Makko
3 Awo n’ayingira nate mu kkuŋŋaaniro; mu kkuŋŋaaniro eryo mwalimu omusajja eyalina omukono ogwakala.*+ 2 Abafalisaayo baali bamwekaliriza okulaba obanga anaawonya omusajja oyo ku Ssabbiiti basobole okumuvunaana. 3 N’agamba omusajja eyalina omukono ogwakala* nti: “Situka ojje wano mu makkati.” 4 Awo n’ababuuza nti: “Ku Ssabbiiti kikkirizibwa okukola ekintu ekirungi oba ekibi, okuwonya oba okutta?”+ Naye ne batamuddamu. 5 Bwe yamala okubeebulunguluza amaaso, nga munyiivu era nga munakuwavu nnyo olw’emitima gyabwe+ emikakanyavu, n’agamba omusajja nti: “Golola omukono gwo.” N’agugolola ne guwona. 6 Awo Abafalisaayo ne bafuluma era amangu ago ne bateesa n’abagoberezi ba Kerode+ okumutta.
7 Naye Yesu n’abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja era ekibiina ky’abantu kinene okuva e Ggaliraaya n’e Buyudaaya ne kimugoberera.+ 8 N’abantu abalala bangi okuva e Yerusaalemi, Idumaya, emitala wa Yoludaani, ne mu bitundu ebyetooloodde Ttuulo ne Sidoni, bwe baawulira ebintu bye yali akola, ne bajja gy’ali. 9 Awo n’agamba abayigirizwa be bamufunire akaato abantu baleme kumwenyigirizaako. 10 Olw’okuba yawonya bangi, abo bonna abaalina endwadde ez’amaanyi baali beenyigiriza, basobole okumukwatako.+ 11 N’emyoyo emibi+ buli lwe gyamulabanga, nga gigwa wansi mu maaso ge ne giwoggana nga gigamba nti: “Ggwe Mwana wa Katonda.”+ 12 Naye emirundi mingi yagiragiranga obutamumanyisa.+
13 Awo n’alinnya ku lusozi, n’ayita abamu+ ku bayigirizwa be ne bagenda gy’ali.+ 14 N’alondako 12, n’abayita abatume. Abo be baali ab’okutambulanga naye, era abo be yali ajja okutumanga okugenda okubuulira 15 n’okuba n’obuyinza okugoba dayimooni.+
16 Era ekkumi n’ababiri+ be yalonda be bano: Simooni, gwe yatuuma Peetero,+ 17 Yakobo mutabani wa Zebedaayo, Yokaana muganda wa Yakobo, (era bano yabatuuma erinnya Bowanerege, amakulu gaalyo nti, “Baana ba Kubwatuka”),+ 18 Andereya, Firipo, Battolomaayo, Matayo, Tomasi, Yakobo mutabani wa Alufaayo, Saddayo, Simooni Omukananaayo,* 19 ne Yuda Isukalyoti, oluvannyuma eyamulyamu olukwe.
Awo Yesu n’ayingira mu nnyumba, 20 era nate abantu ne bakuŋŋaana bangi, Yesu n’abayigirizwa be ne batafuna na kaseera ka kulya mmere. 21 Naye ab’eŋŋanda ze bwe baawulira ekyaliwo, ne bajja bamutwale, kubanga baali bagamba nti: “Atabuse omutwe.”+ 22 N’abawandiisi abaava e Yerusaalemi baali bagamba nti: “Aliko Beeruzebuli* era agoba dayimooni ng’akozesa maanyi ga mufuzi wa badayimooni.”+ 23 Awo bwe yabayita okujja gy’ali, n’atandika okwogera nabo ng’akozesa ebyokulabirako, n’agamba nti: “Sitaani ayinza atya okugoba Sitaani? 24 Obwakabaka bwe bweyawulamu, tebusobola kusigalawo;+ 25 n’amaka bwe geeyawulamu, tegasobola kusigalawo. 26 Ne Sitaani bwe yeerwanyisa yekka obwakabaka bwe ne bweyawulamu tayinza kubeerawo, era eyo y’eba enkomerero ye. 27 Mu butuufu, tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya musajja ow’amaanyi n’abbamu ebintu bye, okuggyako ng’asoose kumusiba. Olwo aba asobola okunyaga eby’omu nnyumba ye. 28 Mazima ddala mbagamba nti, ebintu byonna bijja kusonyiyibwa abaana b’abantu, ka bibeere bibi bya ngeri ki, oba kuvvoola kwa ngeri ki kwe bavvoola. 29 Naye oyo yenna avvoola omwoyo omutukuvu talisonyiyibwa emirembe gyonna,+ naye aba n’ekibi emirembe n’emirembe.”+ 30 Bino yabyogera olw’okuba baali bagamba nti: “Aliko omwoyo omubi.”+
31 Awo nnyina ne baganda be+ ne bajja, ne bayimirira wabweru, ne batuma omuntu munda okumuyita.+ 32 Abantu bangi baali batudde nga bamwetoolodde, ne bamugamba nti: “Laba! Maama wo ne baganda bo bali wabweru baagala okukulaba.”+ 33 Naye n’abaddamu nti: “Maama wange ne baganda bange be baani?” 34 Awo n’atunuulira abo abaali batudde nga bamwetoolodde, n’agamba nti: “Laba, maama wange ne baganda bange be bano!+ 35 Buli akola Katonda by’ayagala, ye muganda wange, mwannyinaze era maama wange.”+