Olubereberye
43 Enjala n’eba ya maanyi mu nsi.+ 2 Bwe baamalawo emmere gye baali baleese okuva e Misiri,+ kitaabwe n’abagamba nti: “Muddeeyo mutugulire ku kamere.” 3 Yuda n’amuddamu nti: “Omusajja yatulabula n’agamba nti: ‘Temuddamu okujja mu maaso gange, okuggyako nga muganda wammwe ali nammwe.’+ 4 Bw’onooleka muganda waffe n’agenda naffe, tujja kuserengetayo tukugulire emmere. 5 Naye bw’otoomuleke kugenda naffe tetujja kugenda, kubanga omusajja yatugamba nti, ‘Temuddamu okujja mu maaso gange okuggyako nga muganda wammwe ali nammwe.’”+ 6 Awo Isirayiri+ n’abagamba nti: “Lwaki mwagamba omusajja nti mulina muganda wammwe omulala ne mundeetera emitawaana gino?” 7 Ne bamuddamu nti: “Omusajja yatubuuza ebitukwatako n’ebikwata ku b’eŋŋanda zaffe ng’agamba nti, ‘Kitammwe akyali mulamu? Mulinayo muganda wammwe omulala?’ naffe ne tumubuulira ekituufu.+ Kati twanditegedde tutya nti yali agenda kutugamba nti, ‘Muleete muganda wammwe’?”+
8 Awo Yuda n’agamba Isirayiri kitaawe nti: “Omulenzi munkwase,+ tusobole okugenda; tusigale nga tuli balamu,+ ffe naawe n’abaana baffe abato, tuleme okufa.+ 9 Nja kukakasa nti tatuukibwako kabi.+ Nze gw’olivunaana. Bwe sirimukomyawo ne mmukukwasa ndiba nsobezza gy’oli obulamu bwange bwonna. 10 Kale singa tekubadde kulwa, twandibadde twatuukayo dda era nga tukomyewo n’omulundi ogw’okubiri.”
11 Awo Isirayiri kitaabwe n’abagamba nti: “Kale bwe kiba kityo, mukole bwe muti: Muteeke mu nsawo zammwe ebintu by’omu nsi eno ebisingayo obulungi mubitwalire omusajja ng’ekirabo:+ mutwale ku basamu+ ne ku mubisi gw’enjuki, amasanda agawunya obulungi,* ebikuta by’emiti egy’amasanda,+ ebinyeebwa, n’amaloozi. 12 Era mutwale ssente ezikubisaamu emirundi ebiri, muzzeeyo n’essente ezassibwa mu mimwa gy’ensawo zammwe,+ kubanga bayinza okuba nga baakola nsobi. 13 Era mutwale ne muganda wammwe muddeyo eri omusajja. 14 Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna abayambe omusajja abakwatirwe ekisa, abateere muganda wammwe omulala ne Benyamini. Naye bwe kuba kufiirwa baana bange, ka mbafiirwe!”+
15 Awo abasajja ne batwala ekirabo, ne batwala ne ssente ezikubisaamu emirundi ebiri, era ne batwala ne Benyamini, ne baserengeta e Misiri ne baddamu okuyimirira mu maaso ga Yusufu.+ 16 Yusufu bwe yalaba Benyamini ng’ali nabo amangu ago n’agamba omusajja eyali alabirira ennyumba ye nti: “Twala abasajja bano mu nnyumba otte ensolo era oteeketeeke ekijjulo, kubanga bagenda kuliira wamu nange mu ttuntu.” 17 Amangu ago omusajja n’akola nga Yusufu bwe yamugamba,+ n’abatwala mu nnyumba ya Yusufu. 18 Naye abasajja bwe baatwalibwa mu nnyumba ya Yusufu ne batya, ne batandika okugamba nti: “Batuleese eno batutwale batufuule abaddu era batwale n’endogoyi zaffe olwa ssente ezazzibwa mu nsawo zaffe omulundi ogwasooka!”+
19 Awo ne batuukirira omusajja eyali alabirira ennyumba ya Yusufu ne boogera naye ku mulyango gw’ennyumba, 20 ne bamugamba nti: “Mukama waffe, twajjako wano okugula emmere omulundi ogwasooka.+ 21 Naye bwe twatuuka mu kifo ekisulwamu ne tusumulula ensawo zaffe, era laba, ssente zaffe zonna, ssente za buli omu zaali mu mumwa gw’ensawo ye,+ era kaakano twagadde tuzizze ffe kennyini. 22 Era tuleese n’essente endala okugula emmere. Tetumanyi yateeka ssente zaffe mu nsawo zaffe.”+ 23 Awo n’abagamba nti: “Tewali mutawaana gwonna. Temutya. Katonda wammwe, era Katonda wa kitammwe ye yateeka obugagga mu nsawo zammwe. Ssente zammwe nnazifuna.” Oluvannyuma n’abaggirayo Simiyoni.+
24 Awo omusajja n’abatwala mu nnyumba ya Yusufu, n’abawa amazzi banaabe ebigere byabwe era n’awa n’endogoyi zaabwe eby’okulya. 25 Ne bateekateeka ekirabo+ eky’okuwa Yusufu ng’azze mu ttuntu, kubanga baali bawulidde nti eyo gye baali bagenda okuliira emmere.+ 26 Yusufu bwe yayingira mu nnyumba, ne bamuleetera ekirabo kyabwe ne bamuvunnamira.+ 27 Ebyo bwe byaggwa, n’ababuuza obanga bali bulungi era n’abagamba nti: “Kitammwe omukadde gwe mwayogerako ali atya? Akyali mulamu?”+ 28 Ne bamuddamu nti: “Omuweereza wo kitaffe ali bulungi era akyali mulamu.” Awo ne bakka ku maviivi ne bamuvunnamira.+
29 Bwe yayimusa amaaso ge n’alaba Benyamini muganda we, omwana wa nnyina,+ n’abagamba nti: “Ono ye muganda wammwe asembayo obuto gwe mwaŋŋambako?”+ N’agattako nti: “Katonda akulage ekisa mwana wange.” 30 Awo Yusufu n’avaawo mangu olw’okuba yali akwatiddwako nnyo olwa muganda we n’anoonya ekifo aw’okukaabira. N’ayingira mu kisenge n’akaaba.+ 31 Oluvannyuma n’anaaba mu maaso n’afuluma era ne yeezibiikiriza, n’agamba nti: “Muleete emmere.” 32 Ye ne bamuwa eyiye yekka, ne baganda be ne babawa eyaabwe bokka, n’Abamisiri abaali naye nabo ne balya bokka, kubanga Abamisiri baali tebasobola kulya na Bebbulaniya, olw’okuba ekyo kya muzizo eri Abamisiri.+
33 Baganda be ne batuuzibwa mu maaso ge, okuva ku mukulu+ okusinziira ku kifo kye ng’omwana omukulu okutuuka ku asembayo obuto okusinziira ku buto bwe; ne batunulaganako nga beewuunya. 34 N’atoola ku mmere eyali ku mmeeza ye n’agiweereza ku mmeeza yaabwe, naye gye yawa Benyamini yali ekubisaamu ey’abalala emirundi etaano.+ Ne balya era ne banywa nga bali wamu naye ne bakkuta.