Matayo
20 “Obwakabaka obw’omu ggulu bulinga omusajja eyalina ennimiro y’emizabbibu, eyakeera ku makya okufuna abakozi ab’okukola mu nnimiro ye.+ 2 Bwe yamala okukkiriziganya n’abakozi okubasasula eddinaali* emu olunaku, n’abasindika okukola mu nnimiro ye ey’emizabbibu. 3 N’afuluma nate ku ssaawa nga ssatu n’alaba abalala mu katale nga bayimiridde awo tebalina kye bakola, 4 n’abagamba nti, ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro y’emizabbibu nja kubasasula ekibagwanira.’ 5 Ne bagenda. Era n’afuluma ku ssaawa nga mukaaga, era ne ku ssaawa nga mwenda n’akola ekintu kye kimu. 6 Mu nkomerero, ku ssaawa nga kkumi n’emu n’afuluma n’asanga abalala nga bayimiridde n’abagamba, ‘Lwaki okuva obw’enkya mubadde muyimiridde wano nga temulina kye mukola?’ 7 Ne bamugamba nti, ‘Tewali yatututte kumukolera.’ N’abagamba nti ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro y’emizabbibu.’
8 “Akawungeezi bwe kaatuuka, nnannyini nnimiro y’emizabbibu n’agamba omusajja we eyali alabirira abakozi nti, ‘Yita abakozi obasasule empeera yaabwe;+ sookera ku abo abazze oluvannyuma osembyeyo abaasoose.’ 9 Awo abakozi abaatandika okukola ku ssaawa ekkumi n’emu bwe bajja, buli omu n’afuna eddinaali* emu. 10 Abo abaasooka ku mulimu bwe bajja ne balowooza nti bo bajja kusasulwa ekisingawo, naye nabo ne basasulwa eddinaali* emu. 11 Bwe baagifuna ne beemulugunyiza nnannyini nnimiro 12 nga bagamba nti, ‘Bano abazze oluvannyuma bakoledde essaawa emu naye obasasudde kye kimu naffe abateganye olunaku lwonna nga n’omusana gutwokya!’ 13 Naye n’agamba omu ku bo nti, ‘Sirina kikyamu kye nkukoze. Tetwakkiriziganyizza nti nja kukusasula eddinaali* emu?+ 14 Kwata empeera yo ogende. Ono asembyeyo njagala kumuwa empeera y’emu nga gye nkuwadde. 15 Sisaanidde kukozesa bintu byange nga bwe njagala? Oba okwatiddwa obuggya* olw’okuba ndi muntu mulungi?’+ 16 Bwe kityo, ab’oluvannyuma baliba ab’olubereberye, n’ab’olubereberye baliba ab’oluvannyuma.”+
17 Awo bwe baali mu kkubo nga bagenda e Yerusaalemi, Yesu yazza abayigirizwa be ekkumi n’ababiri ku bbali n’abagamba nti:+ 18 “Laba! Tugenda e Yerusaalemi era Omwana w’omuntu ajja kuweebwayo eri bakabona abakulu n’abawandiisi bamusalire ogw’okufa,+ 19 era bamuweeyo eri ab’amawanga bamusekerere, bamukube, era bamukomerere ku muti,+ naye ku lunaku olw’okusatu azuukizibwe.”+
20 Awo maama wa batabani ba Zebedaayo+ n’amutuukirira ng’ali ne batabani be n’amuvunnamira, era n’abaako ky’amusaba.+ 21 Yesu n’amubuuza nti: “Kiki ky’oyagala?” N’amuddamu nti: “Batabani bange bano bombi nkusaba batuule naawe mu Bwakabaka bwo,+ omu ku mukono gwo ogwa ddyo ate omulala ku gwa kkono.” 22 Yesu n’addamu nti: “Temumanyi kye musaba. Musobola okunywa ekikopo kye nnaatera okunywa?”+ Ne bamugamba nti: “Tusobola.” 23 N’abagamba nti: “Kyo ekikopo kyange mujja kukinywa,+ naye si nze asalawo alituula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ku gwa kkono, wabula ky’abo Kitange be yakitegekera.”+
24 Abalala ekkumi bwe baakiwulira ne banyiigira ab’oluganda ababiri.+ 25 Naye Yesu n’abayita n’abagamba nti: “Mumanyi nti abo abafuga amawanga bakajjala ku bantu, n’abakulu abantu babafugisa bukambwe.+ 26 Naye tekirina kuba bwe kityo mu mmwe;+ buli ayagala okuba omukulu mu mmwe ateekeddwa okubeera omuweereza wammwe,+ 27 era buli ayagala okubeera ow’olubereberye mu mmwe ateekeddwa okubeera omuddu wammwe.+ 28 N’Omwana w’omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza+ n’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.”+
29 Awo bwe baali bava mu Yeriko, ekibiina ky’abantu ekinene ne kimugoberera. 30 Era laba! abasajja babiri abazibe b’amaaso abaali batudde ku mabbali g’ekkubo bwe baawulira nti Yesu ayitawo ne baleekaana nti: “Mukama waffe, Omwana wa Dawudi, tusaasire!”+ 31 Naye abantu ne bababoggolera nga babagamba basirike; naye ne bongera okuleekaana nga bagamba nti: “Mukama waffe, Omwana wa Dawudi, tusaasire!” 32 Yesu n’ayimirira n’abayita, n’ababuuza nti: “Kiki kye mwagala mbakolere?” 33 Ne bamugamba nti: “Mukama waffe, tuzibule amaaso.” 34 Yesu n’abakwatirwa ekisa, n’akwata ku maaso gaabwe,+ amangu ago ne gazibuka era ne bamugoberera.