Eseza
8 Ku lunaku olwo Kabaka Akaswero yawa Nnaabakyala Eseza ennyumba ya Kamani+ omulabe w’Abayudaaya;+ era Moluddekaayi n’ajja mu maaso ga kabaka olw’okuba Eseza yali amubuulidde nti amulinako oluganda.+ 2 Awo kabaka n’aggya ku ngalo ye empeta ye eramba+ gye yali aggye ku Kamani n’agiwa Moluddekaayi, era Eseza n’assaawo Moluddekaayi okukulira ennyumba ya Kamani.+
3 Ate era Eseza n’addamu n’ayogera ne kabaka, n’agwa ku bigere bye, n’akaaba, n’amwegayirira ajjulule olukwe Kamani Omwagagi lwe yali akoze n’akabi ke yali ateeseteese okutuusa ku Bayudaaya.+ 4 Awo kabaka n’agololera Eseza omuggo ogwa zzaabu, Eseza+ n’asituka n’ayimirira mu maaso ga kabaka. 5 Eseza n’agamba nti: “Bwe kiba nga kirungi mu maaso ga kabaka, era bwe mba nga nsiimibwa mu maaso ge era nga kisaanira mu maaso ga kabaka, era nga ndi mulungi mu maaso ge, ekiragiro ka kiwandiikibwe ekisazaamu ebiwandiiko kalinkwe Kamani+ mutabani wa Kammedasa Omwagagi+ bye yawandiika okuzikiriza Abayudaaya abali mu masaza ga kabaka gonna. 6 Kubanga nnyinza ntya okugumira okulaba akabi akanaatuuka ku bantu bange, era nnyinza ntya okugumira okulaba ab’eŋŋanda zange nga bazikirizibwa?”
7 Awo Kabaka Akaswero n’agamba Nnaabakyala Eseza ne Moluddekaayi Omuyudaaya nti: “Laba! Ennyumba ya Kamani ngiwadde Eseza,+ era ndagidde ne bamuwanika ku kikondo,+ kubanga yakola olukwe okutuusa akabi ku Bayudaaya. 8 Muwandiike mu linnya lya kabaka ku lw’Abayudaaya ekyo kye mulaba nga kirungi, era ekiwandiiko mukisseeko akabonero n’empeta ya kabaka eramba, kubanga ekiwandiiko ekiwandiikibwa mu linnya lya kabaka era ne kissibwako akabonero n’empeta ya kabaka eramba tekiyinza kusazibwamu.”+
9 Bwe kityo abawandiisi ba kabaka ne bayitibwa mu mwezi ogw’okusatu, omwezi gwa Sivaani,* ku lunaku olw’abiri mu essatu; ne bawandiika nga byonna bwe byali Moluddekaayi bye yalagira Abayudaaya, ab’amasaza,+ bagavana, n’abaami b’ebitundu,+ okuva mu Buyindi okutuuka mu Esiyopiya, amasaza 127, buli ssaza mu mpandiika yaalyo na buli ggwanga mu lulimi lwalyo, n’Abayudaaya mu mpandiika yaabwe ne mu lulimi lwabwe.
10 Yawandiika mu linnya lya Kabaka Akaswero era n’assaako akabonero ng’akozesa empeta ya kabaka eramba,+ ebiwandiiko ne bitwalibwa ababaka abaali beebagadde embalaasi ezidduka ennyo ezaakozesebwanga mu mirimu gya kabaka. 11 Mu biwandiiko ebyo kabaka yakkiriza Abayudaaya abaali mu bibuga eby’enjawulo okukuŋŋaana balwanirire obulamu bwabwe, basaanyeewo, batte, era bazikirize amagye ag’eggwanga lyonna oba ag’essaza agayinza okubalumba, awamu n’abakazi n’abaana, era banyage n’ebintu byabwe.+ 12 Kino kyali kya kubaawo ku lunaku lumu mu masaza gonna aga Kabaka Akaswero, ku lunaku olw’ekkumi n’essatu olw’omwezi ogw’ekkumi n’ebiri, omwezi gwa Adali.*+ 13 Ebyali biwandiikiddwa byali bya kuyisibwa ng’etteeka mu masaza gonna. Byali bya kulangirirwa eri abantu bonna, Abayudaaya basobole okuba abeetegefu okuwoolera eggwanga ku balabe baabwe ku lunaku olwo.+ 14 Ababaka abaali beebagadde embalaasi ezaakozesebwanga mu mirimu gya kabaka baagenderawo mangu ago, nga badduka nnyo olw’okuba kabaka yali alagidde; era etteeka lyayisibwa ne mu lubiri lw’e Susani.*+
15 Awo Moluddekaayi n’ava mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ekyambalo eky’obwakabaka ekyakolebwa mu lugoye olwa bbulu n’olweru, era ng’ayambadde engule ey’ekitiibwa eya zzaabu n’ekizibaawo ekyakolebwa mu lugoye olulungi olwa kakobe.+ Ekibuga Susani* ne kibaamu okuleekaana olw’essanyu. 16 Abayudaaya ne bafuna obuweerero,* ne basanyuka, ne bajaguza, era ne batandika okuweebwa ekitiibwa. 17 Era mu masaza gonna ne mu bibuga byonna, buli yonna ekigambo kya kabaka n’etteeka lye gye byatuukanga, Abayudaaya baasanyukanga, ne bajaganya, ne balya ebijjulo era ne bajaguza. Era abantu bangi ab’amawanga amalala ne batandika okweyita Abayudaaya,+ kubanga baali bagwiriddwa entiisa y’Abayudaaya.