Lukka
17 Awo n’agamba abayigirizwa be nti: “Ebyesittaza tebiyinza butajja. Naye zisanze omuntu oyo mwe biba biyitidde! 2 Kyandisinzeeko singa asibibwa olubengo mu bulago n’asuulibwa mu nnyanja, mu kifo ky’okwesittaza omu ku bato bano.+ 3 Mwegendereze. Muganda wo bw’akola ekibi, munenye+ era bwe yeenenya, musonyiwe.+ 4 Ne bw’akukola ebibi emirundi musanvu olunaku, n’akomawo gy’oli emirundi musanvu ng’agamba nti, ‘Nsonyiwa,’ oteekwa okumusonyiwa.”+
5 Awo abatume ne bagamba Mukama waffe nti: “Twongere okukkiriza.”+ 6 Mukama waffe n’abagamba nti: “Singa mubadde mulina okukkiriza okwenkana akaweke ka kalidaali, mwandibadde musobola okugamba omuti guno ogw’enkenene nti, ‘Siguukulukuka weesimbe mu nnyanja!’ ne gubagondera.+
7 “Ani ku mmwe aba n’omuddu alima oba alunda, amugamba ng’akomyewo mu nnimiro nti, ‘Jjangu wano otuule ku mmeeza olye’? 8 Mu kifo ky’ekyo, tamugamba nti ‘Nteekerateekera ekyeggulo, weesibe olugoye ompeereze okutuusa lwe nnaamaliriza okulya n’okunywa, oluvannyuma naawe olyoke olye era onywe’? 9 Anaasiima omuddu oyo olw’okuba akoze ebimulagiddwa? 10 Kale nammwe, bwe muba nga mukoze ebintu byonna ebiba bibalagiddwa, mugambe nti, ‘Tuli baddu abatalina mugaso. Kye tukoze kye tubadde tuteekeddwa okukola.’”+
11 Awo bwe yali agenda e Yerusaalemi n’ayita mu Samaliya ne mu Ggaliraaya.* 12 Bwe yali ayingira mu kyalo ekimu, abasajja abagenge kkumi ne bamulengera, naye ne bayimirira walako.+ 13 Ne boogerera waggulu ne bagamba nti: “Yesu, Omuyigiriza, tusaasire!” 14 Bwe yabalaba n’abagamba nti: “Mugende mweyanjule eri bakabona.”+ Bwe baali bagenda ne balongooka.+ 15 Omu ku bo bwe yalaba ng’awonye, n’akomawo ng’agulumiza Katonda mu ddoboozi ery’omwanguka. 16 N’avunnama mu maaso ga Yesu, n’amwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya.+ 17 Yesu n’agamba nti: “Bonna ekkumi tebalongooseddwa? Kati olwo omwenda bali wa? 18 Tewali n’omu akomyewo kugulumiza Katonda okuggyako omusajja ono ow’eggwanga eddala?” 19 Awo Yesu n’amugamba nti: “Situka ogende; okukkiriza kwo kukuwonyezza.”+
20 Abafalisaayo bwe baamubuuza ekiseera Obwakabaka bwa Katonda lwe bwandizze,+ n’abaddamu nti: “Obwakabaka bwa Katonda tebujja kujja mu ngeri erabika; 21 era abantu tebajja kugamba nti, ‘Laba, buli wano!’ oba nti ‘Laba, buli wali!’ Kubanga Obwakabaka bwa Katonda buli wakati mu mmwe.”+
22 Awo n’agamba abayigirizwa be nti: “Ekiseera kijja lwe mulyegomba okulaba olumu ku nnaku z’Omwana w’omuntu naye temulirulaba. 23 Era abantu balibagamba nti, ‘Laba wali!’ oba nti, ‘Laba wano!’ Temugendangayo era temubagobereranga.+ 24 Ng’ekimyanso bwe kimyansiza ku luuyi olumu olw’eggulu ne kirabikira ku luuyi olulala olw’eggulu, n’Omwana w’omuntu+ bw’atyo bw’aliba mu lunaku lwe.+ 25 Naye alina okusooka okubonyaabonyezebwa ennyo n’okwegaanibwa ab’omulembe guno.+ 26 Ate era, nga bwe kyali mu nnaku za Nuuwa,+ bwe kityo bwe kiriba ne mu nnaku z’Omwana w’omuntu:+ 27 baali balya, nga banywa, ng’abasajja bawasa, nga n’abakazi bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato,+ Amataba ne gajja ne gabazikiriza bonna.+ 28 Era kiriba nga bwe kyali mu nnaku za Lutti:+ abantu baali balya, nga banywa, nga batunda, nga bagula, nga basimba, era nga bazimba. 29 Naye ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu, omuliro n’amayinja agookya byatonnya okuva mu ggulu, ne bibazikiriza bonna.+ 30 Bwe kityo bwe kiriba ku lunaku Omwana w’omuntu lw’alirabisibwa.+
31 “Ku lunaku olwo, omuntu aliba waggulu ku nnyumba naye ng’ebintu bye biri mu nnyumba, takkanga okubiggyamu, era n’oyo aliba mu nnimiro taddiranga by’aliba alese emabega. 32 Mujjukire mukazi wa Lutti.+ 33 Buli ayagala okuwonya obulamu bwe, alibufiirwa, naye buli afiirwa obulamu bwe, alibuwonya.+ 34 Mbagamba nti, mu kiro ekyo, abantu babiri baliba mu kitanda kimu; omu alitwalibwa ate omulala alirekebwa.+ 35 Walibaawo abakazi babiri abasa ku lubengo lumu; omu alitwalibwa ate omulala alirekebwa.” 36 *— 37 Awo ne bamubuuza nti: “Wa, Mukama waffe?” N’abagamba nti: “Awaba ekifudde, empungu* we zikuŋŋaanira.”+