Yobu
2 Awo olunaku ne lutuuka nate, abaana ba Katonda ow’amazima*+ ne bagenda okweyanjula mu maaso ga Yakuwa,+ ne Sitaani naye n’agendera mu bo okweyanjula eri Yakuwa.+
2 Yakuwa n’abuuza Sitaani nti: “Ova wa?” Sitaani n’addamu Yakuwa nti: “Nva kuyitaayita mu nsi n’okugitambulatambulamu.”+ 3 Yakuwa n’agamba Sitaani nti: “Olowoozezza* ku muweereza wange Yobu? Tewali alinga ye ku nsi. Musajja mwesigwa+ era mugolokofu,* atya Katonda, era yeewala ebibi. Akyakuumye obugolokofu bwe+ wadde ng’ogezezzaako okundeetera mmusunguwalire+ mmutte* awatali nsonga.” 4 Naye Sitaani n’addamu Yakuwa nti: “Olususu ku lw’olususu. Omuntu anaawaayo byonna by’alina olw’obulamu bwe. 5 Kale golola omukono gwo okwate ku magumba ge n’omubiri gwe, olabe obanga taakwegaanire mu maaso go.”+
6 Awo Yakuwa n’agamba Sitaani nti: “Laba! Ali mu mukono gwo!* Naye tomutta!” 7 Awo Sitaani n’ava mu maaso ga Yakuwa, n’alwaza Yobu amayute agaluma ennyo,+ okuva ku bigere okutuuka ku mutwe. 8 Yobu n’akwata oluggyo okweyaguza; n’atuula mu vvu.+
9 Mukyala we n’amugamba nti: “Okyakuumye obugolokofu bwo? Weegaane Katonda ofe!” 10 Kyokka Yobu n’amugamba nti: “Oyogera ng’abakazi abasirusiru. Tunakkirizanga birungi byokka okuva eri Katonda ow’amazima, ebibi ne tutabikkiriza?”+ Mu ebyo byonna ebyamutuukako, Yobu teyayonoona na mimwa gye.+
11 Mikwano gya Yobu abasatu, Erifaazi+ Omutemani, Birudaadi+ Omusuuki,+ ne Zofali+ Omunaamasi, bwe baawulira emitawaana egyali gituuse ku Yobu, buli omu n’ava mu kitundu ky’ewaabwe, ne balagaana okusisinkana bagende basaasire Yobu era bamubudeebude. 12 Bwe baamulengera, tebaamutegeererawo. Naye bwe baategeera nti ye Yobu, ne batema emiranga, ne bayuza ebyambalo byabwe, ne bamansa enfuufu mu bbanga era ne bagyeyiira ku mitwe.+ 13 Ne batuula naye ku ttaka okumala ennaku musanvu emisana n’ekiro. Tewali n’omu yayogera naye, kubanga baalaba nga yali mu bulumi bwa maanyi.+