mmwe temukkiriza bujulirwa bwe tuwa. 12 Bwe mba nga mbabuulidde ebintu eby’oku nsi ne mutakkiriza, munakkiriza mutya bwe nnaababuulira eby’omu ggulu? 13 Ate era, tewali muntu yali alinnye mu ggulu+ wabula oyo eyava mu ggulu,+ Omwana w’omuntu. 14 Nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu,+ n’Omwana w’omuntu ateekwa okuwanikibwa,+ 15 buli muntu yenna amukkiririzaamu afune obulamu obutaggwaawo.+
16 “Kubanga Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka,+ buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.+ 17 Katonda teyatuma Mwana we ku nsi kugisalira musango, wabula yamutuma ensi esobole okulokolebwa okuyitira mu ye.+ 18 Oyo yenna amukkiririzaamu si wa kusalirwa musango.+ Oyo atamukkiririzaamu amaze okusalirwa omusango, kubanga takkiririzza mu linnya lya Mwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka.+ 19 Ekisinziirwako okusala omusango kye kino: nti ekitangaala kizze mu nsi+ naye abantu baagadde ekizikiza mu kifo ky’ekitangaala, olw’okuba ebikolwa byabwe bibi. 20 Kubanga oyo akola ebintu ebibi akyawa ekitangaala era tajja eri kitangaala, ebikolwa bye bireme okuvumirirwa.* 21 Naye oyo akola eby’amazima ajja eri ekitangaala,+ ebikolwa bye biryoke birabike nga bituukagana n’ebyo Katonda by’ayagala.”
22 Ebyo bwe byaggwa, Yesu n’abayigirizwa be ne bagenda mu byalo by’omu Buyudaaya, n’abeera eyo nabo okumala ekiseera ng’abatiza.+ 23 Ne Yokaana yali abatiriza mu Enoni okumpi n’e Salimu kubanga eyo waaliyo amazzi mangi,+ era abantu bajjanga okubatizibwa;+ 24 kubanga Yokaana yali tannaba kusibibwa mu kkomera.+
25 Awo abayigirizwa ba Yokaana ne bakaayana n’Omuyudaaya omu ku bikwata ku kutukuzibwa. 26 Ne bajja eri Yokaana ne bamugamba nti: “Labbi, omusajja eyali naawe emitala wa Yoludaani gwe wawaako obujulirwa,+ abatiza, era abantu bonna bagenda gy’ali.” 27 Yokaana n’abaddamu nti: “Omuntu tayinza kufuna kintu na kimu okuggyako nga kimuweereddwa okuva mu ggulu. 28 Mmwe mmwennyini munjulira nga nnayogera nti, ‘Si nze Kristo,+ wabula nnatumibwa kumukulemberamu.’+ 29 Oyo alina omugole omukazi ye mugole omusajja.+ Naye mukwano gw’omugole omusajja bw’ayimirira okumpi n’omugole omusajja n’amuwulira ng’ayogera, asanyuka nnyo. N’olwekyo, essanyu lyange lituukiridde. 30 Oyo alina okugenda nga yeeyongera ate nze ŋŋende nga nkendeera.”
31 Oyo ava waggulu+ y’asinga abalala bonna. Oyo ow’oku nsi wa mu nsi, era ayogera bintu bya ku nsi. Oyo ava mu ggulu y’asinga abalala bonna.+ 32 Awa obujulirwa ku by’alabye ne by’awulidde,+ naye tewali akkiriza bujulirwa bw’awa.+ 33 Oyo aba akkirizza obujulirwa bw’awa, aba akakasizza* nti Katonda wa mazima.+ 34 Oyo Katonda gwe yatuma ayogera bigambo bya Katonda,+ kubanga Katonda agaba omwoyo gwe mu bungi. 35 Kitaawe w’omwana ayagala Omwana+ era amukwasizza ebintu byonna.+ 36 Oyo akkiririza mu Mwana alina obulamu obutaggwaawo;+ oyo ajeemera Omwana talifuna bulamu,+ wabula Katonda alimwolekeza obusungu bwe.+