Makko
13 Awo bwe yali afuluma mu yeekaalu, omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti: “Omuyigiriza, laba! amayinja gano n’ebizimbe nga byewuunyisa!”+ 2 Kyokka Yesu n’amugamba nti: “Ebizimbe bino ebirungi ennyo obiraba? Tewali jjinja lirisigala ku linnaalyo; gonna galisuulibwa wansi.”+
3 Bwe yali atudde ku Lusozi olw’Emizeyituuni mu kifo we yali alengerera yeekaalu, Peetero, Yakobo, Yokaana, ne Andereya ne bamubuuza ekibuuzo nga bali bokka: 4 “Tubuulire, ebintu bino biribaawo ddi, era kabonero ki akaliraga nti ebintu ebyo byonna binaatera okubaawo?”+ 5 Awo Yesu n’abagamba nti: “Mwekuume waleme kubaawo ababuzaabuza.+ 6 Bangi balijjira mu linnya lyange, nga bagamba nti ‘Nze nzuuyo,’ era balibuzaabuza bangi. 7 Ate era bwe muwuliranga entalo mu bifo ebitali bimu, temutyanga; ebintu ebyo birina okubaawo, naye enkomerero eriba ekyali.+
8 “Eggwanga lirirumba eggwanga n’obwakabaka bulirumba obwakabaka;+ walibaawo musisi mu bifo ebitali bimu; era walibaawo enjala.+ Bino byonna ye ntandikwa y’obuyinike.*+
9 “Naye mmwe mubeere bulindaala. Abantu balibawaayo mu mbuga z’amateeka,+ balibakubira mu makuŋŋaaniro,+ era mulisimbibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange, bube obujulirwa gye bali.+ 10 Era amawulire amalungi galina okusooka okubuulirwa mu mawanga gonna.+ 11 Bwe baliba babatwala mu mbuga z’amateeka, temweraliikiriranga kye mulyogera; naye kyonna kye muliweebwa mu kiseera ekyo, kye mubanga mwogera, kubanga si mmwe muliba mukyogera wabula omwoyo omutukuvu.+ 12 Ate era, omuntu aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w’omwana aliwaayo omwana we, era n’abaana balyefuulira bazadde baabwe ne babawaayo okuttibwa.+ 13 Mulikyayibwa abantu bonna olw’erinnya lyange.+ Naye oyo agumiikiriza* okutuuka ku nkomerero+ y’alirokolebwa.+
14 “Kyokka, bwe mulabanga eky’omuzizo ekizikiriza+ nga kiri we kitalina kuba (omusomi akozese okutegeera), abo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi.+ 15 Oyo aliba waggulu ku nnyumba tavangayo, wadde okuyingira mu nnyumba ye okuggyamu ekintu kyonna; 16 n’oyo aliba mu nnimiro taddangayo okunona ekyambalo kye eky’okungulu. 17 Mu kiseera ekyo zirisanga abakazi abaliba embuto n’abo abaliba bayonsa!+ 18 Musabe ebyo bireme kubaawo mu biseera bya butiti, 19 kubanga mu nnaku ezo walibaawo ekibonyoobonyo+ ekitabangawo kasookedde ensi Katonda gye yatonda ebaawo, okutuusa mu kiseera ekyo, era tekiribaawo nate.+ 20 Mu butuufu, singa Yakuwa* teyakendeeza ku nnaku ezo, tewandibaddewo awonawo. Naye olw’abalonde, ennaku ezo yazikendeezaako.+
21 “Ate era, omuntu yenna bw’abagambanga nti, ‘Laba! Kristo ali wano,’ oba nti, ‘Laba! Ali wali,’ temukkirizanga.+ 22 Kubanga Bakristo ab’obulimba ne bannabbi ab’obulimba balijja,+ era balikola obubonero n’ebyewuunyisa, bwe kiba kisoboka bakyamye n’abalonde. 23 Naye mmwe mwekuume.+ Ebintu byonna mbibabuulidde nga bukyali.
24 “Mu nnaku ezo ng’ekibonyoobonyo kiwedde, enjuba erijjako ekizikiza, omwezi tegulyaka,+ 25 emmunyeenye ziriwanuka waggulu ne zigwa, era n’amaanyi g’omu ggulu galinyeenyezebwa. 26 Awo baliraba Omwana w’omuntu+ ng’ajjira mu bire n’amaanyi mangi n’ekitiibwa.+ 27 Alituma bamalayika era balikuŋŋaanya abalonde be okuva ku njuyi ennya,* okuva ku nkomerero y’ensi okutuuka ku nkomerero y’eggulu.+
28 “Mulabire ku mutiini muyige: Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera ne gassaako ebikoola, mumanya nti ekiseera eky’omusana kinaatera okutuuka.+ 29 Bwe kityo nammwe bwe mulabanga ebintu bino nga bibaawo, mumanyanga nti ali kumpi, ku luggi.+ 30 Mazima ddala mbagamba nti omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu bino byonna bimaze okubaawo.+ 31 Eggulu n’ensi biriggwaawo,+ naye ebigambo byange tebiriggwaawo.+
32 “Naye eby’olunaku olwo oba ekiseera,* tewali abimanyi, ka babe bamalayika mu ggulu, oba Omwana, wabula Kitange.+ 33 Mutunulenga, mubeerenga bulindaala,+ kubanga temumanyi kiseera ekigereke we kinaatuukira.+ 34 Kifaananako omusajja eyaleka ennyumba ye bwe yali agenda mu nsi ey’ewala. Yawa abaddu be obuyinza okugirabirira,+ buli omu n’amuwa omulimu ogw’okukola era n’alagira omukuumi w’oku mulyango okubeera obulindaala.+ 35 N’olwekyo, mubeere bulindaala, kubanga temumanyi kiseera nnyini nnyumba w’alijjira,+ oba kawungeezi, oba kiro mu ttumbi, oba awo enkoko we zikookolimira, oba ku makya ennyo;+ 36 singa agwa bugwi aleme kubasanga nga mwebase.+ 37 Naye kye mbabuulira mmwe, nkibuulira bonna: Mubeere bulindaala.”+