2 Samwiri
12 Awo Yakuwa n’atuma Nasani+ eri Dawudi, Nasani n’agenda gy’ali+ n’amugamba nti: “Waaliwo abasajja babiri mu kibuga ekimu, omu nga mugagga ate omulala nga mwavu. 2 Omusajja omugagga yalina endiga n’ente nnyingi nnyo;+ 3 naye omusajja omwavu teyalina kantu okuggyako akaana k’endiga kamu akaluusi ke yagula n’akalabirira,+ ne kakulira mu maka ge awamu n’abaana be. Kaalyanga ku kamere ke, kaanyweranga ku kikopo kye, era keebakanga mu kifuba kye. Kaali kafuuse ng’omwana we ow’obuwala. 4 Oluvannyuma waliwo omugenyi eyakyalira omusajja omugagga, naye omugagga n’atatoola ku ndiga ze na ku nte ze okufumbira omuntu oyo eyali amukyalidde. Mu kifo ky’ekyo yatwala akaliga k’omwavu akaluusi n’akafumbira oyo eyali amukyalidde.”+
5 Awo Dawudi n’asunguwalira nnyo omugagga oyo, n’agamba Nasani nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu,+ omusajja eyakola ekyo agwanidde okufa! 6 Ate era alina okuliwa obuliga buna,+ olw’okuba yakola ekintu ekyo n’atalaga busaasizi.”
7 Awo Nasani n’agamba Dawudi nti: “Ggwe musajja oyo! Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba: ‘Nze kennyini nnakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri,+ era ne nkununula mu mukono gwa Sawulo.+ 8 Nnakuwa ennyumba ya mukama wo+ ne bakazi be,+ era nnakuwa ennyumba ya Isirayiri n’eya Yuda.+ Ate era nnali mwetegefu okukwongera ebirala bingi singa ebyo byali tebikumala.+ 9 Kale lwaki wanyooma ekigambo kya Yakuwa n’okola ekintu ekibi mu maaso ge? Watta Uliya Omukiiti n’ekitala,+ era n’otwala mukazi we abeere mukazi wo,+ ng’omaze okumutta n’ekitala ky’Abaamoni.+ 10 Kale nno ekitala tekiriva mu nnyumba yo,+ olw’okuba wannyooma n’otwala mukazi wa Uliya Omukiiti abe mukazi wo.’ 11 Bw’ati Yakuwa bw’agamba: ‘Nja kukuleetera emitawaana nga gisibuka mu nnyumba yo mmwennyini;+ nja kutwala bakazi bo ng’olaba mbawe omusajja omulala,*+ era ajja kwebaka nabo emisana ttuku.*+ 12 Wadde ggwe wakikola mu kyama,+ nze ekyo nja kukikola nga Isirayiri yonna eraba, era emisana ttuku.’”*
13 Awo Dawudi n’agamba Nasani nti: “Nnyonoonye mu maaso ga Yakuwa.”+ Nasani n’agamba Dawudi nti: “Yakuwa naye akusonyiye.*+ Tojja kufa.+ 14 Naye olw’okuba onyoomye Yakuwa n’okola ekyo, omwana akuzaaliddwa ajja kufa.”
15 Awo Nasani n’addayo ewuwe.
Yakuwa n’aleetera omwana muka Uliya gwe yali azaalidde Dawudi obulwadde, omwana oyo n’alwala nnyo. 16 Dawudi ne yeegayirira Katonda ow’amazima olw’omwana oyo. Dawudi n’atandika okusiiba, era n’agendanga mu kisenge kye n’asulanga wansi.+ 17 Abakadde b’omu nnyumba ye baagendanga w’ali ne bagezaako okumuyimusa ave wansi, naye yagaana era teyakkirizanga kulya nabo mmere. 18 Ku lunaku olw’omusanvu omwana yafa, naye abaweereza ba Dawudi ne batya okumubuulira nti omwana afudde. Baagamba nti: “Omwana bw’abadde ng’akyali mulamu tubadde twogera naye n’agaana okutuwuliriza. Kati tuyinza tutya okumugamba nti omwana afudde? Ayinza okukola ekintu ekibi ennyo.”
19 Dawudi bwe yalaba abaweereza be nga boogera obwama, n’ategeera nti omwana afudde. Dawudi n’abuuza abaweereza be nti: “Omwana afudde?” Ne bamuddamu nti: “Afudde.” 20 Awo Dawudi n’ayimuka n’ava wansi n’anaaba, ne yeesiiga amafuta,+ n’akyusa ebyambalo bye, n’agenda mu nnyumba+ ya Yakuwa n’avunnama. Oluvannyuma yaddayo mu nnyumba ye* n’asaba emmere, ne bagimuleetera n’alya. 21 Abaweereza be ne bamubuuza nti: “Lwaki okoze bw’otyo? Omwana bw’abadde ng’akyali mulamu obadde osiiba era ng’okaaba; naye omwana olufudde n’oyimuka n’olya emmere.” 22 Dawudi n’abaddamu nti: “Omwana bw’abadde ng’akyali mulamu mbadde nsiiba+ era nga nkaaba kubanga mbadde ndowooza nti, ‘Ani amanyi obanga Yakuwa anankwatirwa ekisa n’aleka omwana n’atafa?’+ 23 Naye kaakano nga bw’afudde, kiki ekinsiibya? Nsobola okumuzza?+ Nze nja kugenda gy’ali,+ naye ye tajja kudda gye ndi.”+
24 Dawudi n’abudaabuda Basu-seba+ mukazi we, n’agenda ne yeebaka naye. Oluvannyuma lw’ekiseera yamuzaalira omwana ow’obulenzi, n’atuumibwa erinnya Sulemaani.*+ Yakuwa yayagala nnyo omwana oyo,+ 25 era yatuma nnabbi Nasani+ okutuuma omwana oyo erinnya Yedidiya,* olw’okuba Yakuwa yali amwagala nnyo.*
26 Yowaabu yeeyongera okulwanyisa Labba+ eky’Abaamoni,+ era n’awamba ekibuga kya kabaka.*+ 27 Yowaabu n’atuma ababaka eri Dawudi bamugambe nti: “Nnwanyisizza Labba+ era mpambye ekibuga eky’amazzi.* 28 Kale kaakano kuŋŋaanya abasirikale abalala osiisire olwanyise ekibuga okiwambe; bwe kitaabe bwe kityo nja kukiwamba bagambe nti nze nkiwambye.”*
29 Awo Dawudi n’akuŋŋaanya abasirikale bonna n’agenda e Labba n’akirwanyisa n’akiwamba. 30 Oluvannyuma yaggya engule ku mutwe gwa Malukamu.* Engule eyo yali ezitowa ttalanta* emu eya zzaabu; yaliko amayinja ag’omuwendo, era yateekebwa ku mutwe gwa Dawudi. Ate era Dawudi yaggya omunyago mungi nnyo+ mu kibuga.+ 31 Abantu abaakirimu yabaggyamu n’abakozesa emirimu egy’okusala amayinja n’emirimu egyetaagisa okukozesa ebintu ebyogi eby’ekyuma n’embazzi, era n’abakubisa amatoffaali. Bw’atyo bwe yakola mu bibuga byonna eby’Abaamoni. Oluvannyuma Dawudi n’abasirikale bonna baddayo e Yerusaalemi.