Ekyamateeka
12 “Bino bye biragiro n’amateeka bye mulina okufuba okukwata ennaku zonna ze munaamala nga muli balamu mu nsi Yakuwa Katonda wa bajjajjammwe gy’anaabawa. 2 Mujja kusaanyizaawo ddala ebifo byonna amawanga ge mugenda okuwangula bye gaweererezaamu bakatonda baago;+ ku nsozi empanvu ne ku busozi ne wansi wa buli muti ogulina ebikoola ebingi. 3 Mujja kumenyaamenya ebyoto byabwe, mubetente empagi zaabwe ze basinza,*+ mwokye mu muliro ebikondo byabwe bye basinza, mutemeeteme ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe,+ era musaanyeewo amannya gaabwe mu kifo ekyo.+
4 “Yakuwa Katonda wammwe temumusinzanga nga bo bwe basinza bakatonda baabwe.+ 5 Naye munoonyanga Yakuwa Katonda wammwe yonna gy’anaalonda okuteeka erinnya lye era n’ekifo w’anaabeeranga mu bika byammwe byonna, era eyo gye munaagendanga.+ 6 Eyo gye munaatwalanga ebiweebwayo byammwe ebyokebwa,+ ne ssaddaaka zammwe, n’ekimu kyammwe eky’ekkumi,+ ne bye muwaayo okuva mu mukono gwammwe,+ n’ebiweebwayo byammwe eby’obweyamo, n’ebiweebwayo byammwe ebya kyeyagalire,+ n’ebibereberye by’amagana gammwe, n’eby’ebisibo byammwe.+ 7 Era eyo mu maaso ga Yakuwa Katonda wammwe,+ mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe gye munaaliiranga era ne musanyuka olw’ebyo byonna bye munaabanga mukola,+ kubanga Yakuwa Katonda wammwe aliba abawadde omukisa.
8 “Temukolanga nga bwe tukola wano leero, nga buli omu akola ekyo ky’alaba nti kye kituufu mu maaso ge,* 9 kubanga temunnatuuka mu kifo kya kuwummuliramu+ era mu busika Yakuwa Katonda wammwe bw’agenda okubawa. 10 Bwe munaasomoka Yoludaani+ ne mutandika okubeera mu nsi Yakuwa Katonda wammwe gy’agenda okubawa, ajja kubawa ekiwummulo ng’abawonya abalabe bammwe ababali ku njuyi zonna, era mujja kubeera mu mirembe.+ 11 Ekifo Yakuwa Katonda wammwe ky’anaalonda erinnya lye okubeeramu+ gye munaatwalanga ebyo byonna bye mbalagira: ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, ne ssaddaaka zammwe, n’ekimu kyammwe eky’ekkumi,+ ne bye muwaayo okuva mu mukono gwammwe, na buli kiweebwayo kye muneeyamanga okuwaayo eri Yakuwa. 12 Era munaasanyukiranga mu maaso ga Yakuwa Katonda wammwe,+ mmwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe n’abaddu bammwe abasajja n’abakazi n’Abaleevi abali mu bibuga* byammwe, kubanga tebaaweebwa mugabo wadde obusika mu mmwe.+ 13 Weegendereze oleme kuweerayo biweebwayo byo ebyokebwa mu kifo ekirala kyonna ky’onoolaba.+ 14 Naye ekifo Yakuwa ky’aneeroboza mu kitundu eky’ekimu ku bika byo gy’onooweerangayo ebiweebwayo byo ebyokebwa, era eyo gy’onookoleranga byonna bye nkulagira.+
15 “Naye buli lw’onooyoyanga okulya ennyama,+ onottanga ensolo n’olya ennyama mu bibuga* byo byonna nga Yakuwa Katonda wo bw’anaabanga akuwadde omukisa. Omulongoofu n’atali mulongoofu bayinza okugirya nga bw’olya enjaza n’empeewo. 16 Kyokka gwo omusaayi temugulyanga.+ Munaaguyiwanga ku ttaka ng’amazzi.+ 17 Tokkirizibwenga kuliira mu bibuga byo ekimu eky’ekkumi eky’emmere yo oba eky’omwenge gwo omusu oba eky’amafuta go oba ebibereberye eby’amagana go n’eby’ebisibo byo+ oba ekiweebwayo kyo kyonna eky’obweyamo ky’oneeyamanga oba ebiweebwayo byo ebya kyeyagalire oba ebyo by’onoowangayo okuva mu mukono gwo. 18 Naye onoobiriiranga mu maaso ga Yakuwa Katonda wo mu kifo Yakuwa Katonda wo ky’aneeroboza,+ ggwe ne mutabani wo ne muwala wo n’omuweereza wo omusajja n’omukazi n’Abaleevi abali mu bibuga* byo; era ojja kusanyukiranga mu maaso ga Yakuwa Katonda wo mu byonna by’onookolanga. 19 Weegendereze oleme kusuulirira Muleevi+ ennaku zonna z’onoobeera mu nsi yo.
20 “Yakuwa Katonda wo bw’aligaziya ensi yo+ nga bwe yakusuubiza,+ era n’ogamba nti, ‘Njagala kulya ku nnyama,’ olw’okuba oliba oyoyezza okulya ennyama, onoogiryanga buli lw’onoogiyoyanga.+ 21 Ekifo Yakuwa Katonda wo ky’aneeroboza okuteekamu erinnya lye+ bwe kinaabeeranga ewala okuva w’obeera, onottanga ku bisolo by’omu ggana lyo oba ku by’omu kisibo kyo Yakuwa by’akuwadde, nga bwe nnakulagira, n’oliira ennyama mu bibuga* byo buli lw’onoogiyoyanga. 22 Onoogiryanga nga bw’olya enjaza n’empeewo;+ omulongoofu n’atali mulongoofu bayinza okugirya. 23 Malirira obutalyanga musaayi,+ kubanga omusaayi bwe bulamu+ era tolyanga obulamu wamu n’ennyama. 24 Togulyanga. Onooguyiwanga ku ttaka ng’amazzi.+ 25 Togulyanga, olyoke obeerenga bulungi ggwe n’abaana bo abaliddawo, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Yakuwa. 26 Ebintu byo ebitukuvu n’ebiweebwayo byo eby’obweyamo by’onootwalanga ng’ogenda mu kifo Yakuwa ky’aneeroboza. 27 Onooweerangayo eyo ebiweebwayo byo ebyokebwa, ennyama n’omusaayi,+ ku kyoto kya Yakuwa Katonda wo; era omusaayi gwa ssaddaaka zo gunaayiibwanga wansi ku kyoto+ kya Yakuwa Katonda wo, naye yo ennyama onoogiryanga.
28 “Fubanga okukwata ebigambo bino byonna bye nkulagira, olyoke obeerenga bulungi ggwe n’abaana bo abaliddawo emirembe gyonna, kubanga onoobanga okoze ekirungi era ekituufu mu maaso ga Yakuwa Katonda wo.
29 “Yakuwa Katonda wo bw’anaazikiriza amawanga g’ogenda okugoba,+ n’otandika okubeera mu nsi yaago, 30 weegendereze oleme kutwalirizibwa nga gamaze okuzikirizibwa mu maaso go. Tobuuzanga bikwata ku bakatonda baago ng’ogamba nti, ‘Amawanga gano gaaweerezanga gatya bakatonda baago? Nange bwe ntyo bwe nnaakola.’+ 31 Yakuwa Katonda wo tomusinzanga nga bo bwe bakola, kubanga bakolera bakatonda baabwe ebintu byonna eby’omuzizo Yakuwa by’atayagala, era bookya batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro nga babawaayo eri bakatonda baabwe.+ 32 Buli kigambo kye mbalagira kye muba mufuba okukola.+ Temukyongerangako wadde okukitoolako.+