Lwaki Abantu Bakola Ebintu Ebibi?
ABANTU abasinga obungi bagamba nti: Ffenna tetutuukiridde n’olwekyo tukola ensobi era tukola ebintu ne tubyejjusa oluvannyuma. Wadde kiri kityo, tugambe nti ekyo kye kireetera abantu okukola ebintu ebibi ennyo n’ebyo ebitali bibi nnyo, bye tulaba oba bye tuwulira kumpi buli lunaku ku mikutu gy’empuliziganya oba bye tuwulira ng’abantu boogera?
Wadde ng’abantu tebatuukiridde, okutwalira awamu bakimanyi nti waliwo ebintu bye batasaanidde kukola era nti balina obusobozi obw’okwewala okukola ebintu ebibi. Era abantu abasinga obungi bakimanyi nti waliwo enjawulo wakati w’okwogera ekintu ekitali kituufu nga togenderedde n’okwogera obubi ku muntu ng’ogenderedde, okutuusa akabi ku muntu nga togenderedde n’okutta omuntu ng’ogenderedde. Wadde kiri kityo, abantu abalabika ng’abatalina mutawaana be batera okukola ebintu ebyesisiwaza ennyo. Lwaki abantu bakola ebintu ebibi?
Baibuli erina ky’eyogera ku nsonga eno. Eraga bulungi ensonga enkulu eziviirako abantu okukola ebintu bye bamanyi nti bibi. Weetegereze ky’egamba.
▪ ‘Okunyigirizibwa kuyinza okuleetera omuntu omugezi okweyisa ng’omusirusiru.’—OMUBUULIZI 7:7.
Baibuli ekiraga nti emirundi egimu embeera embi eyinza okuleetera abantu okukola ebintu bye batandikoze. Abamu bayinza n’okuzza emisango nga balowooza nti kye kijja okubasobozesa okugonjoola ebizibu n’obutali bwenkanya. Ekitabo ekiyitibwa Urban Terrorism, kigamba nti “emirundi egisinga obungi, ekisinga okuleetera abantu okukola ebikolwa eby’obutujju kwe kuba nti baba beetamiddwa embeera embi mu by’obufuzi ne mu by’enfuna.”
▪ “Okwagala ssente ye nsibuko y’ebibi ebya buli ngeri.”—1 TIMOSEEWO 6:10.
Abamu bagamba nti n’abantu abalungi basobola okusuula omuguluka emitindo gy’empisa ennungi singa baweebwa ssente nnyingi. Abantu abamu abalabika ng’abalungi era ab’ekisa basobola okukyusa engeri zaabwe ne bafuuka abantu abakambwe singa bakimanya nti basobola okufuna ssente oba okuzifiirwa. Lowooza ku bikolwa ebibi ebiva ku kwagala ennyo ssente—okutiisatiisa abantu okusobola okubaggyako ssente, obukumpanya, okuwamba abantu, n’obutemu.
▪ “Kubanga omusango ogusalirwa ekikolwa ekibi tebagutuukiriza mangu, omutima gw’abaana b’abantu kyeguva gukakasibwa ddala mu bo okukola obubi.”—OMUBUULIZI 8:11.
Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti abantu basobola okukola ekintu kyonna singa abo abali mu buyinza baba tebabalaba. Bwe kityo bwe kiba eri abo abavuga endiima, ababba ebigezo, ababba ssente za gavumenti, oba abakola ebintu ebibi ebisinga n’awo. Abakwasisa amateeka bwe baba tebeefiirayo oba abantu bwe baba nga tebatya kukwatibwa, abo ababadde bakwata amateeka bayinza okuwalirizibwa okukola ebintu bye batandikoze. Magazini eyitibwa Arguments and Facts, egamba nti, “Olw’okuba abazzi b’emisango tebabonerezebwa, kirabika kye kiviirako abantu abalabika ng’abatalina mutawaana okuzza emisango egisingayo okuba egy’amaanyi.”
▪ “Buli muntu agezesebwa ng’atwalirizibwa era ng’asendebwasendebwa okwegomba kwe. Oluvannyuma okwegomba bwe kuba olubuto kuzaala ekibi.”—YAKOBO 1:14, 15.
Abantu bonna basobola okuba n’ebirowoozo ebibi. Buli lunaku, tukemebwa okukola ebintu ebibi. Edda ennyo mu biseera bya Baibuli, Abakristaayo baategeezebwa nti: “Okukemebwa kwonna okubatuukako kwekwo okutuuka ku bantu bonna.” (1 Abakkolinso 10:13) Wadde kiri kityo, kiri eri buli muntu okusalawo—okulekera awo okulowooza ku kintu ekibi oba okweyongera okukirowoozaako ne kikula. Ekyawandiikibwa ekiragiddwa waggulu ekiggiddwa mu bbaluwa ya Yakobo eyaluŋŋamizibwa, kitulabula nti singa omuntu aleka okwegomba okubi ne ‘kukula,’ asobola okukola ebintu ebibi.
▪ “Otambulanga n’abantu ab’amagezi, naawe oliba n’amagezi: naye munaabwe w’abasirusiru alibalagalwa.”—ENGERO 13:20.
Abantu be tukolagana nabo basobola okutuleetera okweyisa obulungi oba obubi. Emirundi mingi abantu bakola ebintu ebisobola okubaviiramu emitawaana olw’okupikirizibwa oba olw’okubeera n’emikwano emibi. Okusinziira ku Baibuli, ‘abantu abasirusiru,’ si beebo abatalina magezi, wabula beebo abatagoberera kubuulirira kulungi okuli mu Kigambo kya Katonda. Ka tube bakulu oba bato, bwe tutalonda mikwano gyaffe na magezi nga tusinziira ku mitindo emirungi egiri mu Baibuli, tujja kufuna ebizibu.
Ebyawandiikibwa ebyo awamu n’ebirala bingi ebiri mu Baibuli binnyonnyola bulungi ensonga lwaki abantu—oboolyawo n’abo abalabika ng’abatalina mutawaana—bakola ebintu ebibi ennyo era ebyesisiwaza. Wadde nga kirungi okutegeera ensonga eziviirako abantu okukola ebintu ebibi ennyo, waliwo essuubi lyonna nti ebikolwa ebyo biriggwaawo? Yee, kubanga Baibuli tekoma ku kunnyonnyola bunnyonnyozi nsonga lwaki abantu bakola ebintu ebibi, naye era esuubiza nti ebikolwa ng’ebyo bigenda kuggwawo. Ebisuubizo ebyo bye biruwa? Ddala ebintu ebibi byonna ebiri mu nsi binaakoma? Ekitundu ekiddako kiddamu ebibuuzo ebyo.