Ebikolwa
5 Kyokka, omusajja ayitibwa Ananiya ne mukyala we Safira baatunda ekibanja, 2 ssente ezimu n’aziggyako n’azitereka nga ne mukyala we amanyi, ezaasigalawo n’azireetera abatume.+ 3 Naye Peetero n’amubuuza nti: “Ananiya, lwaki wakkirizza Sitaani okukuwaga n’olimba+ omwoyo omutukuvu+ n’otoola ku ssente ze mwatunda mu kibanja n’ozitereka? 4 Bwe wali nga tonnakitunda tekyali kikyo? Era bwe wamala okukitunda ssente ezaavaamu tezaali zizo? Oyinza otya okulowooza okukola ekintu ekibi ng’ekyo? Tolimbye bantu wabula olimbye Katonda.” 5 Ananiya bwe yawulira ebigambo ebyo, n’agwa wansi n’afa, era abo bonna abaakiwulira ne batya nnyo. 6 Oluvannyuma abavubuka ne bajja ne bamuzinga mu ngoye ne bamutwala ne bamuziika.
7 Oluvannyuma lw’essaawa nga ssatu, mukyala we yajja nga tamanyi kyabaddewo. 8 Peetero n’amubuuza nti: “Mbuulira, ekibanja mwakitunda ssente bwe ziti?” N’amuddamu nti: “Yee, ezo ze ssente ze twakitunda.” 9 Peetero n’amugamba nti: “Lwaki mmwembi mwateesezza okugezesa omwoyo gwa Yakuwa?* Laba! Abo abaziise omwami wo bali ku mulyango era naawe bagenda kukutwala.” 10 Amangu ago n’agwa ku bigere bya Peetero, n’afa. Abavubuka bwe baayingira, baasanga afudde, ne bamutwala ne bamuziika okumpi n’omwami we. 11 Awo ekibiina kyonna n’abo bonna abaawulira ebintu ebyo ne batya nnyo.
12 Abatume ne beeyongeranga okukola obubonero bungi n’ebyamagero mu bantu,+ era bonna baakuŋŋaniranga mu Lukuubo lwa Sulemaani.+ 13 Kyo kituufu nti abalala tebaalina buvumu kubeegattako, wadde kyali kityo, abantu baaboogerangako birungi. 14 Ng’oggyeeko ekyo, omuwendo munene ogw’abakazi n’abasajja abakkiriza Mukama waffe gw’agenda gubeegattako.+ 15 Baleetanga n’abalwadde ne babateeka ku nguudo nga babagalamizza ku butanda ne ku biwempe, nga baagala Peetero bw’aba ng’ayitawo, waakiri ekisiikirize kye kituuke ku bamu.+ 16 Ate era, abantu bangi okuva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi beeyongera okujja nga basitudde abalwadde n’abo abaali batawaanyizibwa emyoyo emibi, era bonna ne bawonyezebwa.
17 Naye kabona asinga obukulu n’abo bonna abaali naye, abaali ab’akabiina k’Abasaddukaayo, ne basituka nga bakwatiddwa obuggya, 18 ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera.+ 19 Naye ekiro, malayika wa Yakuwa* n’aggulawo enzigi z’ekkomera,+ n’abafulumya era n’abagamba nti: 20 “Mugende mu yeekaalu mweyongere okubuulira abantu byonna ebikwata ku bulamu buno.” 21 Bwe baamala okuwulira ebyo, ne bayingira mu yeekaalu nga bukya ne batandika okuyigiriza.
Kabona asinga obukulu n’abo abaali naye bwe baatuuka, ne bayita Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya n’abakadde bonna ab’abaana ba Isirayiri, ne batumya mu kkomera baleete abatume mu maaso gaabwe. 22 Naye abakuumi ba yeekaalu bwe baatuuka mu kkomera, tebaabasangamu, ne baddayo 23 ne babagamba nti: “Ekkomera tusanze lisibiddwa bulungi era nga n’abakuumi bayimiridde ku mulyango, naye bwe tugguddewo tetulina n’omu gwe tusanzeemu.” 24 Omukulu w’abakuumi ba yeekaalu ne bakabona abakulu bwe baawulira ebigambo ebyo, ne basoberwa nga tebamanyi kinaddirira. 25 Naye omusajja omu n’ajja n’abagamba nti: “Laba! Abasajja be mwasibye mu kkomera bali mu yeekaalu, bayimiridde era bayigiriza abantu.” 26 Awo omukulu w’abakuumi ba yeekaalu n’agenda n’abakuumi be ne babaleeta, naye si na bukambwe, olw’okuba baali batya abantu okubakuba amayinja.+
27 Ne babaleeta ne babayimiriza mu maaso g’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya. Kabona asinga obukulu n’ababuuza ebibuuzo 28 era n’abagamba nti: “Twabalagira obutayigiriza mu linnya lino,+ naye laba! mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe era mwagala tunenyezebwe olw’okufa kw’omusajja oyo.”+ 29 Peetero n’abatume abalala ne baddamu nti: “Tuteekwa kugondera Katonda so si bantu.+ 30 Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu gwe mwatta nga mumuwanika ku muti.+ 31 Katonda yamugulumiza okuba Omubaka Omukulu+ era Omulokozi,+ n’amuteeka ku mukono gwe ogwa ddyo,+ Isirayiri esobole okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi.+ 32 Ffe awamu n’omwoyo omutukuvu+ Katonda gw’awadde abo abamutwala ng’omufuzi waabwe era abamugondera, tuli bajulirwa b’ebintu ebyo.”+
33 Bwe baawulira ekyo, ne basunguwala nnyo era ne baagala okubatta. 34 Naye Omufalisaayo ayitibwa Gamalyeri+ eyali ayigiriza Amateeka, era ng’abantu bonna bamussaamu ekitiibwa, n’ayimirira mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya n’alagira abatume bafulumizibwe ebweru okumala akaseera katono. 35 N’abagamba nti: “Abasajja ba Isirayiri, mwegendereze ekyo kye mwagala okukola abasajja bano. 36 Ng’ekyokulabirako, emabegako waaliwo Tewuda eyagambanga nti yali muntu mukulu nnyo, era abasajja abawera nga 400 beegatta ku kibiina kye. Naye yattibwa, era abo bonna abaali bamugoberera ne basaasaana, n’ekibiina kye yatandikawo ne kisaanawo. 37 Bwe yavaawo ne waddawo Yuda Omugaliraaya mu kiseera ky’okuwandiisa abantu, n’afuna abagoberezi. Omusajja oyo naye yazikirira, era abo bonna abaali bamugoberera ne basaasaana. 38 N’olwekyo mbagamba nti, muve ku basajja bano. Bwe kiba nti enteekateeka eno oba omulimu guno gwa bantu, gujja kukoma, 39 naye bwe guba nga gwa Katonda, temusobola kugukomya,+ kubanga muyinza okwesanga nga mulwanyisa Katonda yennyini.”+ 40 Ne bamuwuliriza, ne bayita abatume ne babakuba,+ era ne babalagira obutaddamu kwogera mu linnya lya Yesu, ne babaleka ne bagenda.
41 Awo abatume ne bava mu maaso g’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya nga basanyufu+ olw’okuba Katonda yali abawadde enkizo okuweebuulwa olw’erinnya lya Yesu. 42 Era buli lunaku beeyongera okuyigiriza n’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Kristo Yesu+ mu yeekaalu ne nnyumba ku nnyumba+ awatali kuddirira.