Engero
2 Omuntu by’ayogera bye bimuviiramu ebirungi,+
Naye ab’enkwe baagala bya bukambwe.
3 Oyo afuga akamwa ke* akuuma obulamu bwe,+
Naye oyo ayasamya ennyo akamwa ke ajja kugwa mu mitawaana.+
5 Omutuukirivu akyawa obulimba,+
Naye ebyo ababi bye bakola biswaza era biweebuula.
6 Obutuukirivu bukuuma oyo ataliiko kya kunenyezebwa,+
Naye ebikolwa ebibi bisuula omwonoonyi.
7 Waliwo omuntu eyeeyisa ekigagga, naye nga talina kantu;+
Ne wabaawo omulala eyeeyisa ng’omwavu, naye ng’alina eby’obugagga bingi.
11 Eby’obugagga ebifunibwa amangu* biggwaawo mangu,+
Naye eby’obugagga omuntu by’afuna empolampola* byeyongera okwala.
12 Ekisuubirwa* bwe kirwawo okutuuka, omutima gulwala,+
Naye ekyegombebwa bwe kifunibwa kiba ng’omuti ogw’obulamu.+
13 Oyo anyooma bye bamuyigiriza* ajja kwolekagana n’ebizibu ebinaavaamu,+
Naye assa ekitiibwa mu kiragiro ajja kufuna empeera.+
15 Omuntu omutegeevu aganja,
Naye ekkubo ly’ab’enkwe lijjudde ebizibu.
20 Omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi,+
Naye oyo akolagana n’abasirusiru ajja kugwa mu mitawaana.+
22 Omuntu omulungi alekera bazzukulu be eby’obusika,
Naye obugagga bw’ababi buterekerwa batuukirivu.+
23 Ennimiro z’abaavu zibala emmere nnyingi,
Naye eyinza* okutwalibwa olw’obutali bwenkanya.