Abaggalatiya
3 Mmwe Abaggalatiya abatalina magezi, ani yabalimbalimba+ ng’ate okukomererwa kwa Yesu Kristo+ kwabannyonnyolwa bulungi? 2 Kino kyokka kye njagala okubabuuza:* Mwafuna omwoyo lwa kutuukiriza mateeka bye galagira oba lwa kukkiririza mu bye mwawulira?+ 3 Ddala temulina magezi? Oluvannyuma lw’okutandika okutambulira mu kkubo ery’omwoyo,* kaakano mumaliririza mu kkubo lya mubiri?*+ 4 Ebibonyoobonyo ebingi bye mwayitamu byali bya bwereere? Ndi mukakafu nti tebyali bya bwereere. 5 Kati olwo, oyo abawa omwoyo era n’akola ebyamagero+ mu mmwe, abikola lwa kuba mutuukiriza ebyo amateeka bye galagira oba lwa kuba mukkiririza mu bye mwawulira? 6 Nga Ibulayimu bwe ‘yakkiririza mu Yakuwa,* n’abalibwa okuba omutuukirivu.’+
7 Mazima ddala mukimanyi nti abo abalina okukkiriza be baana ba Ibulayimu.+ 8 Kaakano ekyawandiikibwa, olw’okukirengererawo nti ab’amawanga Katonda yandibayise batuukirivu lwa kukkiriza, kyalangiririrawo amawulire amalungi eri Ibulayimu nti: “Okuyitira mu ggwe amawanga gonna galiweebwa omukisa.”+ 9 N’olwekyo, abo abalina okukkiriza baweerwa wamu ne Ibulayimu omukisa eyalina okukkiriza.+
10 Abo bonna abeesiga eky’okutuukiriza ebyo amateeka bye galagira bakolimiddwa; kubanga kyawandiikibwa nti: “Akolimiddwa oyo yenna atatuukiriza bintu byonna ebyawandiikibwa mu muzingo gw’Amateeka.”+ 11 Ate era, kyeyoleka kaati nti tewali ayinza kuyitibwa mutuukirivu mu maaso ga Katonda olw’okutuukiriza amateeka,+ kubanga “omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.”+ 12 Kaakano Amateeka tegeetaagisa muntu kuba na kukkiriza, naye “oyo agakwata ajja kuba mulamu olwago.”+ 13 Kristo yatugula+ n’atununula+ mu kikolimo ky’Amateeka ng’afuuka ekikolimo mu kifo kyaffe, kubanga kyawandiikibwa nti: “Akolimiddwa buli awanikibwa ku muti.”+ 14 Kino kyali bwe kityo, omukisa gwa Ibulayimu gutuuke eri amawanga okuyitira mu Kristo Yesu,+ tusobole okufuna omwoyo ogwasuubizibwa+ okuyitira mu kukkiriza kwaffe.
15 Ab’oluganda, njogera nga nkozesa ekyokulabirako eky’omu bulamu obwa bulijjo: Endagaano bw’emala okukakasibwa, wadde nga muntu y’aba agikakasizza, tewabaawo agimenyawo oba agyongeramu kintu kyonna. 16 Ebisuubizo byategeezebwa Ibulayimu ne muzzukulu we.*+ Ekyawandiikibwa tekigamba nti, “bazzukulu bo,” nga gy’obeera nti kyogera ku bangi. Naye kigamba nti, “muzzukulu wo,”* nga kyogera ku omu, nga ye Kristo.+ 17 Ate era, njogera kino: Amateeka agajjawo oluvannyuma lw’emyaka 430,+ tegadibya ndagaano eyakolebwa Katonda, gasobole okuggyawo ekisuubizo. 18 Kubanga singa obusika buba bwesigamye ku mateeka, olwo buba tebukyesigamye ku kisuubizo; naye mu kisa kye Katonda yabuwa Ibulayimu okuyitira mu kisuubizo.+
19 Kati olwo Amateeka gaali gaaki? Gaagattibwako okwoleka ebyonoono,+ okutuusa ezzadde eryaweebwa ekisuubizo lwe lyandizze;+ era gaayisibwa mu bamalayika+ ne gaweebwa omutabaganya.+ 20 Omutabaganya aba yeetaagisa ng’abakwatibwako basukka mu omu, naye ye Katonda ali omu yekka. 21 Kati olwo, Amateeka gakontana n’ebisuubizo bya Katonda? N’akatono! Kubanga singa waliwo etteeka eryaweebwa nga lisobola okuweesa abantu obulamu, obutuukirivu bwandibadde bufunibwa kuyitira mu mateeka. 22 Naye Ekyawandiikibwa kyawaayo ebintu byonna mu busibe bw’ekibi, ekisuubizo ekiva mu kukkiririza mu Yesu Kristo kisobole okuweebwa abo abalina okukkiriza.
23 Kyokka okukkiriza bwe kwali tekunnajja, twali tukuumirwa wansi w’amateeka, nga tuweebwayo mu busibe, nga tulindirira okukkiriza okwali kugenda okubikkulwa.+ 24 N’olwekyo, Amateeka gaafuuka mukuumi* waffe atutwala eri Kristo+ tusobole okuyitibwa abatuukirivu okuyitira mu kukkiriza.+ 25 Naye kati okukkiriza bwe kumaze okujja,+ tetukyali wansi wa mukuumi.*+
26 Mu butuufu, mmwenna muli baana ba Katonda+ okuyitira mu kukkiriza kwe mulina mu Kristo Yesu.+ 27 Kubanga mmwenna abaabatizibwa mu Kristo mwambadde Kristo.+ 28 Tewali njawulo wakati w’Omuyudaaya n’Omuyonaani,+ wakati w’omuddu n’ow’eddembe,+ ne wakati w’omusajja n’omukazi,+ kubanga mmwenna muli omuntu omu mu Kristo Yesu.+ 29 Ate era, bwe kiba nti muli ba Kristo, ddala muli zzadde lya Ibulayimu,+ abasika+ okusinziira ku kisuubizo.+