Yokaana
10 “Mazima ddala mbagamba nti omuntu atayita mu mulyango ng’ayingira mu kisibo naye n’alinnya n’ayita awalala, oyo aba mubbi era munyazi.+ 2 Naye oyo ayita mu mulyango ye musumba w’endiga.+ 3 Omukuumi w’oku mulyango amuggulirawo,+ era endiga ziwulira eddoboozi lye.+ Endiga ze aziyita amannya era n’azifulumya mu kisibo. 4 Bw’amala okuzifulumya zonna, azikulemberamu ne zimugoberera kubanga zimanyi eddoboozi lye. 5 Teziyinza kugoberera muntu gwe zitamanyi wabula zimudduka kubanga tezimanyi ddoboozi lye.” 6 Yesu yabawa ekyokulabirako kino naye tebaategeera bintu bye yali abagamba.
7 Awo Yesu n’addamu n’agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti nze mulyango endiga mwe ziyita.+ 8 Abo bonna abazze nga beeyita nze babbi era banyazi, era endiga tezibawulirizza. 9 Nze mulyango; buli ayingirira mu nze alirokolebwa, era omuntu oyo aliyingira era n’afuluma n’afuna omuddo ogw’okulya.+ 10 Omubbi ajjirira kubba, kutta, na kuzikiriza.+ Nze nnajja zisobole okufuna obulamu era zibufune mu bujjuvu. 11 Nze musumba omulungi;+ omusumba omulungi awaayo obulamu bwe ku lw’endiga.+ 12 Oyo akolera empeera, atali musumba era atali nnannyini ndiga, bw’alaba omusege nga gujja, endiga azireka awo n’adduka—omusege ne guzikwakkula era ne guzisaasaanya— 13 kubanga akolera mpeera era tafaayo ku ndiga. 14 Nze musumba omulungi. Mmanyi endiga zange era nazo zimmanyi,+ 15 nga Kitange bw’ammanyi era nga nange bwe mmumanyi;+ era mpaayo obulamu bwange ku lw’endiga.+
16 “Era nnina endiga endala ezitali za mu kisibo kino;+ ezo nazo nnina okuzireeta; zijja kuwulira eddoboozi lyange era zonna zijja kufuuka ekisibo kimu, nga ziri wansi w’omusumba omu.+ 17 Kitange anjagala,+ olw’okuba mpaayo obulamu bwange+ nsobole okuddamu okubufuna. 18 Tewali muntu n’omu abunzigyako wabula mbuwaayo ku bwange. Nnina obuyinza okubuwaayo era nnina obuyinza okuddamu okubufuna.+ Ekiragiro kino nnakifuna okuva eri Kitange.”
19 Abayudaaya ne beeyawulamu nate+ olw’ebigambo ebyo. 20 Bangi ku bo baali bagamba nti: “Aliko dayimooni era agudde eddalu. Lwaki mumuwuliriza?” 21 Ate abalala baali bagamba nti: “Bino si bigambo bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni esobola okuzibula amaaso ga bamuzibe?”
22 Mu kiseera ekyo ne wabaawo Embaga ey’Okuzza Obuggya* mu Yerusaalemi. Kyali kiseera kya butiti, 23 era Yesu yali atambula mu yeekaalu mu lukuubo lwa Sulemaani.+ 24 Awo Abayudaaya ne bamwetooloola ne bamugamba nti: “Olituusa wa obutatubuulira ky’oli? Bw’oba nga ggwe Kristo, tubuulire.” 25 Yesu n’abaddamu nti: “Nnababuulira naye era temukkiriza. Ebyo bye nkola mu linnya lya Kitange bye bimpaako obujulirwa.+ 26 Naye temukkiriza kubanga temuli ndiga zange.+ 27 Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange; nzimanyi, era zingoberera.+ 28 Nziwa obulamu obutaggwaawo;+ tezirizikirizibwa era tewali n’omu alizikwakkula mu mukono gwange.+ 29 Endiga Kitange z’ampadde za muwendo okusinga ebintu ebirala byonna era tewali n’omu ayinza kuzikwakkula mu mukono gwa Kitange.+ 30 Nze ne Kitange tuli omu.”*+
31 Abayudaaya era ne baddamu okukwata amayinja bamukube. 32 Yesu n’abagamba nti: “Nnabalaga ebintu ebirungi bingi Kitange bye yalagira bikolebwe. Ku ebyo kiruwa kye munkubira amayinja?” 33 Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Tewali kintu kirungi kye wakola kye tukukubira mayinja, wabula tugakukuba lwa kuvvoola;+ kubanga ggwe, wadde oli muntu, weefuula katonda.” 34 Yesu n’abaddamu nti: “Tekyawandiikibwa mu Mateeka gammwe nti, ‘Nnagamba nti: “Muli bakatonda”’?*+ 35 Bwe kiba nti abo ekigambo kya Katonda be kyavumirira yabayita ‘bakatonda’+—ate ng’ekyawandiikibwa tekiyinza kudibizibwa— 36 kati nze Kitange gwe yatukuza era n’atuma mu nsi muŋŋamba nti, ‘Ovvoola,’ olw’okuba ŋŋambye nti ‘ndi Mwana wa Katonda’?+ 37 Bwe mba nga sikola mirimu gya Kitange, temunzikiriza. 38 Naye bwe mba nga ngikola, ne bwe muba nga temunzikiriza, mukkirize emirimu egyo,+ musobole okumanya era mweyongere okumanya nti Kitange ali bumu nange, era nange ndi bumu ne Kitange.”+ 39 Awo ne bagezaako nate okumukwata, naye n’abeemululako.
40 N’addayo emitala wa Yoludaani, ekifo Yokaana gye yasooka okubatiriza,+ n’abeera eyo. 41 Era abantu bangi ne bajja gy’ali, ne bagamba nti: “Yokaana teyakola kyamagero na kimu, naye ebintu byonna bye yayogera ku musajja ono byali bituufu.”+ 42 Era bangi abaali eyo ne bamukkiririzaamu.