Yeremiya
37 Awo Kabaka Zeddeekiya+ mutabani wa Yosiya n’atandika okufuga mu kifo kya Koniya*+ mutabani wa Yekoyakimu, kubanga Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni yamufuula kabaka mu nsi ya Yuda.+ 2 Naye ye n’abaweereza be, n’abantu ab’omu nsi, tebaawuliriza bigambo Yakuwa bye yayogera okuyitira mu nnabbi Yeremiya.
3 Awo Kabaka Zeddeekiya n’atuma Yekukaali+ mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya+ mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya bamugambe nti: “Tukwegayiridde tusabire eri Yakuwa Katonda waffe.” 4 Yeremiya yali yeetaaya bulungi mu bantu kubanga baali tebannamuteeka mu kkomera.+ 5 Mu kiseera ekyo Abakaludaaya baali bazingizza Yerusaalemi, naye bwe baawulira nti eggye lya Falaawo lijja okuva e Misiri,+ ne bagumbulukuka ne batalumba Yerusaalemi.+ 6 Awo Yakuwa n’agamba Yeremiya nti: 7 “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Kabaka wa Yuda eyabatumye okunneebuuzaako mumugambe nti: “Laba! Eggye lya Falaawo erijja okukuyamba lijja kuddayo mu nsi yaalyo e Misiri,+ 8 era Abakaludaaya bajja kukomawo balwanyise ekibuga kino, bakiwambe, era bakyokye omuliro.”+ 9 Bw’ati Yakuwa bw’agamba, “Temwerimbalimba nga mugamba nti, ‘Abakaludaaya bajja kutuleka bagende,’ kubanga tebajja kubaleka. 10 Ne bwe munaaba musse ab’eggye ly’Abakaludaaya bonna ababalwanyisa ne wasigalawo ab’ebiwundu bokka, abo bajja kusituka bave mu weema zaabwe bookye ekibuga kino.”’”+
11 Eggye ly’Abakaludaaya bwe lyagumbulukuka ne litalumba Yerusaalemi olw’eggye lya Falaawo,+ 12 Yeremiya n’ava e Yerusaalemi okugenda mu nsi ya Benyamini+ okufuna omugabo gwe eyo mu bantu be. 13 Naye nnabbi Yeremiya bwe yatuuka ku Mulyango gwa Benyamini, Iriya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kananiya eyali akulira abakuumi n’amukwata n’amugamba nti: “Ggwe ogenda kwegatta ku Bakaludaaya!” 14 Naye Yeremiya n’amugamba nti: “Ekyo si kituufu! Sigenda kwegatta ku Bakaludaaya.” Kyokka teyamuwuliriza. Awo Iriya n’akwata Yeremiya n’amutwala eri abaami. 15 Abaami ne basunguwalira Yeremiya,+ ne bamukuba, ne bamusibira*+ mu nnyumba ya Yekonasaani omuwandiisi, eyali efuuliddwa ekkomera. 16 Yeremiya yateekebwa mu kkomera,* mu kaduukulu akaali wansi mu ttaka, era eyo yamalayo ennaku nnyingi.
17 Awo Kabaka Zeddeekiya n’amutumya, n’abaako by’amubuuza mu kyama mu nnyumba ye.*+ Yamubuuza nti, “Waliwo ekigambo kyonna ekivudde eri Yakuwa?” Yeremiya n’amugamba nti, “Weekiri!” era n’ayongerako nti, “Ojja kuweebwayo mu mukono gwa kabaka wa Babulooni!”+
18 Ate era Yeremiya yagamba Kabaka Zeddeekiya nti: “Kibi ki kye nkukoze ggwe n’abaweereza bo n’abantu bano, mulyoke munteeke mu kkomera? 19 Kaakano bannabbi bo bali ludda wa abaakulagulanga nti, ‘Kabaka wa Babulooni tajja kujja kukulwanyisa na kulwanyisa nsi eno?+ 20 Kaakano nkwegayiridde wuliriza, mukama wange kabaka. Nkwegayiridde nkolera kye nkusaba. Tonzizaayo mu nnyumba ya Yekonasaani+ omuwandiisi, kubanga nja kufiira eyo.”+ 21 Awo Kabaka Zeddeekiya n’alagira basibire Yeremiya mu Luggya lw’Abakuumi,+ era yaweebwanga omugaati omwetooloovu buli lunaku ogwaggibwanga ku luguudo lw’abafumbi b’emigaati,+ okutuusa emigaati lwe gyaggwaawo mu kibuga.+ Yeremiya yasigala mu Luggya lw’Abakuumi.