Okujaguza kw’Abo Abatambulira mu Kitangaala
“Mujje tutambulire mu kitangaala kya Yakuwa.”—ISAAYA 2:5, NW.
1, 2. (a) Ekitangaala kikulu kwenkana wa? (b) Lwaki okulabula nti ekizikiza kijja kubikka ensi yonna kukulu nnyo?
YAKUWA ye Nsibuko y’ekitangaala. Baibuli emuyita “[oyo Awa] enjuba okwakanga emisana n’okulagira okw’omwezi n’emmunyeenye okwakanga ekiro.” (Yeremiya 31:35; Zabbuli 8:3) Ye Yatonda enjuba yaffe evaamu amaanyi amangi ennyo, era agamu gagenda mu bbanga ng’ekitangaala n’ebbugumu. Amatono ennyo ddala ku maanyi ago gatutuukako ng’ekitangaala ky’enjuba era gawanirira obulamu ku nsi. Awatali kitangaala, tetwandibaddewo. Ensi teyandibaddeko bulamu.
2 Nga tulina ekyo mu birowoozo, tuyinza okutegeera obukulu bw’embeera eyannyonnyolebwa nnabbi Isaaya. Yagamba: “Laba, ekizikiza kiribikka ku nsi n’ekizikkiza ekikutte kiribikka ku mawanga.” (Isaaya 60:2) Kya lwatu, kino tekitegeeza kizikiza kyennyini ekirabika. Isaaya teyategeeza nti ekiseera ekimu enjuba, omwezi, n’emmunyeenye bijja kulekera awo okwaka. (Zabbuli 89:36, 37; 136:7-9) Wabula, yali ayogera ku kizikiza eky’eby’omwoyo. Naye ekizikiza eky’eby’omwoyo kireeta okufa. Tetuyinza kubeerawo awatali kitangaala eky’eby’omwoyo nga bwe tutayinza kubeerawo awatali kitangaala ekirabika.—Lukka 1:79.
3. Okusinziira ku bigambo bya Isaaya, kiki Abakristaayo kye basaanidde okukola?
3 Okusinziira ku kino, kiba kikulu nnyo okukitegeera nti ebigambo bya Isaaya, wadde byatuukirizibwa ku Yuda eky’edda, birina okutuukirizibwa mu ngeri esingawo leero. Yee, mu kiseera kyaffe ensi eri mu kizikiza eky’eby’omwoyo. Mu mbeera embi ng’eyo, ekitangaala eky’eby’omwoyo kya muwendo nnyo. Eyo ye nsonga lwaki kiba kirungi Abakristaayo okuwulira okubuulirira kwa Yesu: “Muleke ekitangaala kyammwe kyakenga mu maaso g’abantu.” (Matayo 5:16, NW) Abakristaayo abeesigwa bayinza okwakayakanira abawombeefu, bwe kityo ne babawa omukisa ogw’okufuna obulamu.—Yokaana 8:12.
Ebiseera eby’Ekizikiza mu Isiraeri
4. Ebigambo bya Isaaya eby’obunnabbi byasooka kutuukirizibwa ddi, naye mbeera ki eyali eriwo mu kiseera kye?
4 Ebigambo bya Isaaya ebikwata ku kizikiza okukwata ku nsi byasooka okutuukirizibwa Yuda bwe yali nga matongo era n’abantu baamu nga bali mu buwaŋŋanguse e Babulooni. Kyokka, wadde nga n’ekyo tekinnabaawo, mu kiseera kya Isaaya kennyini, ekitundu ekisingayo obunene eky’ensi kyali mu kizikiza eky’eby’omwoyo, ensonga eyamuleetera okukubiriza bannansi banne bw’ati: “Mmwe ennyumba ya Yakobo, mujje tutambulire mu kitangaala kya Yakuwa.”—Isaaya 2:5, NW; 5:20.
5, 6. Nsonga ki ezaaviirako ekizikiza mu biseera bya Isaaya?
5 Isaaya yalagulira mu Yuda “mu mirembe gya Uzziya, Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.” (Isaaya 1:1) Byali biseera bizibu nnyo omwali obutabanguko mu by’obufuzi, obunnanfuusi mu ddiini, obulyi bw’enguzi mu kusala emisango, n’okunyigiriza abaavu. Wadde ne mu bufuzi bwa bakabaka abeesigwa nga Yosamu, ebyoto bya bakatonda ab’obulimba byali biyinza okulabibwa waggulu ku nsozi. Wansi w’obufuzi bwa bakabaka abataali beesigwa, embeera yali mbi nnyo. Ng’ekyokulabirako, Kabaka omubi Akazi, yagenda wala nnyo n’atuuka n’okuwaayo abaana be nga ssaddaaka eri katonda ayitibwa Moleki. Mazima ddala ekyo kyali kizikiza kya maanyi nnyo!—2 Bassekabaka 15:32-34; 16:2-4.
6 Embeera eyaliwo mu mawanga amalala nayo yali mbi nnyo. Mowaabu, Edomu ne Bufirisuuti baali ku nsalo ya Yuda nga bateekateeka okugirumba. Obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebukiika kkono, wadde nga baali baganda baabwe, bwali bwa bulabe nnyo. Okweyongerayo mu bukiika kkono, waaliyo Busuuli eyali ey’akabi eri emirembe gya Yuda. N’eyasingira ddala okuba ey’omutawaana, ye Bwasuli, obwakabaka kirimaanyi obukambwe ennyo, obwali bweyongera okugaziwa. Ekiseera Isaaya kye yalaguliramu, Bwasuli yali emaze okuwamba Isiraeri era katono ezikirize ne Yuda. Mu kiseera ekimu, Bwasuuli yawamba buli kibuga mu Yuda okuggyako Yerusaalemi.—Isaaya 1:7, 8; 36:1.
7. Kkubo ki Isiraeri ne Yuda lye baalondawo, era Yakuwa yakolawo ki?
7 Abantu ba Katonda eb’endagaano baafuna emitawaana ng’egyo kubanga tebaali beesigwa gyali. Ng’abo aboogerwako mu kitabo ky’Engero, baali ‘baleka amakubo ag’obugolokofu, ne batambuliranga mu makubo ag’ekizikiza.’ (Engero 2:13) Kyokka, wadde nga Yakuwa yanyiigira abantu be, teyabaabulirira ddala. Okwawukana ku ekyo, yayimusaawo Isaaya ne bannabbi abalala okuwa ekitangaala eky’eby’omwoyo yenna mu ggwanga eyali ayagala okuweereza Yakuwa mu bwesigwa. Ekitangaala ekyo ekyaweebwa okuyitira mu bannabbi abo nga kyali kya muwendo nnyo! Kyali kiwa obulamu.
Ebiseera eby’Ekizikiza Leero
8, 9. Nsonga ki eziviiriddeko ekizikiza mu nsi yonna leero?
8 Embeera eyaliwo mu kiseera kya Isaaya yali efaananira ddala ne gye tulaba mu kiseera kino. Mu kiseera kyaffe, abakulembeze b’abantu bagaanye Yakuwa ne Kabaka we gwe yatuuza ku ntebe, Yesu Kristo. (Zabbuli 2:2, 3) Abakulembeze b’amadiini ga Kristendomu balimbyelimbye ebisibo byabwe. Abakulembeze ng’abo beegamba okuweereza Katonda, naye mazima ddala abasinga obungi ku bo bawagira Katonda ow’ensi eno—mwoyo gwa ggwanga, eby’ekijaasi, obugagga, n’abantu abatutumufu—nga tetwogedde ku kuyigiriza enjigiriza ez’ekikaafiiri.
9 Mu bifo ebitali bimu, amadiini ga Kristendomu genyigidde mu ntalo mbu ez’okulongoosa amawanga era ezikolerwamu n’ebikolobero ebirala. Okwongereza ku ekyo, mu kifo ky’okulwanirira empisa ezeesigamiziddwa ku Baibuli, amakanisa mangi gabuusa amaaso oba gawagira empisa ez’obugwenyufu ng’obukaba n’obuli bw’ebisiyaga. N’ekivudde mu kugaana emitindo gya Baibuli egibikwatako, ebisibo bya Kristendomu biringa abasajja abo abaayogerwako omuwandiisi wa Zabbuli ow’edda: “Tebamanya so tebategeera; batambulatambula mu kizikiza.” (Zabbuli 82:5) Mazima ddala, Kristendomu, nga Yuda eky’edda bwe kyali, kiri ddala mu kizikiza eky’amaanyi ennyo.—Okubikkulirwa 8:12.
10. Ekitangaala kyakayakanira kitya mu kizikiza leero, era abawombeefu baganyulwa batya?
10 Wakati mu kizikiza ng’ekyo, Yakuwa aleetera ekitangaala okwakira abawombeefu. Olw’ensonga eyo, akozesa abaweereza be abali ku nsi abaafukibwako amafuta, ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ era bano ‘baakayakana ng’ettabaaza mu nsi.’ (Matayo 24:45; Abafiripi 2:15) Ekibiina ekyo eky’omuddu, nga kiwagirwa obukadde n’obukadde bwa bannaabwe ‘ab’endiga endala,’ booleka ekitangaala eky’eby’omwoyo ekyesigamye ku Kigambo kya Katonda, Baibuli. (Yokaana 10:16) Mu nsi eno ekutte ekizikiza, ekitangaala ng’ekyo kiwa abawombeefu essuubi, kibayamba okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda, era kibayamba okwewala ebizibu mu by’omwoyo. Kya muwendo, kiwa obulamu.
“N[n]aatenderezanga Erinnya Lyo”
11. Bulagirizi bwa ngeri ki Yakuwa bwe yawa mu kiseera kya Isaaya?
11 Mu biseera eby’ekizikiza Isaaya bye yalimu era ne mu biseera eby’ekizikiza eky’amaanyi ebyaliwo oluvannyuma nga Babulooni emaze okutwala eggwanga lya Yakuwa mu buwambe, bulagirizi bwa ngeri ki Yakuwa bwe yawa? Ng’ojjeeko okubawa obulagirizi mu by’empisa, yalaga bulungi engeri gye yandibadde atuukirizaamu ebigendererwa bye ebikwata ku bantu be. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku by’obunnabbi eby’ekitalo ebiri mu Isaaya essuula 25 okutuuka ku 27. Ebigambo ebiri mu ssuula ezo biraga engeri Yakuwa gye yakwatamu ensonga mu biseera ebyo era n’engeri gy’azikwatamu leero.
12. Bigambo ki ebiviira ddala mu mutima Isaaya by’ayogera?
12 Okusooka, Isaaya agamba: “Ai Mukama, ggwe Katonda wange; [n]naakugulumizanga, [n]naatenderezanga erinnya lyo.” Ng’ebyo bigambo birungi nnyo eby’okutendereza okuviira ddala mu mutima! Naye kiki ekyaleetera nnabbi okusaba bw’atyo? Ensonga enkulu eragibwa mu kitundu eky’okubiri eky’olunyiriri, we tusoma tuti: “Kubanga [Yakuwa] okoze eby’ekitalo, bye wateesa edda, mu bwesigwa n’amazima.”—Isaaya 25:1.
13. (a) Kumanya ki okwanyweza okusiima kwa Isaaya eri Yakuwa? (b) Tuyinza tutya okuyigira ku kyokulabirako kya Isaaya?
13 Ekiseera kya Isaaya we kyatuukira, Yakuwa yali amaze okukolera Isiraeri ebintu bingi eby’ekitalo era bino byali biteekeddwa mu buwandiike. Kya lwatu, Isaaya yali amanyi ebyawandiikibwa ebyo. Ng’ekyokulabirako yamanya nti Yakuwa yajja abantu be mu buddu mu Misiri era n’abanunula okuva mu busungu bw’amagye ga Falaawo ku Nnyanja Emmyufu. Yamanya nti Yakuwa yakulembera abantu be okubayisa mu ddungu era n’abaleeta mu Nsi Ensuubize. (Zabbuli 136:1, 10-26) Ebyafaayo ebyo byalaga nti Yakuwa Katonda mwesigwa era wa mazima. ‘Okuteesa’ kwe—ebintu bye byonna by’aba ategese okukola—bituukirira. Okumanya okutuufu okwamuweebwa okuva eri Katonda kwanyweza Isaaya okweyongera okutambulira mu kitangaala. Mu ngeri eno, yali kyakulabirako kirungi gye tuli fenna. Bwe tusoma Ekigambo kya Katonda n’obwegendereza era ne tukigoberera mu bulamu bwaffe, naffe tujja kusigala mu kitangaala.—Zabbuli 119:105, NW; 2 Abakkolinso 4:6, NW.
Ekibuga Kizikirizibwa
14. Kiki ekiragulwa ekikwata ku kibuga, era kirabika kyali kibuga ki?
14 Ekyokulabirako eky’okuteesa kwa Katonda kisangibwa mu Isaaya 25:2, we tusoma: “Ekibuga okifudde ekifunvu; ekibuga ekyaliko enkomera okifudde ebyagwa: eriyumba ery’abagenyi olifudde obutaba kibuga; tekirizimbibwa ennaku zonna.” Kibuga ki kino? Mu ngeri ey’obunnabbi, Isaaya ayinza okuba yali ayogera ku Babulooni. Mazima ddala, ekiseera kyatuuka Babulooni ne kifuuka entuumu y’ebifunvu.
15. ‘Kibuga ki ekinene’ ekiriwo leero, era kiki ekijja okukituukako?
15 Ekibuga ekyo Isaaya kye yayogerako kirina ekikifaanana leero? Yee. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kyogera ku “kibuga ekinene, ekirina obwakabaka ku bakabaka b’ensi.” (Okubikkulirwa 17:18) Ekibuga ekyo ekinene ye “Babulooni Ekinene,” obwakabaka bw’amadiini ag’obulimba mu nsi yonna. (Okubikkulirwa 17:5) Leero, ekitundu ekikulu mu Babulooni Ekinene ye Kristendomu, era abakulembeze baakyo be bawomye omutwe mu kuziyiza omulimu gw’abantu ba Yakuwa ogw’okubuulira Obwakabaka. (Matayo 24:14) Kyokka, nga bwe kyali eri Babulooni eky’edda, mangu ddala Babulooni Ekinene kijja kuzikirizibwa ddala, obutaddamu kubeerawo nate.
16, 17. Abalabe ba Yakuwa bamutenderezza batya mu biseera ebiyise era ne mu biseera bino?
16 Kiki ekirala Isaaya ky’alagula ku “kibuga ekigulumivu”? Ng’ayogera eri Yakuwa, Isaaya agamba: “Abantu ab’amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa, ekibuga eky’amawanga ag’entiisa kirikutya.” (Isaaya 25:3) Ekibuga kino eky’obulabe, “eky’amawanga ag’entiisa,” kyandisizzaamu kitya Yakuwa ekitiibwa? Jjukira ekyatuuka ku kabaka wa Babulooni ow’amaanyi ennyo Nebukadduneeza. Oluvannyuma lw’ekyo ekyamutuukako ekyoleka obunafu bwe ye kennyini, yawalirizibwa okutegeera obukulu bwa Yakuwa n’amaanyi Ge agasingirayo ddala. (Danyeri 4:34, 35) Yakuwa bw’akozesa amaanyi ge, n’abalabe be bawalirizibwa okumanya ebikolwa bye eby’ekitalo.
17 Ddala Babulooni Ekinene kyawalirizibwa okumanya ebikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo? Yee. Mu kiseera kya ssematalo eyasooka, abaweereza ba Yakuwa abaafukibwako amafuta baabuulira wadde nga baali babonyaabonyezebwa. Mu 1918 baagenda mu buwambe mu by’omwoyo abakungu ba Watch Tower Society bwe baasibibwa. Omulimu gw’okubuulira ogutegekeddwa gwakoma. Naye mu 1919, Yakuwa yabazzaawo era n’abawa amaanyi n’omwoyo gwe, olwo nno ne batandika okutuukiriza omulimu ogwabaweebwa ogw’okubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna etuuliddwamu. (Makko 13:10, NW) Bino byonna byalagulwa mu kitabo ky’Okubikkulirwa, era n’ekyo ekyatuuka ku balabe baabwe. Abo “[ne] bakwatibwa entiisa, ne bawa ekitiibwa Katonda ow’omu ggulu.” (Okubikkulirwa 11:3, 7, 11-13) Tekiri nti bonna baafuuka bayigirizwa, naye baawalirizibwa okumanya omulimu gwa Yakuwa ogw’amaanyi mu kiseera ekyo, nga Isaaya bwe yali alagudde.
‘Ekigo eri Abaavu’
18, 19. (a) Lwaki abalabe balemereddwa okumenya obugolokofu bw’abantu ba Yakuwa? (b) ‘Oluyimba lw’abanyigiriza lulikkakkanyizibwa’ lutya?
18 Kati ate ng’azizza ebirowoozo bye ku ngeri ey’ekisa Yakuwa gy’akolaganamu n’abo abatambulira mu kitangaala, Isaaya agamba Yakuwa: “Wabanga kigo eri abaavu, ekigo eri atalina kintu ng’alabye ennaku, ekiddukiro eri kibuyaga, ekisiikirize eri olubugumu, okuwuuma kw’ab’entiisa [“abanyigiriza bannaabwe,” NW] bwe kuba nga kibuyaga akunta ku kisenge. Ng’olubugumu oluli mu kifo ekikalu bw’olikkakkanya bw’otyo oluyoogaano lw’abagenyi; ng’olubugumu bwe lukkakkanyizibwa n’ekisiikirize ky’ekire, oluyimba olw’ab’entiisa lulikkakkanyizibwa.”—Isaaya 25:4, 5.
19 Okuva mu 1919, abanyigiriza bagezezzaako buli kintu kyonna ekisoboka okumenya obugolokofu bw’abasinza ab’amazima, naye balemereddwa. Lwaki? Kubanga Yakuwa kye kigo era ekiddukiro ky’abantu be. Atusiikiriza eri ebbugumu eribabula ery’okuyigganyizibwa era n’ayimirirawo ng’ekisenge ekikugira embuyaga z’okuziyizibwa. Ffe abatambulira mu kitangaala kya Katonda twesunga nnyo ekiseera ekyo ‘oluyimba lw’abo abanyigiriza lwe lulikkakkanyizibwa.’ Yee, twesunga nnyo ekiseera ekyo abalabe ba Yakuwa bwe batalibeerawo.
20, 21. Mbaga ki Yakuwa gy’agabula, era embaga eyo eribeeramu ki mu nsi empya?
20 Yakuwa takoma ku kukuuma baweereza be kyokka. Abalabirira nga Kitaabwe ow’okwagala. Oluvannyuma lw’okununula abantu be okuva mu Babulooni Ekinene mu 1919, yabategekera embaga ey’obuwanguzi, emmere ey’eby’omwoyo mu bungi. Kino kyalagulwa mu Isaaya 25:6, we tusoma tuti: “Ku lusozi luno Mukama ow’eggye alifumbira amawanga gonna embaga ey’ebya ssava, embaga ey’omwenge omuka, ey’ebya ssava ebijjudde obusomyo, ey’omwenge omuka ogusengejjeddwa obulungi.” Nga tulina omukisa gwa maanyi nnyo okugabana ku mbaga eyo! (Matayo 4:4) Mazima ddala ‘emmeeza ya Yakuwa’ ezitoye n’ebintu ebirungi eby’okulya. (1 Abakkolinso 10:21) Okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi,’ tuweebwa buli kyonna kye twetaaga mu by’omwoyo.
21 Naye waliwo n’ebirala ebikwata ku mbaga eno Katonda gy’atugabudde. Embaga eno ey’eby’omwoyo gye tuliko kati, etujjukiza emmere ennyingi ey’omubiri eribeera mu nsi empya Katonda gye yasuubiza. Mu kiseera ekyo, “embaga ey’ebya ssava” ejja kubaamu emmere ey’omubiri mu bungi. Tewali n’omu alirumwa enjala mu by’omubiri oba mu by’omwoyo. Nga bulibeera buweerero bwa maanyi nnyo eri basinza bannaffe abaagalwa kati ababonaabona ‘olw’enjala’ eyalagulwa ng’ekitundu ‘ky’akabonero’ k’okubeerawo kwa Yesu! (Matayo 24:3, 7) Eri abalinga abo, ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli ddala bibudaabuda. Yagamba: “Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi.”—Zabbuli 72:16.
22, 23. (a) ‘Ggigi’ ki, oba “ekibikka,” ekiriggibwawo, era mu ngeri ki? (b) ‘Ekivume ky’abantu ba Yakuwa’ kiriggibwawo kitya?
22 Kati wuliriza ekisuubizo ekisingawo n’obulungi. Nga bugeraageranya ekibi n’okufa ku “eggigi,” oba “ekibikka,” obunnabbi bwa Isaaya bugamba: “[Yakuwa] alimirira ddala ku lusozi luno ekibikka kyonna ekyaliiriddwa ku bantu bonna, n’eggigi erisaanikidde ku mawanga gonna.” (Isaaya 25:7) Lowooza ku ekyo! Ekibi n’okufa, ebibadde bizitooweredde olulyo lw’omuntu nga bulangiti ereeta ekiziyiro, tebibeerewo nate. Nga twesunga nnyo olunaku emiganyulo gy’ekinunulo kya ssaddaaka ya Yesu lwe girikozesebwa mu bujjuvu ku bantu abawulize era abeesigwa!—Okubikkulirwa 21:3, 4.
23 Ng’asonga ku kiseera ekyo ekirungi ennyo, nnabbi eyaluŋŋamizibwa atukakasa: “[Katonda ali] mirira ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna; n’ekivume eky’abantu be alikiggya ku nsi yonna: kubanga Mukama akyogedde.” (Isaaya 25:8) Tewali muntu n’omu alifa wadde okukaaba olw’okufiirwa omwagalwa. Ng’eriba nkyukakyuka nnungi nnyo! N’ekirala, tewali wonna ku nsi awaliwulirwa ekivume ne pokopoko ow’obulimba, Katonda n’abaweereza be bye bagumiikirizza okumala ekiseera ekiwanvu. Lwaki? Kubanga Yakuwa aliggyawo ensibuko yaabyo—kitaawe w’obulimba, Setaani Omulyolyomi, awamu n’ezzadde lye lyonna.—Yokaana 8:44.
24. Abo abatambulira mu kitangaala baanukula batya ebikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo ebiriwo ku lwabwe?
24 Bwe bafumiitiriza ku kwolesebwa ng’okwo okw’amaanyi ga Yakuwa, abo abatambulira mu kitangaala kibaleetera okugamba: “Laba, ono ye Katonda waffe; twamulindiriranga, era alitulokola: ono ye Mukama, twamulindiriranga, tulisanyuka, tulijaguliza obulokozi bwe.” (Isaaya 25:9) Mangu ddala, abantu abatuukiridde bajja kuba n’ensonga okujaguza. Ekizikiza kijja kuviirawo ddala, era abantu abeesigwa bajja kubeera mu kitangaala kya Yakuwa emirembe n’emirembe. Waliwo essuubi eddala lyonna erisingako ku eryo? Mazima ddala, nedda!
Oyinza Okunnyonnyola?
• Lwaki kikulu nnyo leero okutambulira mu kitangaala?
• Lwaki Isaaya yatendereza erinnya lya Yakuwa?
• Lwaki abalabe tebajja kumenya bugolokofu bw’abantu ba Katonda?
• Mikisa ki emingi ennyo egirindiridde abo abatambulira mu kitangaala?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21,]
Abatuuze b’omu Yuda baasaddaaka abaana baabwe eri Moleki
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]
Okumanya ebikolwa bya Yakuwa eby’amaanyi ennyo kwaleetera Isaaya okutendereza erinnya lya Yakuwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Abatuukirivu bajja kubeera mu kitangaala kya Yakuwa emirembe n’emirembe