Matayo
19 Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’ava e Ggaliraaya n’agenda ku nsalo za Buyudaaya emitala wa Yoludaani.+ 2 Era ekibiina ky’abantu kinene ne kimugoberera, n’abawonyeza eyo.
3 Abafalisaayo ne bajja gy’ali nga baagala okumukema, era ne bamubuuza nti: “Kikkirizibwa omusajja okugoba* mukazi we ku buli nsonga yonna?”+ 4 N’abaddamu nti: “Temusomangako nti oyo eyabatonda ku lubereberye yatonda omusajja n’omukazi+ 5 era n’agamba nti: ‘Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina n’anywerera ku mukazi we, era ababiri abo banaabanga omubiri gumu’?+ 6 Nga tebakyali babiri, wabula nga bali omubiri gumu. N’olwekyo, Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu.”+ 7 Ne bamugamba nti: “Kati olwo lwaki Musa yagamba nti buli agoba* mukazi we alina okumuwa ebbaluwa eraga nti amugobye?”+ 8 N’abagamba nti: “Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, Musa yabakkiriza okugoba* bakazi bammwe,+ naye si bwe kyali okuva ku lubereberye.+ 9 Mbagamba nti, buli agoba* mukazi we okuggyako ng’amuvunaana gwa bwenzi,* n’awasa omulala, aba ayenze.”+
10 Abayigirizwa ne bamugamba nti: “Bwe kiba ng’obufumbo bwe butyo bwe buli, kirungi obutawasa.” 11 N’abagamba nti: “Tekiri nti buli muntu asobola okugoberera ekigambo ekyo okuggyako abo abalina ekirabo.+ 12 Waliwo abalaawe abazaalibwa nga balaawe, waliwo abo abaalaayibwa abantu, era waliwo n’abo abeeraawa olw’Obwakabaka obw’omu ggulu. Oyo asobola okusigala nga si mufumbo asigale nga si mufumbo.”+
13 Awo ne bamuleetera abaana abato abasseeko emikono era abasabire, kyokka abayigirizwa be ne bababoggolera.+ 14 Naye Yesu n’abagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana, kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu bw’abo abalinga abaana abato.”+ 15 N’abassaako emikono n’ava mu kifo ekyo.
16 Awo ne wabaawo omuntu eyajja gy’ali n’amugamba nti: “Omuyigiriza, kirungi ki kye nteekwa okukola nsobole okufuna obulamu obutaggwaawo?”+ 17 N’amugamba nti: “Lwaki ombuuza ekirungi? Omulungi ali omu.+ Naye bw’oba oyagala okufuna obulamu, kwatanga ebiragiro.”+ 18 N’amugamba nti: “Bye biruwa?” Yesu n’amuddamu nti: “Tottanga,+ toyendanga,+ tobbanga,+ towaayirizanga,+ 19 kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,+ era olina okwagala muliraanwa* wo nga bwe weeyagala.”+ 20 Omusajja n’amugamba nti: “Bino byonna mbadde mbikwata; kiki ekirala kye mbulako?” 21 Yesu n’amugamba nti: “Bw’oba oyagala okuba eyatuukirira, genda otunde ebintu byo ogabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu;+ bw’omala okukola ekyo, ojje ongoberere.”+ 22 Omusajja bwe yawulira ebyo n’agenda ng’anakuwadde kubanga yalina ebintu bingi.+ 23 Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti: “Mazima mbagamba nti kijja kuba kizibu nnyo omugagga okuyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu.+ 24 Ate era mbagamba nti kyangu eŋŋamira okuyita mu katuli k’empiso okusinga omugagga okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda.”+
25 Abayigirizwa bwe baawulira ekyo ne beewuunya nnyo, ne bagamba nti: “Ddala ani ayinza okulokolebwa?”+ 26 Yesu n’abatunuulira n’abagamba nti: “Eri abantu tekisoboka, naye eri Katonda ebintu byonna bisoboka.”+
27 Peetero n’amugamba nti: “Laba! Twaleka ebintu byonna ne tukugoberera, kale tulifuna ki?”+ 28 Yesu n’abagamba nti: “Mazima mbagamba nti, Omwana w’omuntu bw’alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa ng’ebintu byonna bizzibwa obuggya, mmwe abangoberedde mulituula ku ntebe 12 ne mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri.+ 29 Era buli muntu eyaleka ennyumba, baganda be, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba abaana, oba ebibanja olw’erinnya lyange, ajja kufuna ebisingawo emirundi kikumi, era ajja kufuna n’obulamu obutaggwaawo.+
30 “Naye bangi ab’olubereberye baliba ba luvannyuma, n’ab’oluvannyuma baliba ba lubereberye.+