Ekyamateeka
9 “Wulira ggwe Isirayiri, leero ogenda kusomoka Yoludaani+ otwale ensi omuli amawanga agakusinga obunene n’amaanyi,+ omuli ebibuga ebinene ebiriko bbugwe atuukira ddala ku ggulu,*+ 2 omuli abantu ab’amaanyi era abawanvu, abaana ba Anaki,+ b’omanyi era be wawulirako nga boogerwako nti, ‘Ani ayinza okwaŋŋanga abaana ba Anaki?’ 3 Kale kimanye leero nti Yakuwa Katonda wo ajja kusomoka akukulemberemu.+ Ye muliro ogusaanyaawo+ era ajja kubasaanyaawo. Ajja kubawangula ng’olaba osobole okubagobamu mu bwangu era obazikirize, nga Yakuwa bwe yakusuubiza.+
4 “Yakuwa Katonda wo bw’alibagoba mu maaso go, togambanga mu mutima gwo nti, ‘Yakuwa yandeeta okutwala ensi eno olw’obutuukirivu bwange,’+ kubanga obubi bw’amawanga gano+ bwe buviiriddeko Yakuwa okugagoba mu maaso go. 5 Oyingira okutwala ensi yaabwe, si lwa butuukirivu bwo oba obugolokofu bw’omutima gwo; Yakuwa Katonda wo agoba amawanga gano mu maaso go+ olw’obubi bwago n’olw’okutuukiriza ekyo Yakuwa kye yalayirira bajjajjaabo, Ibulayimu,+ Isaaka,+ ne Yakobo.+ 6 Era kimanye nti Yakuwa Katonda wo akuwa ensi eno ennungi ogitwale, kyokka tagikuwa lwa butuukirivu bwo, kubanga muli bantu bakakanyavu.*+
7 “Jjukira era teweerabiranga engeri gye wanyiizaamu Yakuwa Katonda wo mu ddungu.+ Okuva ku lunaku lwe mwava mu nsi ya Misiri okutuusa lwe mutuuse mu kifo kino mubadde mujeemera Yakuwa.+ 8 Ne mu Kolebu mwanyiiza Yakuwa, Yakuwa n’abasunguwalira nnyo n’ayagala okubasaanyaawo.+ 9 Bwe nnayambuka ku lusozi okuweebwa ebipande by’amayinja,+ ebipande eby’endagaano Yakuwa gye yakola nammwe,+ nnabeera ku lusozi okumala ennaku 40 emisana n’ekiro,+ nga sirya mmere era nga sinywa mazzi. 10 Yakuwa n’ampa ebipande ebibiri eby’amayinja ebyawandiikibwako n’engalo ya Katonda; era byaliko ebigambo byonna Yakuwa bye yali abagambye ku lusozi ng’ayima wakati mu muliro ku lunaku ekibiina lwe kyakuŋŋaana.+ 11 Ku nkomerero y’ennaku 40, emisana n’ekiro, Yakuwa yampa ebipande by’amayinja ebibiri, ebipande eby’endagaano; 12 era Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Situka ove wano oserengete mangu kubanga abantu bo be waggya e Misiri beeyisizza bubi nnyo.+ Bakyuse mangu ne bava mu kkubo lye nnabalagira okutambuliramu. Beekoledde ekifaananyi eky’ekyuma.’*+ 13 Era Yakuwa n’aŋŋamba nti, ‘Nkirabye nti abantu bano bakakanyavu.*+ 14 Ndeka mbazikirize era nsaanyeewo erinnya lyabwe wansi w’eggulu, ggwe nkufuule eggwanga ery’amaanyi era eddene okubasinga.’+
15 “Awo ne nkyuka ne nserengeta okuva ku lusozi ng’olusozi lwaka omuliro,+ era nnali nkutte ebipande ebibiri eby’endagaano mu mikono gyange gyombi.+ 16 Ne ntunula era laba, mwali mwonoonye eri Yakuwa Katonda wammwe! Mwali mwekoledde ennyana ey’ekyuma.* Mwali mukyuse mangu ne muva mu kkubo Yakuwa lye yali abalagidde okutambuliramu.+ 17 Awo nnaddira ebipande ebibiri ebyali mu mikono gyange ne mbikuba wansi ne byatikirayatikira mu maaso gammwe.+ 18 Ne nvunnama mu maaso ga Yakuwa ennaku 40 emisana n’ekiro nga bwe nnali nkoze okusooka. Saalya mmere wadde okunywa amazzi+ olw’okwonoona kwammwe kwonna kwe mwayonoona nga mukola ekibi mu maaso ga Yakuwa ne mumunyiiza. 19 Nnatya nnyo olw’okuba Yakuwa yali abasunguwalidde nnyo+ era ng’ayagala kubazikiriza. Kyokka ne ku mulundi ogwo Yakuwa yampuliriza.+
20 “Alooni naye Yakuwa yamusunguwalira nnyo era n’ayagala okumuzikiriza;+ naye nneegayirira ku lulwe mu kiseera ekyo. 21 Nnaddira ennyana+ gye mwali mukoze ne mwonoona ne ngyokya mu muliro ne ngibetenta ne ngisekulira ddala n’efuuka ng’enfuufu; oluvannyuma enfuufu yaayo ne ngiyiwa mu mugga ogwali gukulukuta okuva ku lusozi.+
22 “Ate era mwasunguwaza Yakuwa nga muli e Tabera+ n’e Masa+ n’e Kiberosu-kataava.+ 23 Era Yakuwa bwe yabatuma okuva e Kadesi-baneya+ ng’agamba nti, ‘Mugende mutwale ensi gye ŋŋenda okubawa!’ mwajeemera ekiragiro kya Yakuwa Katonda wammwe,+ temwamwesiga+ era temwamugondera. 24 Mubaddenga mujeemera Yakuwa okuviira ddala ku lunaku lwe nnabamanya.
25 “Nnavunnama mu maaso ga Yakuwa okumala ennaku 40 emisana n’ekiro.+ Nnavunnama olw’okuba Yakuwa yali agambye nti agenda kubazikiriza. 26 Era nneegayirira Yakuwa ne ŋŋamba nti, ‘Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna, tozikiriza bantu bo, ababo ku bubwo,*+ be wanunula n’obuyinza bwo obungi n’obaggya mu Misiri n’omukono ogw’amaanyi.+ 27 Jjukira abaweereza bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.+ Totunuulira bukakanyavu bwa bantu bano n’obubi bwabwe n’ekibi kyabwe.+ 28 Abantu b’omu nsi mwe watuggya bajja kugamba nti: “Olw’okuba Yakuwa yali tasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza era olw’okuba yali tabaagala kyeyava abatwala abattire mu ddungu.”+ 29 Bantu bo, ababo ku bubwo,*+ be waggyayo n’amaanyi go amangi, era n’omukono gwo ogugoloddwa.’+