Abaruumi
1 Nze Pawulo, omuddu wa Kristo Yesu, eyayitibwa okubeera omutume, era eyalondebwa* okulangirira amawulire amalungi aga Katonda,+ 2 ge yasuubiza edda mu Byawandiikibwa ebitukuvu ng’ayitira mu bannabbi be. 3 Amawulire ago gakwata ku Mwana we eyazaalibwa nga muzzukulu wa Dawudi,*+ 4 naye okuyitira mu maanyi g’omwoyo omutukuvu yalangirirwa nti Mwana wa Katonda,+ bwe yazuukizibwa mu bafu.+ Oyo ye Yesu Kristo Mukama waffe. 5 Okuyitira mu ye twafuna ekisa eky’ensusso era ne tuyitibwa okuba abatume,+ amawanga gonna gasobole okuba amawulize olw’okumukkiririzaamu.+ Era ekyo kiweesa erinnya lye ekitiibwa. 6 Nammwe mwayitibwa okuva mu mawanga ago okubeera aba Yesu Kristo. 7 Mpandiikira mmwe mmwenna abali mu Rooma Katonda b’ayagala, abaayitibwa okubeera abatukuvu:
Ekisa eky’ensusso n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeere nammwe.
8 Okusookera ddala, nneebaza Katonda wange okuyitira mu Yesu Kristo ku lwammwe mmwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kwogerwako mu nsi yonna. 9 Katonda gwe mpeereza n’omutima gwange* gwonna nga mbuulira amawulire amalungi agakwata ku Mwana we, anjulira nti bulijjo mboogerako mu ssaala zange,+ 10 nga nsaba nsobole okujja gye muli bwe kuba nga kwe kwagala kwe. 11 Kubanga njagala nnyo okubalaba, nsobole okubawa ekirabo eky’eby’omwoyo munywezebwe; 12 oba, musobole okunzizaamu amaanyi okuyitira mu kukkiriza kwammwe nange nsobole okubazzaamu amaanyi okuyitira mu kukkiriza kwange.+
13 Ab’oluganda, njagala mukimanye nti emirundi mingi nnayagala okujja gye muli nsobole okufuna ebibala mu mmwe nga bwe mbifunye mu mawanga amalala, naye n’okutuusa kaakano nkyalemeseddwa. 14 Abayonaani n’abatali Bayonaani, abayigirize n’abatali bayigirize, bammanja. 15 N’olwekyo, nammwe abali eyo mu Rooma njagala nnyo okubabuulira amawulire amalungi.+ 16 Amawulire amalungi tegankwansa nsonyi,+ kubanga ge maanyi Katonda mw’ayitira okulokola buli muntu alina okukkiriza,+ ng’asookera ku Bayudaaya+ n’oluvannyuma Abayonaani.+ 17 Abo abalina okukkiriza bakiraba nti okuyitira mu mawulire amalungi Katonda ayoleka obutuukirivu bwe, era kino kyongera okunyweza okukkiriza kwabwe,+ nga bwe kyawandiikibwa nti: “Omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.”+
18 Katonda+ ng’ayima mu ggulu ayolekeza obusungu bwe eri abo abatamutya era abatali batuukirivu, abakola ebintu ebitali bya butuukirivu okulemesa abantu okumanya amazima,+ 19 kubanga ebintu ebiyinza okumanyibwa ku Katonda byeyolese gye bali olw’okuba Katonda yabibalaga.+ 20 Kubanga engeri ze ezitalabika, kwe kugamba, amaanyi ge agataggwaawo+ n’Obwakatonda bwe,+ zirabikira ddala bulungi okuva ensi lwe yatondebwa, kubanga zitegeererwa ku bintu ebyatondebwa,+ ne kiba nti tebalina kya kwekwasa. 21 Wadde nga baamanya Katonda, tebaamugulumiza wadde okumwebaza, naye baalowooza ebitagasa era emitima gyabwe emisirusiru ne gijjula ekizikiza.+ 22 Wadde nga baagamba nti baalina amagezi, baafuuka basirusiru 23 era mu kifo ky’okugulumiza Katonda atasobola kufa, baagulumiza ebifaananyi by’abantu abafa, n’eby’ebinyonyi, n’eby’ebisolo eby’amagulu ana, n’eby’ebyewalula.+
24 N’olwekyo, olw’okuba baali baagala okugoberera okwegomba kw’emitima gyabwe, Katonda yabaleka mu butali bulongoofu bwabwe, emibiri gyabwe gisobole okuweebuulwa. 25 Baasalawo okukkiriza obulimba mu kifo ky’amazima ga Katonda, ne basinza era ne baweereza ebitonde mu kifo ky’Omutonzi, oyo atenderezebwa emirembe n’emirembe. Amiina. 26 Katonda kyeyava abaleka okukola eby’obugwenyufu+ bye baali baagala ennyo, kubanga abakazi baabwe baakyusa ekyo emibiri gyabwe kye gyatonderwa ne bagikozesa ekyo kye gitaatonderwa.+ 27 N’abasajja nabo baalekayo ekikolwa eky’omu butonde eky’okwegatta n’abakazi, ne babugujja mu kwegomba okw’okwegatta okutasaana, abasajja n’abasajja,+ nga bakola eby’obugwenyufu era ne basasulwa mu bujjuvu ekyo ekigwanira okwonoona kwabwe.+
28 Okuva bwe bataayagala kutegeera Katonda, Katonda yabaleka okuba n’endowooza gy’atasiima, okukola ebintu ebitasaana.+ 29 Era baali bajjudde obutali butuukirivu,+ okwonoona, omululu,*+ ebintu ebibi, obuggya,+ ettemu,+ okuyomba, obulimba,+ ettima,+ era nga bageya,* 30 bawaayiriza,+ bakyawa Katonda, banyoomi, ba malala, beewaana, bagunja ebintu ebibi, tebagondera bazadde baabwe,+ 31 tebategeera,+ tebatuukiriza bye basuubiza, tebaagala ba luganda, era tebasaasira. 32 Wadde ng’abo bamanyi bulungi ekiragiro kya Katonda eky’obutuukirivu—nti abo abakola ebintu ng’ebyo bagwanidde kufa+—tebakoma ku kubikola, naye era basemba n’abo ababikola.