Okubikkulirwa
18 Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu ng’alina obuyinza bungi; ekitiibwa kye ne kimulisa ensi. 2 N’ayogerera waggulu n’eddoboozi eddene, n’agamba nti: “Kigudde! Babulooni Ekinene kigudde,+ era kifuuse ekifo ekibeeramu badayimooni, era omwekweka buli mwoyo mubi,* na buli kinyonyi ekitali kirongoofu era ekitaagalibwa!+ 3 Kubanga amawanga gonna gatamidde omwenge ogw’okwagala ennyo ebikolwa* byakyo eby’obugwenyufu,*+ era bakabaka b’ensi baayenda nakyo,+ n’abasuubuzi b’ensi baagaggawala olw’okwejalabya kwakyo okuyitiridde okutakikwasa nsonyi.”
4 Awo ne mpulira eddoboozi eddala okuva mu ggulu nga ligamba nti: “Mukifulumemu abantu bange,+ bwe muba nga temwagala kussa kimu nakyo mu bibi byakyo, era bwe muba nga temwagala kugabana ku bibonyoobonyo byakyo.+ 5 Kubanga ebibi byakyo byetuumye ne bituukira ddala ku ggulu,+ era Katonda ajjukidde ebikolwa byakyo ebitali bya bwenkanya.*+ 6 Kisasulwe nga bwe kyayisanga abalala,+ kisasulwe emirundi ebiri olw’ebintu bye kyakolanga;+ ekikopo+ kye kyatabula, bakikitabulire emirundi ebiri.+ 7 Gye kyakoma okwegulumiza n’okwejalabya ekiyitiridde gye kiba kikoma okubonyaabonyezebwa n’okukungubaga. Kubanga kigamba mu mutima gwakyo nti: ‘Nfuga nga kabaka, siri nnamwandu, era sirikungubaga n’akatono.’+ 8 Eyo ye nsonga lwaki ebibonyoobonyo byakyo bino bigenda kukijjira ku lunaku lumu, okufa, okukungubaga, n’enjala, era kijja kwokebwa ddala omuliro,+ kubanga Yakuwa* Katonda akisalidde omusango, wa maanyi.+
9 “Bakabaka b’ensi abaayenda nakyo era abeejalabyanga nakyo balikaaba ne banakuwala nnyo ku lwakyo bwe baliraba omukka ogunyooka nga kyokebwa. 10 Baliyimirira wala olw’okutya okubonyaabonyezebwa kwakyo, era baligamba nti: ‘Kitalo nnyo, kitalo nnyo, ggwe ekibuga ekinene,+ Babulooni ekibuga eky’amaanyi, kubanga mu ssaawa emu omusango ogwakusalirwa gutuukiriziddwa!’
11 “N’abasuubuzi b’oku nsi balikikaabira era balikikungubagira, kubanga waliba tewakyali agula byamaguzi byabwe, 12 ebyamaguzi ebya zzaabu, ffeeza, amayinja ag’omuwendo, luulu, engoye eza kitaani ennungi, engoye eza kakobe, eza liiri, n’emmyufu; na buli kintu ekyakolebwa mu muti ogw’akawoowo, na buli kintu eky’amasanga, na buli kintu ekyakolebwa mu muti ogw’omuwendo, mu kikomo, mu kyuma, ne mu mayinja agalabika obulungi; 13 ne mudalasiini, ebirungo, obubaani, amafuta ag’akaloosa, obubaani obweru, omwenge, amafuta g’ezzeyituuni, obuwunga obutaliimu mpulunguse, eŋŋaano, ente, endiga, embalaasi, ebigaali, abaddu, n’obulamu bw’abantu. 14 Ebibala ebirungi by’oyagala bikuvuddeko, era n’emmere ennungi awamu n’ebintu ebirungi ennyo bikuweddeko, tebiriddamu kulabika.
15 “Abasuubuzi abaatundanga ebintu ebyo, be kyagaggawaza, baliyimirira wala olw’okutya okubonyaabonyezebwa kwakyo, era balikaaba ne bakungubaga, 16 nga bagamba nti, ‘Kitalo nnyo, kitalo nnyo, ekibuga ekinene, ekyambadde olugoye olwa kitaani olulungi, n’olwa kakobe, n’olumyufu, era ekyetonyeetonye ne zzaabu n’amayinja ag’omuwendo ne luulu,+ 17 kubanga mu ssaawa emu obugagga obwo bwonna buzikiridde!’
“Era buli mugoba w’ekyombo na buli asaabala ku nnyanja, n’abalunnyanja, n’abakolera emirimu gyabwe ku nnyanja ne bayimirira walako 18 ne boogerera waggulu nga balaba omukka ogunyooka nga kyokebwa ne bagamba nti: ‘Kibuga ki ekiringa ekibuga kino ekinene?’ 19 Ne beeyiira enfuufu mu mitwe ne boogerera waggulu nga bakaaba era nga bakungubaga ne bagamba nti: ‘Kitalo nnyo, kitalo nnyo, ekibuga ekinene ekyagaggawaza abo bonna abaalina ebyombo ku nnyanja olw’obugagga bwakyo, kubanga kizikiriziddwa mu ssaawa emu!’+
20 “Musanyuke mmwe eggulu+ olw’ekyo ekikituseeko, nammwe abatukuvu+ n’abatume ne bannabbi, kubanga Katonda akisalidde omusango ku lwammwe!”+
21 Malayika ow’amaanyi n’asitula ejjinja eriringa olubengo olunene n’alisuula mu nnyanja, n’agamba nti: “Bwe kityo Babulooni ekibuga ekinene bwe kirisuulibwa amangu, era tekiriddamu kulabika nate.+ 22 Era n’amaloboozi g’abayimbi abayimba nga bakuba entongooli n’ag’abafuuyi b’endere n’ag’abafuuyi b’amakondeere n’ag’abayimbi abalala, tegaliwulirwa mu ggwe nate. Era tewali mukozi yenna aliddamu okulabika mu ggwe, era tewali ddoboozi lya lubengo liriwulirwa mu ggwe nate. 23 Ekitangaala ky’ettaala tekiriddamu kwaka mu ggwe, n’eddoboozi ly’omugole omukazi n’omugole omusajja teririwulirwa mu ggwe nate; kubanga abasuubuzi bo be baali abakungu ab’omu nsi, era amawanga gonna gaabuzaabuzibwa olw’ebikolwa byo eby’obusamize.+ 24 Mu kyo mwasangibwamu omusaayi gwa bannabbi, n’ogw’abatukuvu,+ n’ogw’abo bonna abattibwa ku nsi.”+