1 Samwiri
12 Awo Samwiri n’agamba Abayisirayiri bonna nti: “Nkoze* byonna bye mwansaba, era mbalondedde kabaka ow’okubafuga.+ 2 Kaakano kabaka ow’okubakulembera*+ wuuno! Naye nze nkaddiye mmeze n’envi, era batabani bange bali wano nammwe;+ mbadde mbakulembera okuva mu buto bwange okutuusa kaakano.+ 3 Nzuuno. Munnumirize mu maaso ga Yakuwa ne mu maaso g’oyo gwe yafukako amafuta:+ Ani gwe nnali nzigyeeko ente ye oba endogoyi ye?+ Ani gwe nnali ndyazaamaanyizza oba ani gwe nnali njooze? Ani gwe nnali nzigyeeko enguzi ne nkola ebitali bya bwenkanya?+ Bwe mba nga nnakikola, nja kubibaddizaawo.”+ 4 Awo ne baddamu nti: “Totulyazaamaanyangako era totujoogangako era totwalangako kintu kya muntu yenna.” 5 N’abagamba nti: “Yakuwa mujulirwa gye muli, era n’oyo gwe yafukako amafuta anjulira olwa leero nti temulina kye munvunaana.”* Awo ne baddamu nti: “Yee, mujulirwa.”
6 Samwiri n’agamba abantu nti: “Yakuwa eyakozesa Musa ne Alooni era eyaggya bajjajjammwe mu nsi ya Misiri,+ ye mujulirwa. 7 Kaakano mujje mbalumirize mu maaso ga Yakuwa nga nsinziira ku bintu byonna eby’obutuukirivu Yakuwa by’abakoledde mmwe ne bajjajjammwe.
8 “Yakobo olwatuuka mu Misiri,+ bajjajjammwe ne batandika okukoowoola Yakuwa abayambe,+ Yakuwa n’atuma Musa+ ne Alooni okuggya bajjajjammwe e Misiri babaleete babeere mu kifo kino.+ 9 Naye beerabira Yakuwa Katonda waabwe, n’abawaayo*+ mu mukono gwa Sisera+ omukulu w’eggye lya Kazoli, ne mu mukono gw’Abafirisuuti,+ era ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu,+ ne babalwanyisa. 10 Baakoowoola Yakuwa abayambe+ ne bagamba nti, ‘Twonoonye,+ kubanga tulese Yakuwa ne tuweereza Babbaali+ n’ebifaananyi bya Asutoleesi;+ naye kaakano tununule mu mukono gw’abalabe baffe, tukuweereze.’ 11 Awo Yakuwa n’atuma Yerubbaali+ ne Bedani ne Yefusa+ ne Samwiri+ n’abanunula mu mukono gw’abalabe bammwe bonna abaali babeetoolodde, musobole okubeera mu mirembe.+ 12 Bwe mwalaba nga Nakasi+ kabaka w’Abaamoni abalumbye, ne muŋŋamba nti, ‘Twagala kuba na kabaka anaatufuganga!’+ so ng’ate Yakuwa Katonda wammwe ye Kabaka wammwe.+ 13 Kale kaakano kabaka gwe mwali mwagala wuuno, gwe mwasaba; Yakuwa abalondedde kabaka anaabafuganga.+ 14 Bwe munaatyanga Yakuwa+ ne mumuweereza,+ ne mugondera eddoboozi lye,+ era ne mutajeemera biragiro bya Yakuwa, era mmwe ne kabaka wammwe abafuga ne mugoberera Yakuwa Katonda wammwe, kijja kuba kirungi. 15 Naye bwe mutaagondere ddoboozi lya Yakuwa, ne mujeemera ebiragiro bya Yakuwa, Yakuwa ajja kubabonereza mmwe ne bakitammwe.+ 16 Kale kaakano, mujje mulabe ekintu kino ekyewuunyisa Yakuwa ky’agenda okukola nga mulaba. 17 Kino si kiseera kya makungula ga ŋŋaano? Ŋŋenda kukoowoola Yakuwa abwatuse eggulu era atonnyese enkuba, mulyoke mumanye era mutegeere nti mukoze kintu kibi nnyo mu maaso ga Yakuwa okusaba muweebwe kabaka.”+
18 Awo Samwiri n’akoowoola Yakuwa, Yakuwa n’abwatusa eggulu era n’atonnyesa enkuba ku lunaku olwo, abantu bonna ne batya nnyo Yakuwa ne Samwiri. 19 Abantu bonna ne bagamba Samwiri nti: “Sabira abaweereza bo eri Yakuwa Katonda wo,+ kubanga tetwagala kufa; kubanga ku bibi byaffe byonna twongeddeko n’ekibi kino eky’okusaba tuweebwe kabaka.”
20 Awo Samwiri n’agamba abantu nti: “Temutya. Kituufu mukoze ekibi kino eky’amaanyi, naye temulekeranga awo kugoberera Yakuwa,+ era muweerezenga Yakuwa n’omutima gwammwe gwonna.+ 21 Temumuvangako ne mugoberera ebitaliimu nsa,+ ebitagasa,+ era ebitasobola kulokola, kubanga tebiriimu nsa. 22 Yakuwa tajja kwabulira bantu be+ olw’erinnya lye ekkulu,+ kubanga Yakuwa yabafuula bantu be.+ 23 Sisobola kulekera awo kubasabira kubanga mba nnyonoonye mu maaso ga Yakuwa, era nja kweyongera okubayigiriza ekkubo eddungi era ettuufu. 24 Naye mutyenga Yakuwa,+ mumuweerezenga n’obwesigwa* n’omutima gwammwe gwonna, kubanga abakoledde ebintu ebikulu.+ 25 Naye bwe munaawaganyala ne mukola ebintu ebibi, mujja kuzikirizibwa+ mmwe awamu ne kabaka wammwe.”+