Eby’Abaleevi
5 “‘Omuntu bw’ayonoonanga olw’okuba teyayogera ng’awulidde ekirango ekiyita ab’okuwa obujulizi,*+ so nga yali mujulizi oba nga yalaba ekyaliwo oba nga yakitegeerako, omuntu oyo anaavunaanibwanga olw’ensobi ye.
2 “‘Oba omuntu bw’akoonanga ku kintu kyonna ekifudde ekitali kirongoofu, k’ebe nsolo ey’omu nsiko etali nnongoofu, oba ensolo ey’awaka etali nnongoofu, oba ekiramu ekibeera mu bibinja ekitali kirongoofu,+ taabenga mulongoofu, era anaabangako omusango wadde nga yakikoonako nga tagenderedde. 3 Oba mu butali bugenderevu, omuntu bw’akoonanga ku butali bulongoofu bw’omuntu,+ kwe kugamba, ekintu kyonna ekitali kirongoofu ekisobola okumufuula atali mulongoofu, n’akimanya, anaabangako omusango.
4 “‘Omuntu bw’ayanguyirizanga okulayira okukola ekintu kyonna, ka kibe kirungi oba kibi, naye oluvannyuma n’amanya nti yayanguyiriza okulayira, anaabangako omusango.*+
5 “‘Omuntu bw’abangako omusango mu kimu ku ebyo, anaayatulanga+ ekibi ky’akoze. 6 Era anaaleetanga eri Yakuwa ekiweebwayo olw’omusango olw’ekibi ky’anaabanga akoze,+ kwe kugamba, anaaleetanga endiga ento enkazi oba embuzi ento enkazi, ng’ekiweebwayo olw’ekibi, era kabona anaatangiriranga ekibi kye.
7 “‘Naye bw’abanga tasobola kuwaayo ndiga, anaaleetanga eri Yakuwa amayiba abiri oba enjiibwa bbiri ento+ ng’ekiweebwayo kye olw’omusango, ekimu nga kya kiweebwayo olw’ekibi, ate ekirala nga kya kiweebwayo ekyokebwa.+ 8 Anaabitwalanga eri kabona, era kabona anaasookanga kuwaayo ekyo eky’ekiweebwayo olw’ekibi; anaakiyuzanga obulago naye omutwe tagukutulirangako ddala. 9 Anaamansiranga ogumu ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi ku mabbali g’ekyoto, naye omusaayi ogunaabanga gusigaddewo anaagulekanga ne gutonnyolokokera ku ntobo y’ekyoto.+ Ekyo kiweebwayo olw’ekibi. 10 Ekinyonyi ekirala kabona anaakiwangayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa ng’agoberera enkola eya bulijjo;+ kabona anaatangiriranga ekibi ky’akoze ne kimusonyiyibwa.+
11 “‘Bw’abanga tasobola kuwaayo mayiba abiri oba enjiibwa bbiri ento, anaatwalanga ekimu eky’ekkumi ekya efa*+ y’obuwunga obutaliimu mpulunguse ng’ekiweebwayo olw’ekibi ky’anaabanga akoze. Tabuteekangamu mafuta era tabuteekangako bubaani obweru, kubanga kiweebwayo olw’ekibi. 12 Anaabutwalanga eri kabona, era kabona anaayoolangako olubatu okukiikirira ekiweebwayo kyonna, era anaabwokeranga ku kyoto kungulu ku biweebwayo bya Yakuwa ebyokebwa n’omuliro. Ekyo kiweebwayo olw’ekibi. 13 Kabona anaatangiriranga ekibi omuntu oyo ky’anaabanga akoze, ekimu ku bibi ebyo, era kinaamusonyiyibwanga;+ ekinaafikkangawo ku kiweebwayo kinaabanga kya kabona,+ nga bwe kiba ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke.’”+
14 Yakuwa era n’ayogera ne Musa, n’amugamba nti: 15 “Omuntu bw’ataabenga mwesigwa n’ayonoona mu butali bugenderevu olw’okukozesa obubi ebintu bya Yakuwa ebitukuvu,+ anaaleetanga eri Yakuwa endiga ennume ennamu obulungi ng’ekiweebwayo olw’omusango,+ ng’egya mu muwendo gwa sekeri* ogugerekebwa okusinziira ku sekeri ey’omu kifo ekitukuvu.*+ 16 Era anaaliwanga olw’ekibi ky’anaabanga akoze ku kifo ekitukuvu era anaagattangako kimu kya kutaano eky’ekyo ky’anaabanga aliye.+ Anaakiwanga kabona, kabona n’atangirira ekibi+ kye ng’awaayo endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango, era ekibi kye kinaamusonyiyibwanga.+
17 “Omuntu bw’ayonoonanga ng’akola ekimu ku bintu Yakuwa bye yalagira obutakolebwa, ne bw’aba ng’akikoze mu butali bugenderevu, anaabangako omusango era anaavunaanibwanga olw’ensobi ye.+ 18 Anaatwalanga eri kabona endiga ennume ennamu obulungi egya mu muwendo ogwagerekebwa, endiga eyo n’eba ekiweebwayo olw’omusango.+ Kabona anaamutangiriranga olw’ekibi ky’anaabanga akoze mu butali bugenderevu, era kinaamusonyiyibwanga. 19 Ekyo kiweebwayo olw’omusango. Mazima ddala omuntu oyo anaabanga aliko omusango olw’okwonoona mu maaso ga Yakuwa.”