Isaaya
2 Era buli omu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu okuwona embuyaga,
Ng’ekifo eky’okweggamamu* enkuba ey’amaanyi,
Aliba ng’emigga mu nsi etaliimu mazzi,+
Ng’ekisiikirize ky’olwazi olunene mu nsi enkalu.
3 Mu kiseera ekyo, amaaso g’abo abalaba tegalizibirira nate,
N’amatu g’abo abawulira galiwuliriza.
4 Omutima gw’abo abapakuka gulifumiitiriza ku kumanya,
N’olulimi olunanaagira lulyogera bulungi era mu ngeri etegeerekeka.+
5 Omusirusiru aliba takyayitibwa mugabi,
N’omuntu ow’empisa embi taliyitibwa wa kitiibwa;
6 Kubanga omusirusiru alyogera eby’obusirusiru,
Era omutima gwe guligunja ebintu eby’akabi,+
Okwogera ebintu ebitali bituufu ku Yakuwa n’okuleetera abalala okwewaggula,
Okuleka omuyala okugenda enjala,
N’okumma alumwa ennyonta eky’okunywa.
7 Ebintu omuntu ow’empisa embi by’ateekateeka bibi;+
Aleetera abalala okwenyigira mu bikolwa eby’obuswavu
Okwonoona omunaku ng’ayogera eby’obulimba,+
Omwavu ne bw’ayogera ekituufu.
8 Naye omugabi ayagala okugabira abalala,
Era anyiikirira ebikolwa eby’okugaba.
9 “Mmwe abakazi abateefiirayo, muyimuke muwulirize eddoboozi lyange!
Mmwe abawala abatalina kibeeraliikiriza,+ musseeyo omwoyo ku ebyo bye ŋŋamba!
10 Mu mwaka gumu n’ennaku ntono, mmwe abatalina kibeeraliikiriza mulikankana,
Kubanga tewalibaawo bibala bikunguddwa ng’okukungula kw’ezzabbibu kuwedde.+
11 Mukankane mmwe abakazi abateefiirayo!
Mukankane mmwe abatalina kibeeraliikiriza!
Mweyambule,
Era mwesibe ebibukutu mu biwato.+
12 Mukube mu bifuba byammwe mukaabe
Olw’ekyo ekyatuuka ku nnimiro ennungi ne ku muzabbibu ogubala ennyo.
13 Ettaka ly’abantu bange liribikkibwa amaggwa n’obuti obw’amaggwa;
Biribikka amayumba gonna agaalimu okujaganya,
Ekibuga ekyalimu okusanyuka.+
14 Kubanga ekigo kyabuliddwa;
Ekibuga ekibaddemu okuyoogaana tekisigaddeemu muntu.+
Oferi+ n’omunaala gw’omukuumi bifuuse matongo ag’enkalakkalira,
Bifuuse ssanyu lya ndogoyi ez’omu nsiko,
Bifuuse ddundiro lya bisolo,+
15 Okutuusa lwe tulifukibwako omwoyo okuva waggulu,+
Era eddungu ne lifuuka ennimiro y’emiti egy’ebibala,
N’ennimiro y’emiti egy’ebibala n’eba ng’ekibira.+
16 Olwo obwenkanya bulibeera mu ddungu,
N’obutuukirivu bulibeera mu nnimiro y’emiti egy’ebibala.+
17 Obutuukirivu obwa nnamaddala bulivaamu emirembe,+
Era obutuukirivu obwa nnamaddala bulireeta obuteefu n’obutebenkevu eby’olubeerera.+
18 Abantu bange balibeera mu kifo ekirimu emirembe eky’enkalakkalira,
Balibeera mu bifo ebirimu obutebenkevu ne mu bifo eby’okuwummuliramu ebiteefu.+
19 Naye omuzira gulikuba ekibira ne kigwa,
N’ekibuga kirisuulirwa ddala wansi.
20 Mulina essanyu mmwe abasiga ensigo ku mabbali g’amazzi gonna,
Mmwe abasumulula ente n’endogoyi.”+