Ebikolwa
9 Naye Sawulo bwe yali akyeyongera okutiisatiisa abayigirizwa ba Mukama waffe,+ era ng’ayagala okubatta, n’agenda eri kabona asinga obukulu 2 n’amusaba amabaluwa agamukkiriza okugenda mu makuŋŋaaniro ag’omu Ddamasiko aggyeyo abasajja n’abakazi ab’Ekkubo,+ abaleete e Yerusaalemi nga basibe.
3 Bwe yali agenda era ng’anaatera okutuuka e Ddamasiko, amangu ago ekitangaala eky’amaanyi okuva mu ggulu ne kyaka okumwetooloola,+ 4 n’agwa wansi n’awulira eddoboozi nga limugamba nti: “Sawulo, Sawulo, lwaki onjigganya?” 5 N’amubuuza nti: “Ggwe ani, Mukama wange?” N’amuddamu nti: “Nze Yesu,+ gw’oyigganya.+ 6 Naye yimuka ogende mu kibuga, era ojja kutegeezebwa ky’olina okukola.” 7 Abasajja abaali batambula naye baayimirira ne basamaalirira, nga bawulira eddoboozi, naye nga tebalaba muntu yenna.+ 8 Awo Sawulo n’asituka wansi, era wadde ng’amaaso ge gaali gatunula, yali talina ky’alaba. Ne bamukwata ku mukono ne bamutwala e Ddamasiko. 9 Yamala ennaku ssatu nga talaba kintu kyonna,+ nga talya era nga tanywa.
10 Mu Ddamasiko mwalimu omuyigirizwa ayitibwa Ananiya,+ era Mukama waffe yamugamba mu kwolesebwa nti: “Ananiya!” N’addamu nti: “Nzuuno Mukama wange.” 11 Mukama waffe n’amugamba nti: “Yimuka ogende ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, obuuze mu nnyumba ya Yuda omusajja ayitibwa Sawulo ow’e Taluso.+ Mu kiseera kino asaba, 12 era mu kwolesebwa alabye omusajja ayitibwa Ananiya ng’ajja gy’ali okumussaako emikono asobole okuddamu okulaba.”+ 13 Naye Ananiya n’amuddamu nti: “Mukama wange, mpulidde ebintu bingi ebikwata ku musajja oyo, n’ebibi bingi bye yakola abatukuvu bo e Yerusaalemi. 14 Era yajja nga bakabona abakulu bamuwadde obuyinza okukwata abo bonna abakoowoola erinnya lyo abasibe.”+ 15 Naye Mukama waffe n’amugamba nti: “Genda, kubanga omusajja oyo kibya kye nnonze+ okutwala erinnya lyange eri ab’amawanga,+ eri bakabaka,+ n’eri abaana ba Isirayiri. 16 Nja kumulaga ebintu bingi by’alina okuyitamu ng’abonaabona olw’erinnya lyange.”+
17 Awo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba, n’amussaako emikono n’amugamba nti: “Sawulo muganda wange, Mukama waffe Yesu eyakulabikidde mu kkubo ng’ojja, antumye gy’oli osobole okuddamu okulaba era ojjuzibwe omwoyo omutukuvu.”+ 18 Amangu ago ku maaso ge ne kuvaako ebintu ebyalinga amagalagamba, n’addamu okulaba n’asituka n’abatizibwa, 19 n’alya emmere n’addamu amaanyi.
N’amala ennaku ng’ali n’abayigirizwa mu Ddamasiko,+ 20 era amangu ago n’atandika okubuulira mu makuŋŋaaniro nti Yesu ye Mwana wa Katonda. 21 Naye abo bonna abaamuwulira ne beewuunya nnyo ne bagamba nti: “Ono si ye musajja eyayigganya ennyo abo abaali mu Yerusaalemi abakoowoola erinnya lino,+ era teyajja eno olw’ekigendererwa eky’okubakwata abatwale* eri bakabona abakulu?”+ 22 Naye Sawulo ne yeeyongera okufuna amaanyi, era n’awuniikiriza Abayudaaya ab’omu Ddamasiko ng’alaga mu ngeri etegeerekeka obulungi nti Yesu ye Kristo.+
23 Bwe waayitawo ennaku nnyingi, Abayudaaya ne bateesa okumutta,+ 24 kyokka Sawulo n’ategeera olukwe lwabwe. Ate era baakuumanga emiryango gy’ekibuga emisana n’ekiro basobole okumutta. 25 Naye ekiro abayigirizwa be ne bamuteeka mu kisero ne bamuyisa mu ddirisa eryali ku kisenge ne bamussa wansi.+
26 Bwe yatuuka mu Yerusaalemi,+ n’afuba okwegatta ku bayigirizwa, naye bonna baali bamutya, kubanga baali tebakikkiriza nti muyigirizwa wa Yesu. 27 Awo Balunabba+ n’ajja n’amuyamba n’amutwala eri abatume, n’ababuulira nga Sawulo bwe yalaba Mukama waffe mu kkubo,+ era Mukama waffe n’ayogera naye. Ate era yabategeeza engeri gye yayogera n’obuvumu mu linnya lya Yesu ng’ali mu Ddamasiko.+ 28 Awo Sawulo ne yeeyongera okubeera nabo, ng’atambula kyeere* mu Yerusaalemi, era ng’ayogera n’obuvumu mu linnya lya Mukama waffe. 29 Yayogeranga era n’awakananga n’Abayudaaya abaayogeranga Oluyonaani, naye ne bagezaako okumutta.+ 30 Ab’oluganda bwe baakitegeera ne bamutwala e Kayisaliya, ne bamusindika e Taluso.+
31 Awo ekibiina kyonna mu Buyudaaya ne Ggaliraaya ne Samaliya+ ne kibeera mu mirembe, ne kinywezebwa; era okuva ekibiina kyonna bwe kyali kitambulira mu kutya Yakuwa* era nga kibudaabudibwa okuyitira mu mwoyo omutukuvu,+ kyeyongera obunene.
32 Peetero bwe yali ayitaayita mu bitundu byonna, n’atuuka eri abatukuvu abaali babeera mu Luda.+ 33 Yasangayo omusajja ayitibwa Ayineya, eyali yasannyalala, era ng’amaze emyaka munaana nga tava ku kitanda. 34 Peetero n’amugamba nti: “Ayineya, Yesu Kristo akuwonya.+ Yimuka oyale obuliri bwo.”+ Amangu ago n’ayimuka. 35 Abo bonna abaali babeera mu Luda ne mu Lusenyi lwa Saloni bwe baamulaba, ne bakyuka ne badda eri Mukama waffe.
36 Mu Yopa waaliyo omuyigirizwa eyali ayitibwa Tabbiisa, mu Luyonaani ng’ayitibwa “Doluka.”* Yali yayitirira mu kukola ebikolwa ebirungi ne mu kuyamba abaavu. 37 Mu nnaku ezo yalwala n’afa. Awo ne bamunaaza ne bamugalamiza mu kisenge ekya waggulu. 38 Olw’okuba Luda kyali kumpi ne Yopa, abayigirizwa bwe baawulira nti Peetero ali mu kibuga ekyo, ne bamutumira abasajja babiri bamugambe nti: “Jjangu mu bwangu gye tuli.” 39 Awo Peetero n’asituka n’agenda nabo. Bwe yatuukayo, ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu; bannamwandu bonna ne bagenda we yali nga bakaaba, ne bamulaga ebyambalo bingi n’engoye* Doluka bye yabakoleranga ng’akyali nabo. 40 Peetero n’abafulumya bonna,+ n’afukamira n’asaba, n’akyukira omulambo n’agamba nti: “Tabbiisa, yimuka!” Tabbiisa n’azibula amaaso, n’alaba Peetero, n’atuula.+ 41 Peetero n’amukwata omukono, n’amuyimusa, n’ayita abatukuvu ne bannamwandu n’amubakwasa nga mulamu.+ 42 Kino ne kimanyibwa mu Yopa yonna, era bangi ne bakkiriza Mukama waffe.+ 43 Peetero yamala mu Yopa ennaku eziwera ng’ali ne Simooni eyali omuwazi w’amaliba.+