1 Ebyomumirembe Ekisooka
29 Awo Kabaka Dawudi n’agamba ekibiina kyonna nti: “Sulemaani mutabani wange Katonda gw’alonze+ muto era talina bumanyirivu,+ ate ng’omulimu munene; kubanga yeekaalu* si ya muntu wabula ya Yakuwa Katonda.+ 2 Era nfubye nga bwe nsobola okutegekera ennyumba ya Katonda wange, nga mpaayo zzaabu ow’okukolamu ebintu ebya zzaabu, ffeeza ow’okukolamu ebintu ebya ffeeza, ekikomo eky’okukolamu ebintu eby’ekikomo, ekyuma eky’okukolamu ebintu eby’ekyuma,+ embaawo+ ez’okukolamu ebintu eby’embaawo, amayinja ga sokamu, amayinja ag’okusibisibwa obudongo,* amayinja ag’okutonaatona, amayinja ag’omuwendo aga buli ngeri, n’amayinja ga sayisi mangi nnyo. 3 Era olw’okuba njagala nnyo ennyumba ya Katonda wange,+ nnina eby’obugagga ebyange ku bwange+ ebya zzaabu ne ffeeza bye mpaayo eri ennyumba ya Katonda wange, okugatta ku ebyo byonna bye ntegekedde ennyumba entukuvu; 4 mpaayo ttalanta* 3,000 eza zzaabu ow’e Ofiri,+ ne ttalanta 7,000 eza ffeeza alongooseddwa, eby’okubikka ku bisenge by’ennyumba; 5 zzaabu ow’okukolamu ebintu ebya zzaabu, ne ffeeza ow’okukolamu ebintu ebya ffeeza, n’ow’emirimu gyonna eginaakolebwa abakugu mu mirimu gy’eby’emikono. Ani ayagala okubaako ky’awa Yakuwa leero?”+
6 Awo abakulu b’ennyumba za bakitaabwe n’abakulu b’ebika bya Isirayiri n’abakulira enkumi n’abakulira ebikumi+ n’abaalabiriranga emirimu gya kabaka+ ne bavaayo kyeyagalire. 7 Baawaayo eby’omulimu gw’ennyumba ya Katonda ow’amazima: ttalanta za zzaabu 5,000 ne daliki* 10,000 ne ttalanta za ffeeza 10,000 ne ttalanta z’ekikomo 18,000 ne ttalanta z’ekyuma 100,000. 8 Buli eyalina amayinja ag’omuwendo yagawaayo mu ggwanika ly’ennyumba ya Yakuwa eryali likulirwa Yekyeri+ Omugerusoni.+ 9 Awo abantu ne basanyuka olw’okuwaayo kyeyagalire ebiweebwayo bino, kubanga baawaayo eri Yakuwa ebiweebwayo ebya kyeyagalire n’omutima gwabwe gwonna;+ era ne Kabaka Dawudi naye yasanyuka nnyo.
10 Awo Dawudi n’atendereza Yakuwa mu maaso g’ekibiina kyonna, n’agamba nti: “Ai Yakuwa Katonda wa kitaffe Isirayiri, otenderezebwe emirembe n’emirembe.* 11 Ai Yakuwa, oli mukulu,+ oli wa maanyi,+ oli mulungi, osukkulumye, era oli wa kitiibwa;+ kubanga ebintu byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi bibyo.+ Obwakabaka bubwo, Ai Yakuwa.+ Ggwe agulumiziddwa era akulira bonna. 12 Obugagga n’ekitiibwa biva gy’oli,+ era ggwe ofuga byonna;+ mu mukono gwo mwe muli obuyinza+ n’amaanyi,+ era omukono gwo gusobola okuwa abantu obukulu+ era n’okuwa bonna amaanyi.+ 13 Kaakano, Ai Katonda waffe, tukwebaza era tutendereza erinnya lyo eddungi.
14 “Naye nze n’abantu bange ffe baani okuwaayo ebiweebwayo ebya kyeyagalire nga bino? Kubanga ebintu byonna biva gy’oli, era tukuwadde ebiva mu mukono gwo. 15 Kubanga tuli bagwira era basenze mu maaso go nga bajjajjaffe bonna bwe baali.+ Ennaku zaffe ku nsi ziringa kisiikirize+—tetubeerawo lubeerera. 16 Ai Yakuwa Katonda waffe, ebintu bino byonna ebingi bye tutegese okukuzimbira ennyumba ey’erinnya lyo ettukuvu bivudde mu mukono gwo era byonna bibyo. 17 Era nkimanyi bulungi, Ai Katonda wange, nti okebera omutima+ era nti osanyukira obugolokofu.+ Mu bwesimbu bw’omutima gwange mpaddeyo ebintu bino byonna kyeyagalire, era nsanyuse nnyo okulaba abantu bo abali wano nga bawaayo ebiweebwayo gy’oli kyeyagalire. 18 Ai Yakuwa Katonda wa Ibulayimu, Isaaka, ne Isirayiri, bajjajjaffe, yamba abantu bano okusigala nga balina omwoyo ng’ogwo era bayambe bakuweerezenga n’omutima gwabwe gwonna.+ 19 Ne Sulemaani mutabani wange muwe omutima ogutuukiridde*+ asobole okukwatanga ebiragiro byo,+ ne by’otujjukiza, n’amateeka go, era akole ebintu ebyo byonna era azimbe yeekaalu* gye ntegekedde ebintu.”+
20 Awo Dawudi n’agamba ekibiina kyonna nti: “Mutendereze Yakuwa Katonda wammwe.” Ekibiina kyonna ne kitendereza Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe era ne bavunnamira Yakuwa ne kabaka. 21 Ne bawaayo ssaddaaka eri Yakuwa era ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa+ eri Yakuwa ku lunaku olwaddirira, ente ento ennume 1,000 n’endiga ennume 1,000 n’endiga ento ennume 1,000 n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa ebigenderako.+ Baawaayo ssaddaaka mu bungi ku lwa Isirayiri yonna.+ 22 Ne baliira era ne banywera mu maaso ga Yakuwa ku lunaku olwo nga basanyufu nnyo;+ ne balangirira Sulemaani mutabani wa Dawudi nga kabaka omulundi ogw’okubiri, era ne bamufukako amafuta mu maaso ga Yakuwa okuba omukulembeze+ era ne Zadooki ne bamufukako amafuta okuba kabona.+ 23 Sulemaani n’atuula ku ntebe ya Yakuwa ey’obwakabaka+ ng’adda mu kifo kya Dawudi kitaawe, obufuzi bwe ne buba bulungi era Abayisirayiri bonna ne bamugondera. 24 Abaami bonna+ n’abalwanyi ab’amaanyi+ n’abaana ba Kabaka Dawudi bonna+ ne bagondera Kabaka Sulemaani. 25 Era Yakuwa n’afuula Sulemaani ow’ekitiibwa ennyo mu maaso ga Isirayiri yonna era n’amuwa ekitiibwa eky’obwakabaka ekyali kitabanga ku kabaka yenna mu Isirayiri.+
26 Dawudi mutabani wa Yese yafuga Isirayiri yonna; 27 era yafuga Isirayiri okumala emyaka 40. Yafugira mu Kebbulooni emyaka 7,+ ate n’afugira e Yerusaalemi emyaka 33.+ 28 Oluvannyuma n’afa ng’akaddiyidde ddala bulungi,+ ng’amatidde ennaku z’obulamu bwe n’obugagga n’ekitiibwa; Sulemaani mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.+ 29 Ebyafaayo bya Kabaka Dawudi, okuva ku byasooka okutuukira ddala ku byasembayo, byawandiikibwa mu biwandiiko bya Samwiri omulabi n’ebya nnabbi Nasani+ n’ebya Gaadi+ eyategeezanga okwolesebwa okwavanga eri Katonda. 30 Ebiwandiiko ebyo byogera ne ku bufuzi bwe bwonna, n’amaanyi ge, n’ebyaliwo mu kiseera kye ne mu Isirayiri ne mu bwakabaka bwonna obwali bubeetoolodde.