Engero
2 Yakuwa asiima omuntu omulungi,
Naye avumirira omuntu ow’enkwe.+
3 Tewali muntu asobola kuba na bulamu bulungi ng’akola ebibi,+
Naye abatuukirivu tebalisiguukululwa.
4 Omukyala omulungi ngule eri bba,+
Naye omukyala akola ebiswaza alinga endwadde evunza amagumba ga bba.+
5 Ebirowoozo by’abatuukirivu biba bya bwenkanya,
Naye obulagirizi bw’ababi buba bwa bulimba.
7 Ababi bwe bazikirizibwa, basaanawo,
Naye ennyumba y’omutuukirivu esigalawo.+
10 Omutuukirivu alabirira ebisolo bye,+
Naye n’okwandibadde ng’okusaasira kw’ababi kuba kwa bukambwe.
11 Omuntu alima ettaka lye ajja kuba n’emmere emumala,+
Naye aluubirira ebintu ebitaliimu nsa taba na magezi.
12 Omuntu omubi akwatirwa abantu abalala ababi ensaalwa olw’ebyo bye baba bakwasizza,
Naye omutuukirivu alinga omuti ogulina emirandira eminywevu ogubala ebibala.
13 Ebigambo ebibi ebyogerwa omuntu omubi bimusuula mu mutego,+
Naye omutuukirivu awona emitawaana.
14 Omuntu by’ayogera bye bimuviiramu ebirungi,+
Era by’akola bye bimuviiramu empeera.
17 Omujulizi omwesigwa ayogera mazima,*
Naye omujulizi ow’obulimba ayogera bya bulimba.
18 Ayogera nga tasoose kulowooza, ebigambo bye bifumita ng’ekitala,
Naye ebigambo by’ab’amagezi biwonya.+
19 Ebigambo eby’amazima bijja kubaawo emirembe gyonna,+
Naye ebigambo eby’obulimba bijja kubaawo okumala akaseera katono.+
20 Obulimba buba mu mitima gy’abo abateesa okukola ebibi,
22 Yakuwa akyawa emimwa egyogera eby’obulimba,+
Naye abeesigwa bamusanyusa.
24 Omukono gw’abanyiikivu gujja kufuga,+
Naye emikono gy’abagayaavu gijja kukozesebwa emirimu egy’obuddu.+
25 Okweraliikirira okuba mu mutima gw’omuntu kugwennyamiza,+
Naye ebigambo ebirungi biguleetera okusanyuka.+
26 Omutuukirivu alambula amalundiro ge,
Naye ababi ekkubo lyabwe libawabya.
27 Omugayaavu tayigga,+
Naye obunyiikivu kya bugagga eri omuntu.
28 Ekkubo ery’obutuukirivu lituusa mu bulamu,+
Era mu lyo temuli kufa.