2 Abakkolinso
3 Twetaaga nate okwesemba ffekka gye muli? Oba okufaananako abantu abamu, naffe twetaaga amabaluwa agatusemba gye muli oba okuva gye muli? 2 Mmwe mmwennyini mmwe mabaluwa gaffe+ agawandiikiddwa ku mitima gyaffe agamanyiddwa era agasomebwa abantu bonna. 3 Kyeyolese bulungi nti muli bbaluwa ya Kristo gye twawandiika ffe ng’abaweereza,+ etaawandiikibwa na bwino wabula n’omwoyo gwa Katonda omulamu, era teyawandiikibwa ku bipande eby’amayinja,+ wabula ku mitima.*+
4 Era okuyitira mu Kristo tulina obwesige nga buno eri Katonda. 5 Tetukitwala nti ebisaanyizo bye tulina twabifuna ku lwaffe; byava eri Katonda,+ 6 eyatuwa ebisaanyizo eby’okubeera abaweereza ab’endagaano empya,+ si ab’amateeka agali mu buwandiike,+ wabula ab’omwoyo; kubanga amateeka agali mu buwandiike gasalira omuntu omusango ogw’okufa,+ naye omwoyo guwa omuntu obulamu.+
7 Bwe kiba nti Amateeka agaleeta okufa era agaayolebwa mu nnukuta ku mayinja+ gajjira mu kitiibwa, abaana ba Isirayiri ne baba nga tebasobola kwekaliriza Musa mu maaso olw’ekitiibwa ekyali mu maaso ge,+ ekitiibwa ekyali eky’okuggwaawo, 8 obuweereza obw’omwoyo+ tebusingawo nnyo okuba obw’ekitiibwa?+ 9 Bwe kiba nti Amateeka agaleetera omuntu okusingibwa omusango+ gaali ga kitiibwa,+ obuweereza obw’obutuukirivu bwa kitiibwa nnyo n’okusingawo.+ 10 Mu butuufu, n’ekyo ekyali eky’ekitiibwa kiggiddwako ekitiibwa olw’ekitiibwa ekikisinga.+ 11 Bwe kiba nti ekyo ekyali eky’okuggibwawo kyaleetebwa mu kitiibwa,+ ekyo eky’okusigalawo ebbanga lyonna kyandibadde n’ekitiibwa ekisingawo.+
12 Nga bwe tulina essuubi eryo,+ twogerera ddala n’obuvumu, 13 era tetukola nga Musa, eyeebikkanga ekitambaala mu maaso,+ abaana ba Isirayiri baleme okwekaliriza enkomerero y’ekyo ekyali eky’okuggibwawo. 14 Naye obusobozi bwabwe obw’okulowooza bwaddirira.+ Kubanga n’okutuusa leero ekibikka kye kimu kibabeerako ng’endagaano enkadde esomebwa,+ kubanga kiggibwawo okuyitira mu Kristo.+ 15 Mu butuufu, n’okutuusa leero, buli ebitabo bya Musa lwe bisomebwa,+ ekibikka kibeera ku mitima gyabwe.+ 16 Naye bwe wabaawo adda eri Yakuwa* ekibikka kiggibwawo.+ 17 Yakuwa* gwe Mwoyo,+ era omwoyo gwa Yakuwa we guba wabaawo eddembe.+ 18 Era ffe ffenna abatabikkiddwa ku maaso twoleka ekitiibwa kya Yakuwa* ng’endabirwamu, era tukyusibwa mu kifaananyi kye kimu okuva mu kitiibwa ekimu okudda mu kirala, nga Yakuwa* Omwoyo bw’akolera ddala.+