Isaaya
44 “Kaakano wuliriza ggwe Yakobo omuweereza wange,
Ggwe Isirayiri gwe nnalonda.+
2 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
Oyo eyakutonda era eyakubumba,+
Azze akuyamba okuviira ddala lwe wava mu lubuto:*
3 Kubanga ndifuka amazzi ku oyo alumwa ennyonta*+
N’obugga obukulukuta mu nsi enkalu.
Ndifuka omwoyo gwange ku zzadde lyo+
N’emikisa gyange ku bazzukulu bo.
4 Balimera ng’omuddo,+
Balimera ng’emiti emyalava ku mbalama z’obugga.
5 Omu aligamba nti: “Ndi wa Yakuwa.”+
Omulala alyeyita erinnya lya Yakobo,
Ate omulala aliwandiika ku mukono gwe nti: “Ndi wa Yakuwa.”
Era alyetuuma erinnya lya Isirayiri.’
‘Nze ow’olubereberye era nze ow’enkomerero.+
Teri Katonda mulala wabula nze.+
7 Ani alinga nze?+
K’ayanukule mu ddoboozi ery’omwanguka, akyogere era akinkakase!+
Okuva lwe nnassaawo abantu ab’edda,
Ka boogere ebintu ebigenda okubaawo,
Era n’ebitannabaawo.
Buli omu ku mmwe saamubuulira nga bukyali era ne mmutegeeza?
Muli bajulirwa bange.+
Eriyo Katonda omulala okuggyako nze?
Nedda, teri Lwazi lulala;+ teriiyo lulala lwe mmanyi.’”
9 Abo bonna abakola ebifaananyi ebyole tebaliiko kye bagasa,
N’ebintu byabwe bye baagala ennyo tebiriba na mugaso.+
Ebifaananyi byabwe be bajulirwa baabwe; tebiraba era tebirina kye bimanyi,+
N’olwekyo abo abaabikola baliswala.+
11 Laba! Mikwano gye bonna baliswazibwa!+
Abaweesi bantu buntu.
Ka bonna bakuŋŋaane era bayimirire.
Balitya era bonna baliswazibwa.
12 Omuweesi aweesa ekintu eky’ekyuma ku manda agaaka ng’akozesa ekintu ekikozesebwa okuweesa.
Akikubaakuba n’ennyondo,
Ng’akozesa omukono gwe ogw’amaanyi.+
Oluvannyuma alumwa enjala era n’aggwaamu amaanyi;
Tanywa mazzi era akoowa.
13 Omubazzi aleega ku muti omuguwa gwe ogupima, n’alamba ku muti ogwo ng’akozesa ennoni emmyufu.
Aguwala ng’akozesa ensinjo, n’agupima ng’akozesa ekyuma ekipima.
14 Waliwo omuntu atema emiti gy’entolokyo.
Yeeroboza ekika ky’omuti, omuyovu,
Aguleka ne gukula mu kibira.+
Asimba omuti gw’omworeni, era enkuba n’egukuza.
15 Oluvannyuma guvaamu enku omuntu z’akozesa okwakisa omuliro.
Ekitundu kyagwo ekimu akikozesa okwota;
Akuma omuliro n’afumba emmere.
Kyokka era akolamu katonda n’amusinza.
Agubajjamu ekifaananyi ekyole, n’akivunnamira.+
16 Ekitundu kyagwo ekimu akyokya mu muliro;
Akozesa ekitundu ekyo okwokya ennyama gy’alya n’akkuta.
Ate era ayota omuliro n’agamba nti:
“Awo nno, ka mbugume nga bwe ntunuulira omuliro.”
17 Ekitundu kyagwo ekifisseewo akikolamu katonda, akikolamu ekifaananyi kye ekyole.
Akivunnamira n’akisinza.
Akisaba n’akigamba nti:
“Ndokola, kubanga ggwe katonda wange.”+
18 Tebalina kye bamanyi, tebalina kye bategeera,+
Kubanga amaaso gaabwe gazibiddwa era tebasobola kulaba,
N’omutima gwabwe tegutegeera.
19 Tewali n’omu ku bo afumiitiriza mu mutima gwe
Oba alina amagezi oba okutegeera ne yeebuuza nti:
“Ekitundu kyagwo nnakyokezza mu muliro,
Era ku manda gaakyo nnafumbyeko emmere ne njokyako n’ennyama ne ndya.
Kati ate ekitundu kyagwo ekifisseewo nkikolemu ekintu eky’omuzizo?+
Ddala nsaanidde okusinza ekitundutundu ky’omuti?”
20 Alya vvu.
Omutima gwe ogwalimbibwa gumuwabizza.
Tasobola kuwonya bulamu bwe, era teyeebuuza nti:
“Ekintu ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si kya bulimba?”
21 “Jjukira ebintu bino ggwe Yakobo, ggwe Isirayiri,
Kubanga oli muweereza wange.
Nnakubumba, era oli muweereza wange.+
Sirikwerabira ggwe Isirayiri.+
22 Ndisangula ebyonoono byo ne biba ng’ebibikkiddwa ekire+
N’ebibi byo, ne biba ng’ebibikkiddwa ekire ekikutte.
Komawo gye ndi, kubanga nja kukununula.+
23 Yogerera waggulu n’essanyu, ggwe eggulu,
Kubanga Yakuwa y’akoze kino!
Mukube emizira mmwe ebitundu by’ensi ebya wansi!
Mwogerere waggulu olw’essanyu mmwe ensozi,+
Ggwe ekibira, n’emiti gyo gyonna!
Kubanga Yakuwa anunudde Yakobo,
Era ayolesezza ekitiibwa kye ku Isirayiri.”+
24 Bw’ati Yakuwa Omununuzi wo bw’agamba,
Eyakutonda mu lubuto:+
“Nze Yakuwa, eyakola buli kintu.
Ani eyali nange?
25 Nze nnemesa obubonero bw’abo aboogera ebitaliimu,*
Nze ndeetera abalaguzi okubeera ng’abasirusiru;+
Nze ndeetera abasajja abagezigezi okusoberwa
Era nze nfuula amagezi gaabwe obusirusiru;+
26 Nze ndeetera ekigambo ky’omuweereza wange okutuukirira
Era nze ntuukiriza ebyo ababaka bange bye balagula;+
Nze njogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kiribeeramu abantu,’+
Ne ku bibuga bya Yuda nti, ‘Biriddamu okuzimbibwa,+
Era ndizzaawo ebyamu ebyayonoonebwa’;+
27 Nze ŋŋamba amazzi ag’omu buziba nti, ‘Kalira,
Era ndikaliza emigga gyo gyonna’;+
28 Nze njogera ku Kuulo nti,+ ‘Musumba wange,
Era alituukiriza byonna bye njagala’;+
Nze njogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kiriddamu okuzimbibwa,’
Ne ku yeekaalu nti, ‘Omusingi gwo gulizimbibwa.’”+