Isaaya
25 Ai Yakuwa, ggwe Katonda wange.
Nkugulumiza, ntendereza erinnya lyo,
Kubanga okoze ebintu ebyewuunyisa;+
Ebintu ebyateekebwateekebwa okuva mu biseera eby’edda,+
Mu bwesigwa,+ era mu mazima.
2 Kubanga ekibuga okifudde ntuumu ya mayinja,
Ekibuga ekiriko bbugwe okifudde bifunfugu ebimerenguka.
Omunaala gw’omugwira kibuga ekitakyaliwo;
Tekiriddamu kuzimbibwa.
3 Eyo ye nsonga lwaki eggwanga ery’amaanyi lirikugulumiza;
Ekibuga eky’amawanga amakambwe kirikutya.+
4 Kubanga ofuuse kigo eri omunaku,
Ekigo eri omwavu ali mu buyinike,+
Ekifo ekiddukirwamu mu kiseera eky’enkuba erimu kibuyaga,
Ekisiikirize mu kiseera eky’omusana.+
Obusungu bw’abakambwe bwe buba ng’enkuba erimu kibuyaga ekuba ekisenge,
5 Okomya okuleekaana kw’abagwira
Nga bw’omalawo ebbugumu mu nsi enkalu.
Ng’ebbugumu bwe liggwaawo olw’ekisiikirize ky’ekire,
Bwe lutyo oluyimba lw’abakambwe bwe lusirisibwa.
6 Ku lusozi luno+ Yakuwa ow’eggye aliteekerateekera amawanga gonna
Ekijjulo eky’ebya ssava,+
Ekijjulo okuli omwenge omulungi,*
Eky’ebya ssava ebijjudde obusomyo,
Eky’omwenge omulungi, ogusengejjeddwa.
7 Ku lusozi luno aliggyawo* looti* ebuutikidde amawanga gonna
N’ekibikka ekyezingiridde ku mawanga gonna.
8 Alimirira ddala* okufa emirembe gyonna,+
Era Yakuwa Mukama Afuga Byonna alisangula amaziga mu maaso gonna.+
Ekivume ky’abantu be alikiggya ku nsi yonna,
Kubanga Yakuwa kennyini y’akyogedde.
9 Mu kiseera ekyo baligamba nti:
“Laba! Ono ye Katonda waffe!+
Ono ye Yakuwa!
Essuubi lyaffe tulitadde mu ye.
Ka tusanyuke, tujaganye, kubanga atulokola.”+
10 Kubanga omukono gwa Yakuwa gulibeera ku lusozi luno,+
Era Mowaabu alirinnyirirwa mu kifo kye+
Ng’ebisubi bwe birinnyirirwa mu ntuumu y’ebigimusa.
11 Aligolola omukono gwe n’akuba Mowaabu
Ng’omuntu awuga bw’akuba amazzi n’emikono gye,
Era alikkakkanya amalala ge+
Ng’akozesa emikono gye mu ngeri ey’obukugu.
12 Ekibuga ekyetooloddwa bbugwe omuwanvu era ow’amaanyi
Alikisuula;
Alikimenya n’akisuula wansi mu nfuufu.