Yokaana
9 Bwe yali atambula, n’alaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe. 2 Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Labbi,+ omusajja ono okuzaalibwa nga muzibe ani yayonoona, ye kennyini oba bazadde be?” 3 Yesu n’addamu nti: “Omusajja ono teyayonoona, ne bazadde be tebaayonoona, wabula yazaalibwa bw’atyo Katonda by’akola bisobole okweyolekera mu ye.+ 4 Tuteekwa okukola emirimu gy’Oyo eyantuma ng’obudde bukyali misana;+ ekiro kijja omuntu yenna mw’atasobolera kukola. 5 Nga nkyali mu nsi, nze kitangaala ky’ensi.”+ 6 Bwe yamala okwogera ebyo, n’awanda amalusu ku ttaka, n’agatabula n’ettaka, n’alisiiga ku maaso g’omusajja+ 7 n’amugamba nti: “Genda onaabe mu kidiba ky’e Sirowamu” (ekivvuunulwa nti, “Agaatumibwa”). N’agenda n’anaaba, n’akomawo ng’alaba.+
8 Awo baliraanwa be n’abo abaamulabanga ng’asabiriza ne bagamba nti: “Ono si ye musajja eyatuulanga n’asabiriza?” 9 Abamu ne bagamba nti: “Ye ye.” Abalala ne bagamba nti: “Nedda, naye amufaanana.” Omusajja n’agamba nti: “Ye nze.” 10 Awo ne bamubuuza nti: “Kati olwo amaaso go gaazibuka gatya?” 11 N’abaddamu nti: “Omusajja ayitibwa Yesu yaddira ettaka n’alitabulamu amalusu, n’alisiiga ku maaso gange, n’aŋŋamba nti: ‘Genda ku Sirowamu onaabe.’+ Ne ŋŋenda ne nnaaba era ne ntandika okulaba.” 12 Ne bamubuuza nti: “Omusajja oyo ali ludda wa?” N’addamu nti: “Simanyi.”
13 Ne batwala omusajja oyo eyali azibuddwa amaaso eri Abafalisaayo. 14 Olunaku Yesu lwe yatabula amalusu n’ettaka n’amuzibula amaaso+ lwali lwa Ssabbiiti.+ 15 Abafalisaayo ne bamubuuza engeri gye yazibukamu amaaso. N’abagamba nti: “Yasiiga ku maaso gange ettaka lye yali atabuddemu amalusu, ne nnaaba, ne gazibuka.” 16 Awo abamu ku Bafalisaayo ne bagamba nti: “Omusajja ono tava eri Katonda kubanga takwata Ssabbiiti.”+ Abalala ne bagamba nti: “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola ebyamagero eby’engeri eyo?”+ Awo ne wabaawo obutakkaanya mu bo.+ 17 Ne baddamu ne bagamba omusajja eyali omuzibe nti: “Oyo eyakuzibula amaaso omwogerako ki?” Omusajja n’addamu nti: “Nnabbi.”
18 Naye Abayudaaya tebakkiriza nti yali muzibe w’amaaso oluvannyuma n’azibuka, okutuusa lwe baayita bazadde be. 19 Baababuuza nti: “Ono ye mwana wammwe gwe mugamba nti yazaalibwa muzibe? Olwo kizze kitya okuba nga kati alaba?” 20 Bazadde be ne baddamu nti: “Tumanyi nti ono mwana waffe era nti yazaalibwa muzibe. 21 Naye eky’okuba nti amaaso ge kati galaba, tetumanyi kwe kyavudde, era n’oyo eyagamuzibula tetumumanyi. Mumubuuze. Muntu mukulu, asobola okweyogerera.” 22 Bazadde be baayogera bwe batyo olw’okuba baali batya Abayudaaya,+ kubanga Abayudaaya baali bakkiriziganyizza nti, singa wabaawo omuntu yenna agamba nti Yesu ye Kristo, omuntu oyo aba alina okugobebwa mu kkuŋŋaaniro.+ 23 Eyo ye nsonga lwaki bazadde be baagamba nti: “Mumubuuze. Muntu mukulu.”
24 Awo ne baddamu okuyita omusajja eyali azibuddwa amaaso ne bamugamba nti: “Gulumiza Katonda; tumanyi nti omuntu oyo mwonoonyi.” 25 N’abaddamu nti: “Oba mwonoonyi, nze simanyi. Kye mmanyi kiri nti nnali muzibe naye kati ndaba.” 26 Awo ne bamugamba nti: “Kiki kye yakukola? Yazibula atya amaaso go?” 27 N’abaddamu nti: “Nnababuulidde dda naye ne mutawuliriza. Lwaki mwagala okukiwulira nate? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?” 28 Awo ne bamujerega era ne bamugamba nti: “Oli muyigirizwa wa musajja oyo, naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa. 29 Tumanyi nti Katonda yayogera ne Musa, naye omusajja oyo tetumanyi gy’ava.” 30 Omusajja n’abagamba nti: “Kyewuunyisa okuba nti temumanyi gy’ava ate nga yanzibula amaaso. 31 Tumanyi nti Katonda tawuliriza boonoonyi,+ naye singa omuntu yenna aba ng’atya Katonda era ng’akola by’ayagala, oyo gw’awuliriza.+ 32 Okuva edda tekiwulirwangako nti waliwo omuntu yenna eyali azibudde amaaso g’omuntu eyazaalibwa nga muzibe. 33 Singa omusajja oyo tava eri Katonda, teyandisobodde kukola kintu kyonna.”+ 34 Awo ne bamugamba nti: “Ggwe eyazaalibwa mu kibi oyigiriza ffe?” Ne bamugoba!+
35 Yesu n’awulira nti baali bamugobye, era bwe yamusanga n’amubuuza nti: “Okkiririza mu Mwana w’omuntu?” 36 Omusajja n’addamu nti: “Y’ani oyo ssebo mmukkiririzeemu?” 37 Yesu n’amugamba nti: “Omulabye, era mu butuufu y’oyo ayogera naawe.” 38 N’agamba nti: “Mukama wange, mmukkiririzaamu,” era n’amuvunnamira. 39 Yesu n’agamba nti: “Nnajja ku nsi abantu basalirwe omusango, abo abatalaba balabe,+ ate abo abalaba bazibe amaaso.”+ 40 Abafalisaayo abaali naye bwe baawulira ebintu ebyo, ne bamubuuza nti: “Naffe tuli bazibe?” 41 Yesu n’abaddamu nti: “Singa mubadde bazibe temwandibadde na kibi. Naye olw’okuba mugamba nti, ‘Tulaba,’ ekibi kyammwe kibasigalako.”+