Omubuulizi
3 Buli kintu kiba n’ekiseera kyakyo,
Na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kiba n’ekiseera kyakyo:
2 Ekiseera eky’okuzaalibwa n’ekiseera eky’okufa;
Ekiseera eky’okusimba n’ekiseera eky’okusiguukulula ekyasimbibwa;
3 Ekiseera eky’okutta n’ekiseera eky’okuwonya;
Ekiseera eky’okumenya n’ekiseera eky’okuzimba;
4 Ekiseera eky’okukaaba n’ekiseera eky’okuseka;
Ekiseera eky’okukuba ebiwoobe n’ekiseera eky’okuzina;*
5 Ekiseera eky’okukasuka amayinja n’ekiseera eky’okugakuŋŋaanya awamu;
Ekiseera eky’okugwa mu kifuba n’ekiseera eky’obutagwa mu kifuba;
6 Ekiseera eky’okunoonya n’ekiseera eky’okulekera awo okunoonya;
Ekiseera eky’okutereka n’ekiseera eky’okusuula;
7 Ekiseera eky’okuyuza+ n’ekiseera eky’okutunga;
Ekiseera eky’okusirika+ n’ekiseera eky’okwogera;+
8 Ekiseera eky’okwagala n’ekiseera eky’okukyawa;+
Ekiseera eky’olutalo n’ekiseera eky’emirembe.
9 Kiki omukozi ky’afuna olw’okukola ennyo?+ 10 Ndabye ebintu Katonda by’awadde abaana b’abantu okukolanga. 11 Buli kintu yakikola nga kirungi* era yakikola mu kiseera kyakyo.+ Yateeka mu mitima gyabwe ekirowoozo eky’okubeerawo emirembe gyonna; kyokka abantu tebalitegeerera ddala bintu Katonda ow’amazima by’akoze okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero.
12 Nkirabye nti eri abantu teri kisinga kusanyuka n’okukola ebirungi mu bulamu bwabwe,+ 13 era nti buli muntu asaanidde okulya n’okunywa n’okweyagalira mu ebyo byonna by’ateganira. Ekyo kye kirabo ekiva eri Katonda.+
14 Nkitegedde nti buli kintu Katonda ow’amazima ky’akola kijja kubeerawo emirembe gyonna. Tewali kiyinza kukyongerwako era tewali kiyinza kukiggibwako. Katonda ow’amazima yakikola bw’atyo abantu balyoke bamutye.+
15 Buli ekibeerawo kyali kibaddewo, era buli ekigenda okujja kyali kibaddewo;+ naye Katonda ow’amazima anoonya ekyo ekiwonderwa.*
16 Ndabye na kino wansi w’enjuba: Awandibadde obwenkanya waliwo bikolwa bibi, n’awandibadde obutuukirivu waliwo bikolwa bibi.+ 17 Kyennava ŋŋamba mu mutima gwange nti: “Katonda ow’amazima ajja kulamula abatuukirivu n’ababi,+ kubanga waliwo ekiseera ekya buli mulimu na buli ekikolebwa.”
18 Era nnayogera mu mutima gwange ku baana b’abantu nti Katonda ow’amazima ajja kubagezesa abalage nti balinga ensolo, 19 kubanga ekituuka ku bantu kye kituuka ne ku nsolo. Ng’ensolo bw’efa n’omuntu bw’atyo bw’afa;+ byonna birina omwoyo gwe gumu.+ N’olwekyo omuntu talina ky’asinga nsolo, kubanga byonna butaliimu. 20 Byonna bigenda mu kifo kimu.+ Byonna byava mu nfuufu+ era byonna bidda mu nfuufu.+ 21 Ani amanyi obanga omwoyo gw’omuntu gwambuka waggulu, era obanga ogw’ensolo gukka wansi?+ 22 Era nnalaba nti eri omuntu, ekisinga obulungi kwe kusanyuka olw’ebyo byonna by’ateganidde,+ eyo ye mpeera ye;* kubanga ani ayinza okumusobozesa okulaba ebiribaawo ng’amaze okufa?+