Lukka
11 Lumu Yesu yaliko w’ali ng’asaba, era bwe yamaliriza, omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti: “Mukama waffe, tuyigirize okusaba nga ne Yokaana bwe yayigiriza abayigirizwa be.”
2 N’abagamba nti: “Bwe mubanga musaba, mugambenga nti: ‘Kitaffe, erinnya lyo litukuzibwe.*+ Obwakabaka bwo bujje.+ 3 Tuwe emmere yaffe buli lunaku okusinziira ku bwetaavu bwaffe obw’olunaku.+ 4 Otusonyiwe ebibi byaffe,+ kubanga naffe tusonyiwa buli gwe tubanja;+ era totutwala mu kukemebwa.’”+
5 Ate era n’abagamba nti: “Singa omu ku mmwe aba ne mukwano gwe n’agenda ewuwe ekiro mu ttumbi, n’amugamba nti, ‘Mukwano gwange, mpolaayo emigaati esatu, 6 kubanga mukwano gwange ankyalidde ng’ava ku lugendo naye sirina kya kumuwa.’ 7 Naye oyo ali munda n’amuddamu nti, ‘Lekera awo okuntawaanya. Oluggi lwaggaddwawo dda era nze n’abaana bange tuli mu buliri. Sisobola kusituka kubaako kye nkuwa.’ 8 Mbagamba nti, wadde nga taasituke kumuwa kintu olw’okuba mukwano gwe, naye olw’okuba aba takooye kumusaba ky’ayagala,+ ajja kusituka amuwe kyonna kye yeetaaga. 9 N’olwekyo, mbagamba nti, musabenga,+ muliweebwa; munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo.+ 10 Kubanga buli asaba aweebwa,+ buli anoonya azuula, na buli akonkona aggulirwawo. 11 Mazima ddala, taata ki mu mmwe awa omwana we omusota ng’amusabye ekyennyanja?+ 12 Oba amuwa enjaba ng’amusabye eggi? 13 Kale obanga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ow’omu ggulu talisingawo nnyo okuwa omwoyo omutukuvu abo abamusaba!”+
14 Oluvannyuma Yesu n’agoba ku muntu dayimooni eyali emulemesa okwogera.+ Dayimooni bwe yamuvaako, omuntu oyo eyali tayogera n’atandika okwogera, abantu ne beewuunya nnyo.+ 15 Naye abamu ku bo ne bagamba nti: “Agoba dayimooni ng’akozesa maanyi ga Beeruzebuli* omufuzi wa badayimooni.”+ 16 Naye abalala olw’okwagala okumukema, ne batandika okumusaba abalage akabonero+ okuva mu ggulu. 17 Bwe yategeera kye baali balowooza,+ n’abagamba nti: “Buli bwakabaka obweyawulamu buzikirira, era n’amaka ageeyawulamu gasasika. 18 Bwe kityo, ne Sitaani bw’aba nga yeeyawuddemu, obwakabaka bwe buba bunaayimirirawo butya? Kubanga mugamba nti ngoba dayimooni nga nkozesa maanyi ga Beeruzebuli. 19 Bwe mba ngoba dayimooni nga nkozesa maanyi ga Beeruzebuli, abaana bammwe bazigoba bakozesa maanyi g’ani? Kyebaliva babasalira omusango. 20 Naye bwe mba ngoba dayimooni nga nkozesa ngalo ya Katonda,+ Obwakabaka bwa Katonda mubusubiddwa.+ 21 Omusajja ow’amaanyi, ate ng’alina n’eby’okulwanyisa bw’akuuma ennyumba ye, tewali kituuka ku bintu bye. 22 Naye amusinga amaanyi bw’ajja n’amulwanyisa n’amuwangula, atwala eby’okulwanyisa byonna by’abadde yeesiga, era n’ebintu by’aba amuggyeeko n’abigaba. 23 Oyo ataba ku ludda lwange, aba mulabe wange, n’oyo atakuŋŋaanyiza wamu nange aba asaasaanya.+
24 “Omwoyo omubi bwe guva mu muntu, guyitaayita mu bifo ebitaliimu mazzi nga gunoonya aw’okuwummulira, naye bwe gubulwa gugamba nti, ‘Nja kuddayo mu nnyumba yange gye nnavaamu.’+ 25 Bwe gugituukamu, gugisanga eyereddwa era ng’erongooseddwa. 26 Awo gugenda ne guleetayo emyoyo emirala musanvu egigusinga obubi era bwe gimala okuyingira gibeera omwo. Embeera y’omuntu oyo ey’oluvannyuma ebeera mbi okusinga eyasooka.”
27 Bwe yali akyayogera ebintu ebyo, omukazi eyali mu kibiina ky’abantu n’ayogerera waggulu nti: “Alina essanyu omukazi eyakuzaala era eyakuyonsa!”+ 28 Naye Yesu n’agamba nti: “Nedda, abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!”+
29 Awo abantu bangi bwe baali bakuŋŋaanye, n’agamba nti: “Omulembe guno mubi; gwagala okulaba akabonero, naye tewali kabonero kajja kuguweebwa wabula aka Yona.+ 30 Nga Yona+ bwe yali akabonero eri abantu b’omu Nineeve, bw’atyo n’Omwana w’omuntu bw’ajja okuba eri omulembe guno. 31 Kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo+ alizuukirira wamu n’ab’omulembe guno mu kiseera eky’okusala omusango era alibasingisa omusango, kubanga yava ewala ennyo n’ajja okuwulira amagezi ga Sulemaani. Naye laba! oyo asinga Sulemaani ali wano.+ 32 Abantu b’omu Nineeve balizuukirira wamu n’ab’omulembe guno mu kiseera eky’okusala omusango era balibasingisa omusango, kubanga beenenya olw’ebyo Yona bye yabuulira.+ Naye laba! oyo asinga Yona ali wano. 33 Omuntu bw’amala okukoleeza ettaala tagikweka era tagivuunikako kibbo,* wabula agiteeka ku kikondo kyayo,+ abayingira basobole okulaba ekitangaala. 34 Ettaala y’omubiri lye liiso lyo. Eriiso lyo bwe liba nga litunula wamu, omubiri gwo gwonna guba mutangaavu;* naye eriiso lyo bwe liba ery’obuggya,* n’omubiri gwo guba mu kizikiza.+ 35 N’olwekyo weegendereze si kulwa ng’ekitangaala ekiri mu ggwe kiba kizikiza. 36 Kale, omubiri gwo gwonna bwe guba gwakaayakana nga tewali kitundu kyagwo na kimu kiri mu kizikiza, gwonna gujja kuba gwakaayakana ng’ettaala bw’ekumulisa n’ekitangaala kyayo.”
37 Bwe yamala okwogera ebyo, Omufalisaayo omu n’amusaba alye naye. Awo Yesu n’agenda n’atuula naye ku mmeeza. 38 Kyokka Omufalisaayo ne yeewuunya okulaba nga Yesu tasoose kunaaba mu ngalo nga tannalya.*+ 39 Naye Mukama waffe n’amugamba nti: “Mmwe Abafalisaayo, muyonja kungulu ku kikopo ne kungulu ku kibya, naye nga munda mujjudde omululu n’ebikolwa ebibi.+ 40 Basirusiru mmwe! Oyo eyakola kungulu si ye yakola ne munda? 41 Naye ebibali munda mubigabire abaavu ng’ebirabo era ebirala byonna ku mmwe bijja kuba biyonjo. 42 Zibasanze mmwe Abafalisaayo, kubanga muwaayo ekimu eky’ekkumi ekya nnabbugira n’ekya peganoni* n’eky’omuddo omulala gwonna oguliibwa ng’enva+ naye ne musuula muguluka obwenkanya n’okwagala kwa Katonda! Ebintu ebyo mugwanidde okubikola, naye na bino ebirala temusaanidde kubibuusa maaso.+ 43 Zibasanze mmwe Abafalisaayo, kubanga mwagala ebifo eby’omu maaso* mu makuŋŋaaniro n’okulamusibwa mu butale!+ 44 Zibasanze mmwe, kubanga mulinga amalaalo agatali malambe+ abantu kwe batambulira naye nga tebakimanyi nti malaalo!”
45 Omu ku bo eyali omukenkufu mu Mateeka n’amugamba nti: “Omuyigiriza, bw’oyogera ebintu ebyo, naffe oba otuvuma.” 46 Awo n’agamba nti: “Zibasanze nammwe abakenkufu mu Mateeka, kubanga mutikka abantu emigugu egiteetikkika, naye nga mmwe temugikwatako wadde n’olugalo lwammwe olumu!+
47 “Zibasanze mmwe, kubanga muzimba entaana* za bannabbi, naye nga bajjajjammwe be baabatta!+ 48 Mazima ddala mumanyi ebikolwa bya bajjajjammwe kyokka ate mubiwagira; kubanga batta bannabbi+ naye ate mmwe muzimba amalaalo* gaabwe. 49 Eno ye nsonga lwaki mu magezi ge, Katonda era yagamba* nti, ‘Ndibatumira bannabbi n’abatume; bajja kuyigganya era batte abamu ku bo, 50 omusaayi gwa bannabbi gwonna ogwayiika okuva ku ntandikwa y’ensi* guvunaanibwe omulembe guno,+ 51 okuva ku musaayi gwa Abbeeri+ okutuuka ku gwa Zekkaliya eyattibwa wakati w’ekyoto n’ennyumba.’*+ Mbagamba nti gujja kuvunaanibwa omulembe guno.
52 “Zibasanze mmwe abakenkufu mu Mateeka, kubanga mwaggyawo ekisumuluzo ky’okumanya. Mmwe mmwennyini temwayingira era muziyiza n’abo abayingira!”+
53 Bwe yava eyo abawandiisi n’Abafalisaayo ne batandika okumuteganya ennyo n’okumubuuza ebibuuzo ebirala bingi, 54 nga baagala okumukwasa mu by’ayogera.+