Ebikolwa
8 Sawulo yasanyukira okuttibwa kwa Siteefano.+
Okuva ku lunaku olwo ekibiina ekyali mu Yerusaalemi kyatandika okuyigganyizibwa ennyo, era abayigirizwa bonna, okuggyako abatume, ne basaasaanira mu bitundu by’e Buyudaaya n’e Samaliya.+ 2 Naye abasajja abatya Katonda ne batwala Siteefano okumuziika, era ne bamukungubagira nnyo. 3 Kyokka Sawulo yatandika okutigomya ekibiina. Yayingiranga mu buli nnyumba n’asikambulamu abasajja n’abakazi n’abatwala mu kkomera.+
4 Naye abo abaasaasaana ne bagenda mu kitundu ekyo kyonna nga balangirira amawulire amalungi ag’ekigambo kya Katonda.+ 5 Awo Firipo n’aserengeta mu kibuga ky’e Samaliya+ n’atandika okubuulira abaayo ebikwata ku Kristo. 6 Bonna bassangayo nnyo omwoyo ku bintu bye yali ayogera, nga bawuliriza era nga balaba obubonero bwe yali akola. 7 Bangi baaliko emyoyo emibi, era gyaleekaananga nnyo ne gibavaako.+ Ate era bangi abaali baasannyalala n’abalema baawonyezebwa. 8 Ne wabaawo essanyu lingi mu kibuga ekyo.
9 Mu kibuga mwalimu omusajja ayitibwa Simooni eyali akola eby’obufuusa, nga yeewuunyisa nnyo eggwanga ly’Abasamaliya, era ng’agamba nti yali muntu wa kitalo nnyo. 10 Bonna, okuva ku asembayo okuba owa wansi okutuuka ku asinga okuba ow’ekitiibwa, baamuwulirizanga ne bagamba nti: “Omusajja ono ge Maanyi ga Katonda agayitibwa ag’Ekitalo.” 11 Baamuwulirizanga olw’okuba yabawuniikiriza okumala ekiseera olw’eby’obufuusa bye yali akola. 12 Naye Firipo bwe yababuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda+ ne ku linnya lya Yesu Kristo ne bakkiriza, abasajja n’abakazi ne babatizibwa.+ 13 Simooni naye yafuuka omukkiriza, era bwe yamala okubatizibwa, n’abeeranga ne Firipo;+ yeewuunya bwe yalaba obubonero n’ebikolwa eby’amaanyi ebyali bikolebwa.
14 Abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira nti ab’omu Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda,+ ne babatumira Peetero ne Yokaana, 15 ne bagendayo ne babasabira bafune omwoyo omutukuvu,+ 16 kubanga tewali n’omu ku bo eyali agufunye, wabula baali babatiziddwa bubatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu.+ 17 Awo ne babassaako emikono,+ ne batandika okufuna omwoyo omutukuvu.
18 Simooni bwe yalaba ng’abatume bassa emikono gyabwe ku bantu ne bafuna omwoyo, n’asuubiza okubawa ssente, 19 n’agamba nti: “Nange mumpe obuyinza buno, buli muntu gwe nteekako emikono asobole okufuna omwoyo omutukuvu.” 20 Naye Peetero n’amugamba nti: “Ssente zo ka zizikirire naawe, kubanga oyagala okufuna ekirabo kya Katonda ng’owaayo ssente.+ 21 Tolina mugabo gwonna mu nsonga eno, kubanga omutima gwo si mwesimbu mu maaso ga Katonda. 22 N’olwekyo, weenenye ekibi kyo, weegayirire Yakuwa* akusonyiwe ekigendererwa ekibi ekiri mu mutima gwo; 23 kubanga nkiraba nti omutima gwo gujjudde obusagwa era oli muddu w’obutali butuukirivu.” 24 Simooni n’abagamba nti: “Munneegayiririre Yakuwa,* ku bye mwogedde byonna waleme kubaawo na kimu kintuukako.”
25 Bwe baamala okuwa obujulirwa mu bujjuvu n’okwogera ekigambo kya Yakuwa,* ne baddayo e Yerusaalemi, nga bagenda babuulira amawulire amalungi mu byalo bingi eby’Abasamaliya.+
26 Naye malayika+ wa Yakuwa* n’agamba Firipo nti: “Genda mu bukiikaddyo okwate ekkubo eriva e Yerusaalemi okugenda e Gaaza.” (Ekkubo lino liyita mu ddungu.) 27 Awo n’agenda n’asanga omusajja Omwesiyopiya omulaawe* eyali omukungu wa Kandake kabaka omukazi owa Esiyopiya, era ye yali omuwanika w’eby’obugagga bye byonna. Yali agenze e Yerusaalemi okusinza,+ 28 naye mu kiseera ekyo yali addayo mu nsi ye, era yali atudde mu ggaali lye ng’asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya mu ddoboozi eriwulikika. 29 Awo omwoyo ne gugamba Firipo nti: “Semberera eggaali eryo.” 30 Firipo n’adduka n’atuuka okumpi n’eggaali n’amuwulira ng’asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya mu ddoboozi eriwulikika, n’amubuuza nti: “Ddala otegeera by’osoma?” 31 N’amuddamu nti: “Nnyinza ntya okubitegeera okuggyako nga waliwo annyinyonnyodde?” Ne yeegayirira Firipo alinnye eggaali atuule naye. 32 Ekitundu kye yali asoma mu Byawandiikibwa kyali kigamba nti: “Yaleetebwa ng’endiga okuttibwa, era ng’omwana gw’endiga bwe gusirika nga guli mu maaso g’omusazi w’ebyoya, teyayasamya kamwa ke.+ 33 Yafeebezebwa era omusango gwe tegwasalibwa mu bwenkanya.+ “Olw’okuba obulamu bwe bujja kuggibwawo ku nsi,+ ani alyogera ebikwata ku nsibuko ye?”*
34 Awo omulaawe n’abuuza Firipo nti: “Nkusaba ombuulire, bino nnabbi abyogera ku ani? Ku ye kennyini oba ku muntu mulala?” 35 Firipo n’atandika okwogera, n’atandikira ku Kyawandiikibwa ekyo n’amubuulira amawulire amalungi agakwata ku Yesu. 36 Bwe baali bagenda, ne batuuka awali amazzi amangi, omulaawe n’agamba nti: “Laba! Amazzi gaago; kiki ekiŋŋaana okubatizibwa?” 37 *— 38 Awo n’alagira eggaali liyimirizibwe, bombi Firipo n’omulaawe ne bakka mu mazzi, Firipo n’amubatiza. 39 Bwe baava mu mazzi, omwoyo gwa Yakuwa* ne gutwala Firipo mangu, omulaawe n’ataddamu kumulaba, naye n’agenda nga musanyufu. 40 Kyokka Firipo n’agenda mu Asudodi, n’ayita mu kitundu ekyo ng’abuulira amawulire amalungi mu bibuga byonna okutuusa lwe yatuuka e Kayisaliya.+