Abaruumi
2 Kale ggwe asalira abalala omusango, k’obe ani,+ tolina kya kwekwasa; bw’osalira abalala omusango naawe oba ogwesalidde kubanga naawe okola ebintu bye bimu.+ 2 Tukimanyi nti abo abakola ebintu ng’ebyo Katonda abasalira omusango mu mazima.
3 Naye ggwe asalira abo abakola ebintu ng’ebyo omusango ate nga naawe obikola, olowooza oliwona omusango Katonda gw’alisala? 4 Oba, onyooma ekisa kye,+ n’obukwatampola,+ n’obugumiikiriza+ by’alina mu bungi? Tomanyi nti Katonda akulaga ekisa kye akusobozese okwenenya?+ 5 Naye olw’obukakanyavu bwo n’omutima gwo oguteenenya weeterekera obusungu. Katonda ajja kwoleka obusungu buno ku lunaku lw’alisala omusango mu butuukirivu.+ 6 Era alisasula buli omu ng’asinziira ku bikolwa bye:+ 7 ajja kuwa obulamu obutaggwaawo abo abanoonya ekitiibwa n’emibiri egitavunda+ era abagumiikiriza mu kukola ebirungi; 8 kyokka abayombi n’abo abagoberera obutali butuukirivu mu kifo ky’okugoberera amazima, Katonda ajja kubakambuwalira era ajja kubasunguwalira.+ 9 Era wajja kubaawo okubonaabona n’ennaku eri buli muntu akola ebintu ebibi, ng’Omuyudaaya y’asooka, Omuyonaani n’addako. 10 Naye buli muntu akola ebirungi ajja kufuna ekitiibwa n’emirembe, ng’Omuyudaaya y’asooka,+ Omuyonaani n’addako.+ 11 Kubanga Katonda tasosola.+
12 Abo bonna abaayonoona awatali mateeka bajja kuzikirira awatali mateeka;+ naye abo abaayonoona nga balina amateeka bajja kusalirwa omusango okusinziira ku mateeka.+ 13 Kubanga abo abawulira obuwulizi amateeka si be batuukirivu mu maaso ga Katonda, wabula abo abagakwata be baliyitibwa abatuukirivu.+ 14 Ab’amawanga abatalina mateeka+ bwe bakola ebintu ebiri mu mateeka, abantu abo, wadde nga tebalina mateeka, bo bennyini beebeerera mateeka. 15 Era balaga nti ebiri mu mateeka biwandiikiddwa mu mitima gyabwe, ng’omuntu waabwe ow’omunda awa nabo obujulirwa era nga mu birowoozo byabwe bavunaanibwa omusango oba nga bejjeerezebwa. 16 Bye njogeddeko biribaawo ku lunaku, Katonda ng’ayitira mu Kristo Yesu lw’aliramula ebintu abantu bye bakolera mu kyama,+ okusinziira ku mawulire amalungi ge nnangirira.
17 Bw’oba ng’oyitibwa Muyudaaya+ era nga weesigama ku mateeka, nga weenyumiririza mu Katonda, 18 ng’omanyi by’ayagala, era ng’otegeera ebintu eby’omuwendo ennyo olw’okuba oyigirizibwa Amateeka,+ 19 era ng’oli mukakafu nti okulemberamu abazibe b’amaaso, oli kitangaala eri abo abali mu kizikiza, 20 oluŋŋamya abatalina magezi, oyigiriza abaana abato, era nti otegeera ebintu ebikulu ebikwata ku kumanya n’amazima ebiri mu Mateeka— 21 kale ggwe ayigiriza omulala, teweeyigiriza?+ Ggwe ayigiriza nti, “Tobbanga,”+ obba? 22 Ggwe agamba nti, “Toyendanga,”+ oyenda? Ggwe akyawa ebifaananyi, obba eby’omu masinzizo? 23 Ggwe eyeenyumiririza mu Mateeka, ogamenya n’otaweesa Katonda kitiibwa? 24 Kubanga “muleetera erinnya lya Katonda okuvvoolebwa mu b’amawanga,” nga bwe kyawandiikibwa.+
25 Mu butuufu, okukomolebwa+ kugasa ng’okwata amateeka;+ naye bw’oba nga tokwata mateeka, okukomolebwa kwo kuba tekugasa. 26 Omuntu atali mukomole+ bw’aba ng’atuukiriza ebyo Amateeka bye geetaagisa, tabalibwa ng’omukomole?+ 27 Era omuntu atali mukomole bw’akwata Amateeka, akusalira omusango ggwe omukomole alina Amateeka agali mu buwandiike kyokka nga togatuukiriza. 28 Kubanga Omuyudaaya ddala si ye w’okungulu,+ era n’okukomolebwa kwennyini si kwekwo okw’okungulu, okw’oku mubiri.+ 29 Naye Omuyudaaya ddala ye w’omunda,+ n’okukomolebwa kwe kwa mu mutima+ okuyitira mu mwoyo so si mu Mateeka agali mu buwandiike.+ Oyo Katonda y’amutendereza so si bantu.+