2 Bassekabaka
25 Mu mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Zeddeekiya, mu mwezi ogw’ekkumi, ku lunaku olw’ekkumi, Kabaka Nebukadduneeza+ owa Babulooni yagenda n’eggye lye lyonna okulumba Yerusaalemi.+ Yasiisira okukirwanyisa era n’akizimbako ekigo,+ 2 era ekibuga kyazingizibwa okutuusa mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Kabaka Zeddeekiya. 3 Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogw’okuna, enjala yali ya maanyi nnyo+ mu kibuga, era abantu b’omu nsi eyo tebaalina mmere.+ 4 Bbugwe w’ekibuga yakubibwamu ekituli;+ Abakaludaaya bwe baali nga bazingizza ekibuga, abasirikale bonna baakiddukamu ekiro nga bayita mu mulyango ogwali wakati w’ebisenge ebibiri okumpi n’ennimiro ya kabaka; ate ye kabaka yayitira mu kkubo erigenda mu Alaba.+ 5 Naye eggye ly’Abakaludaaya lyawondera kabaka, ne limusanga mu ddungu lya Yeriko, era eggye lye lyonna ne limwabulira ne lisaasaana. 6 Awo ne bakwata kabaka+ ne bamutwala eri kabaka wa Babulooni e Libula, ne bamusalira omusango. 7 Batta batabani ba Zeddeekiya ng’alaba, Nebukadduneeza n’amuggyamu amaaso, n’amusiba empingu ez’ekikomo n’amutwala e Babulooni.+
8 Mu mwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obufuzi bwa Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni, mu mwezi ogw’okutaano, ku lunaku olw’omusanvu, Nebuzaladaani+ omuweereza wa kabaka wa Babulooni eyali akulira abakuumi, yagenda e Yerusaalemi.+ 9 Yayokya ennyumba ya Yakuwa,+ ennyumba ya* kabaka,+ n’amayumba gonna ag’omu Yerusaalemi;+ yayokya n’amayumba ag’abantu bonna ab’ebitiibwa.+ 10 Eggye ly’Abakaludaaya lyonna eryali n’omukulu w’abakuumi lyamenya bbugwe wa Yerusaalemi.+ 11 Nebuzaladaani omukulu w’abakuumi yatwala abantu abaali basigadde mu kibuga mu buwaŋŋanguse, n’abo abaali bakyuse ne badda ku ludda lwa kabaka wa Babulooni, awamu n’abantu abalala bonna.+ 12 Naye yaleka abamu ku bantu abaali basingayo okuba abaavu mu nsi eyo okukolanga mu nnimiro z’emizabbibu n’okukolanga emirimu egy’obuwaze.+ 13 Abakaludaaya baamenyaamenya empagi ez’ekikomo+ ezaali mu nnyumba ya Yakuwa, n’ebigaali,+ ne ttanka ey’ekikomo*+ ebyali mu nnyumba ya Yakuwa, ekikomo ne bakitwala e Babulooni.+ 14 Ate era baatwala n’ebiyoolerwamu evvu, n’ebitiiyo, n’ebizikiza omuliro, n’ebikopo, n’ebintu ebirala byonna eby’ekikomo ebyakozesebwanga mu yeekaalu. 15 Omukulu w’abakuumi yatwala ebiyoolerwamu olunyata n’ebbakuli ebya zzaabu+ ne ffeeza.+ 16 Empagi ebbiri, ne ttanka, n’ebigaali Sulemaani bye yakolera ennyumba ya Yakuwa, ekikomo kyabyo kyali kingi nnyo nga tekiyinza na kupimibwa.+ 17 Empagi emu yali emikono* 18 obugulumivu,+ ng’eriko omutwe ogw’ekikomo, era omutwe gwali emikono esatu obugulumivu; omutwe gwali gwetooloddwa akatimba n’enkomamawanga, nga byonna bya kikomo.+ Empagi ey’okubiri n’akatimba kaayo nayo yali bw’etyo.
18 Ate era omukulu w’abakuumi yatwala Seraya+ eyali kabona omukulu, ne Zeffaniya+ kabona eyali amuddirira, n’abakuumi abasatu ab’oku mulyango.+ 19 Mu kibuga yaggyamu omukungu omu ow’omu lubiri eyali akulira abasirikale, banne ba kabaka ab’oku lusegere bataano abaasangibwa mu kibuga, omuwandiisi ow’omukulu w’eggye eyakunganga abantu, era n’abasajja 60 ku bantu aba bulijjo ab’omu nsi abaali bakyali mu kibuga. 20 Nebuzaladaani+ omukulu w’abakuumi yabatwala eri kabaka wa Babulooni e Libula.+ 21 Kabaka wa Babulooni yabattira e Libula mu kitundu ky’e Kamasi.+ Bwe batyo abantu b’omu Yuda ne baggibwa mu nsi yaabwe ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.+
22 Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni yalonda Gedaliya+ mutabani wa Akikamu,+ mutabani wa Safani,+ okufuga abantu be yali alese mu Yuda.+ 23 Abakulu b’eggye bonna n’abasajja baabwe bwe baawulira nti kabaka wa Babulooni alonze Gedaliya, amangu ago ne bagenda eri Gedaliya e Mizupa. Abaagenda be bano: Isimayiri mutabani wa Nesaniya, Yokanani mutabani wa Kaleya, Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa, Yaazaniya mutabani wa Maakasi, awamu n’abasajja baabwe.+ 24 Gedaliya yabalayirira bo n’abasajja baabwe, era n’abagamba nti: “Temutya kubeera baweereza ba Bakaludaaya. Mubeere mu nsi eno muweereze kabaka wa Babulooni, mujja kuba bulungi.”+
25 Mu mwezi ogw’omusanvu, Isimayiri+ mutabani wa Nesaniya, mutabani wa Erisaama, eyali ow’omu lulyo olulangira,* yagenda n’abasajja abalala kkumi ne batta Gedaliya awamu n’Abayudaaya era n’Abakaludaaya abaali naye e Mizupa.+ 26 Awo abantu bonna, abato n’abakulu, nga mw’otwalidde n’abakulu b’eggye, ne bagenda e Misiri,+ olw’okuba baali batya Abakaludaaya.+
27 Mu mwaka ogw’asatu mu omusanvu nga Yekoyakini+ kabaka wa Yuda ali mu buwaŋŋanguse, mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, ku lunaku olw’abiri mu omusanvu, Kabaka Eviru-merodaaki owa Babulooni yasumulula* Kabaka Yekoyakini owa Yuda mu kkomera. Ogwo gwe gwali omwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa Eviru-merodaaki.+ 28 Eviru-merodaaki yayogera ne Yekoyakini mu ngeri ey’ekisa, n’agulumiza entebe ye ey’obwakabaka okusinga entebe za bakabaka abalala abaali naye e Babulooni. 29 Yekoyakini yaggyamu ebyambalo bye eby’ekkomera n’aliiranga emmere mu maaso ga kabaka obulamu bwe bwonna. 30 Yaweebwanga omugabo gw’emmere okuva eri kabaka buli lunaku, obulamu bwe bwonna.