Yeremiya
24 Awo Yakuwa n’andaga ebisero bibiri ebyalimu ettiini nga biteereddwa mu maaso ga yeekaalu ya Yakuwa. Ekyo kyaliwo nga Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni amaze okuggya mu Yerusaalemi Yekoniya*+ kabaka wa Yuda, mutabani wa Yekoyakimu,+ n’amutwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni awamu n’abaami ba Yuda, n’abakugu mu kukola eby’emikono, era n’abaweesi.*+ 2 Ekisero ekimu kyalimu ebibala by’ettiini ebirungi ennyo, nga biringa ebibala by’ettiini ebisooka okwengera, naye ekisero eky’okubiri kyalimu ebibala by’ettiini ebibi ennyo, nga tebiriika olw’obubi bwabyo.
3 Yakuwa n’ambuuza nti: “Kiki ky’olaba Yeremiya?” Ne mmuddamu nti: “Ndaba ebibala by’ettiini; ebibala by’ettiini ebirungi, birungi nnyo, naye ebibala by’ettiini ebibi, bibi nnyo era tebiriika.”+
4 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: 5 “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Okufaananako ebibala by’ettiini ebyo ebirungi, abantu ba Yuda abaawaŋŋangusibwa, be nnagoba mu kifo kino ne bagenda mu nsi y’Abakaludaaya, nja kubakolera ebirungi. 6 Nja kubassaako eriiso lyange ku lw’obulungi bwabwe, era nja kubakomyawo mu nsi eno.+ Nja kubazimba era sijja kubamenya; nja kubasimba era sijja kubasimbula.+ 7 Nja kubawa omutima okumanya nti nze Yakuwa.+ Bajja kuba bantu bange, era nange nja kuba Katonda waabwe,+ kubanga bajja kudda gye ndi n’omutima gwabwe gwonna.+
8 “‘Naye ng’ayogera ku bibala by’ettiini ebibi ennyo ebitasobola kuliibwa,+ Yakuwa agamba bw’ati: “Kabaka Zeddeekiya+ owa Yuda, abaami be, n’abantu b’omu Yerusaalemi abaawonawo, abo abakyali mu nsi eno n’abo abali mu nsi ya Misiri,+ nja kubatwala ng’ebibala by’ettiini ebyo. 9 Nja kubaleetako akabi bafuuke ekintu eky’entiisa eri obwakabaka bwonna mu nsi,+ era bafuuke ekivume, olugero, ekintu ekisekererwa, era ekikolimo+ mu bifo byonna gye nnaabasaasaanyiza.+ 10 Nja kubasindikira ekitala,+ enjala, n’endwadde,+ okutuusa lwe banaasaanawo mu nsi gye nnabawa bo ne bajjajjaabwe.”’”