Mikka
Bajja kukuba omulamuzi wa Isirayiri ku ttama n’omuggo.+
Ggwe omutono ennyo okubalirwa mu nkumi* za Yuda,
Mu ggwe mwe muliva omufuzi wa Isirayiri alikola bye njagala;+
Ensibuko ye ya mu biseera eby’edda, mu nnaku ez’edda.
3 Kale Katonda alibawaayo
Okutuusa mu kiseera oyo ow’okuzaala lw’alizaala.
Era baganda b’omufuzi abalala balikomawo eri abantu ba Isirayiri.
Omwasuli bw’alijja mu nsi yaffe n’atambulira ku bigo byaffe,+
Tulissaawo abasumba musanvu okumulwanyisa, weewaawo abakulembeze munaana okuva mu bantu.
Omufuzi alituwonya Omwasuli,+
Bw’alirumba ensi yaffe n’atambulira mu nsi yaffe.
7 Aba Yakobo abalisigalawo baliba mu mawanga amangi
Ng’omusulo oguva eri Yakuwa,
Era ng’enkuba etonnya ku bimera
Ebitateeka ssuubi lyabyo mu bantu
Era ebitalindirira baana ba bantu.
8 Era aba Yakobo abalisigalawo baliba mu mawanga,
Wakati mu bantu abangi,
Ng’empologoma eri mu nsolo ez’omu kibira,
Ng’empologoma envubuka eri mu bisibo by’endiga;
Ebiyitamu n’ebibuukira era n’ebiyuzaayuza;
Era tewali abiwonya.
9 Oliwangula abalabe bo,
Era abalabe bo bonna balizikirizibwa.”
10 Bw’ati Yakuwa bw’agamba, “Ku lunaku olwo
Ndizikiriza embalaasi zo era ndisaanyaawo amagaali go.
11 Ndizikiriza ebibuga by’omu nsi yo
Era ndimenyaamenya ebigo byo byonna.
13 Ndisaanyaawo ebifaananyi byo ebyole n’empagi zo,
Era toliddamu kuvunnamira mulimu gwa mikono gyo.+
15 Mu busungu n’ekiruyi ndiwoolera eggwanga
Ku mawanga agatawulira.”