Abebbulaniya
9 Endagaano eyasooka yalina ebiragiro ebikwata ku buweereza obutukuvu n’ekifo ekitukuvu+ eky’oku nsi. 2 Ekisenge eky’omu weema ekisooka kyateekebwawo, era kyalimu ekikondo ky’ettaala,+ emmeeza, n’emigaati egy’okulaga;+ era kiyitibwa Ekifo Ekitukuvu.+ 3 Naye emabega w’olutimbe olw’okubiri+ waaliyo ekisenge eky’omu weema ekiyitibwa Awasinga Obutukuvu.+ 4 Omwo mwalimu ekyoterezo ekya zzaabu+ n’essanduuko y’endagaano+ nga yonna ebikkiddwako zzaabu,+ era mu yo mwalimu ekibya ekya zzaabu ekyalimu emmaanu+ era mwalimu n’omuggo gwa Alooni ogwaloka,+ n’ebipande+ by’endagaano. 5 Kungulu yaliko bakerubi ab’ekitiibwa nga basiikirizza ekibikkako.*+ Naye kino si kye kiseera okwogera kalonda yenna akwata ku bintu bino.
6 Oluvannyuma lw’ebintu ebyo okukolebwa, bakabona bayingira obutayosa mu kisenge kya weema ekisooka okukola emirimu gy’obuweereza obutukuvu;+ 7 naye kabona asinga obukulu yekka y’ayingira mu kisenge kya weema eky’okubiri omulundi gumu mu mwaka,+ ng’alina omusaayi+ gw’awaayo ku lulwe+ ne ku lw’ebibi abantu+ bye baakola mu butamanya. 8 Bwe kityo, omwoyo omutukuvu gukyoleka kaati nti ekkubo erigenda mu kifo ekitukuvu lyali terinnaggulwawo nga weema eyasooka ekyaliwo.+ 9 Weema eno kabonero* ka kiseera ekiriwo kati,+ era okusinziira ku nteekateeka eno, ebirabo ne ssaddaaka biweebwayo.+ Kyokka ebintu ebyo tebisobozesa muntu akola emirimu egy’obuweereza obutukuvu okuba n’omuntu ow’omunda atuukiridde.+ 10 Bikwata ku bya kulya na bya kunywa ne ku kunaaba n’okwoza ebintu okutali kumu.*+ Bino byali bintu bya mubiri ebyetaagisa mu mateeka+ ebyateekebwawo okutuuka ku kiseera ekigereke eky’okutereeza ebintu.
11 Naye Kristo bwe yajja nga kabona asinga obukulu ow’ebintu ebirungi ebimaze okubaawo, yayita mu weema esinga obukulu era esinga obulungi, etaakolebwa na mikono, era etali emu ku bintu ebyatondebwa ku nsi kuno. 12 Yayingira omulundi gumu mu kifo ekitukuvu n’atufunira obulokozi obw’olubeerera,+ era teyayingirayo na musaayi gwa mbuzi na gwa nte ento ennume wabula na musaayi gwe gwennyini.+ 13 Bwe kiba nti omusaayi gw’embuzi n’ogw’ente ennume+ n’evvu ly’ente enduusi ebimansirwa ku abo abatali balongoofu bibatukuza ne baba balongoofu mu mubiri,+ 14 omusaayi gwa Kristo+ eyeewaayo eri Katonda nga ssaddaaka etaliiko kamogo okuyitira mu mwoyo ogutaggwaawo, teguusingewo nnyo okunaaza omuntu waffe ow’omunda okuva mu bikolwa ebifu+ tusobole okuweereza Katonda omulamu mu buweereza obutukuvu?+
15 Eyo ye nsonga lwaki ye mutabaganya w’endagaano empya,+ abo abaayitibwa basobole okufuna ekisuubizo eky’obusika obw’olubeerera.+ Kubanga okuyitira mu kufa kwe baasumululwa n’ekinunulo+ okuva mu kwonoona kwe baalimu nga bali wansi w’endagaano eyasooka. 16 Awali endagaano, kyetaagisa omuntu akola endagaano okufa, 17 kubanga endagaano etandika okukola ng’okufa kumaze okubaawo, okuva bw’etayinza kukola ng’omuntu eyagikola akyali mulamu. 18 Eyo ye nsonga lwaki n’endagaano eyasooka teyatongozebwa awatali musaayi. 19 Kubanga Musa bwe yamala okutegeeza abantu bonna ebiragiro byonna eby’Amateeka, yatwala omusaayi gw’ente ento ennume n’embuzi awamu n’amazzi n’agumansira ku kitabo ne ku bantu bonna ng’akozesa ebyoya by’endiga ebimyufu n’obutabi bwa ezobu, 20 nga bw’agamba nti: “Guno gwe musaayi gw’endagaano Katonda gy’abawadde okutuukiriza.”+ 21 Era ne weema n’ebintu byonna ebyakozesebwanga mu buweereza obutukuvu yabimansirako omusaayi.+ 22 Kyenkana ebintu byonna bitukuzibwa na musaayi+ okusinziira ku Mateeka, era awatali kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.+
23 N’olwekyo kyali kyetaagisa ekifaananyi ekikiikirira+ ebintu eby’omu ggulu okutukuzibwa mu ngeri eyo,+ naye ebintu eby’omu ggulu byetaaga ssaddaaka ezisingira ewala ssaddaaka ezo obulungi. 24 Kubanga Kristo teyayingira mu kifo ekitukuvu ekyakolebwa n’emikono,+ ekifaananyi obufaananyi eky’ekifo kyennyini,+ wabula yayingira mu ggulu mmwennyini,+ era kaakano alabika mu maaso ga Katonda ku lwaffe.+ 25 Teyakikola asobole okwewaayo emirundi mingi, nga kabona asinga obukulu bw’ayingira mu kifo ekitukuvu buli mwaka+ n’omusaayi ogutali gugwe. 26 Singa kyali bwe kityo, yandibadde alina okubonaabona emirundi mingi okuviira ddala ku ntandikwa y’ensi.* Naye kaakano yeeyolese omulundi gumu ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu asobole okuggyawo ekibi ng’ayitira mu ssaddaaka ye.+ 27 Era ng’abantu bwe balina okufa omulundi gumu, oluvannyuma omusango gulyoke gusalibwe, 28 ne Kristo naye yeewaayo omulundi gumu okwetikka ebibi by’abangi;+ era omulundi ogw’okubiri gw’alirabika talijja kuggyawo kibi, era alirabibwa abo abamunoonya okufuna obulokozi.+