Engero
31 Ebigambo bya Kabaka Lemweri; obubaka obukulu nnyina bwe yamuwa okumuyigiriza:+
2 Nkugambe ki, mwana wange,
Nkugambe ki, omwana w’enda yange,
Nkugambe ki, omwana ow’obweyamo bwange?+
4 Lemweri, bakabaka tebagwanidde
Bakabaka tebagwanidde kunywa mwenge,
Era n’abafuzi tebagwanidde kugamba nti, “Omwenge gwange guliwa?”+
5 Baleme okunywa ne beerabira amateeka
Era ne batakola ku nsonga z’abanaku.
7 Leka banywe beerabire obwavu bwabwe;
Baleme okujjukira ebizibu byabwe.
8 Yogerera abo abatasobola kweyogerera,
Era lwanirira abo abagenda okufa.+
א [Alefu]
10 Ani ayinza okuzuula omukyala omulungi?+
Wa muwendo okusinga amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja.*
ב [Besu]
11 Omwami we amwesiga n’omutima gwe gwonna,
Era omwami we tajula kintu kyonna kya muwendo.
ג [Gimeri]
12 Amukolera birungi, so si bibi,
Ennaku zonna ez’obulamu bwe.
ד [Dalesi]
13 Afuna ebyoya by’endiga ne kitaani;
Era ayagala nnyo okukola n’emikono gye.+
ה [Ke]
ו [Wawu]
ז [Zayini]
ח [Kesu]
ט [Tesu]
18 Alaba nga by’atunda bireeta amagoba,
Era ettaala ye tezikira kiro.
י [Yodi]
19 Engalo ze zikwata akati okuzingiddwa ebyoya by’endiga,
Era zikwata n’akati akalanga wuzi.+
כ [Kafu]
20 Ayamba abanaku,
Era agabira abaavu.+
ל [Lamedi]
21 Mu budde obunnyogovu teyeeraliikirira ku lw’ab’omu nnyumba ye,
Kubanga baba bambadde engoye ezibugumya.*
מ [Memu]
22 Yeekolera eby’okwebikka,
Era engoye ze zaakolebwa mu kitaani n’ebyoya by’endiga ebya kakobe.
נ [Nuni]
ס [Sameki]
24 Aluka engoye eza kitaani* n’azitunda,
Era aguza abasuubuzi emisipi.
ע [Ayini]
25 Wa maanyi era wa kitiibwa,
Era teyeeraliikirira biseera bya mu maaso.*
פ [Pe]
צ [Sade]
ק [Kofu]
28 Abaana be basituka ne bamutendereza;
N’omwami we asituka n’amutendereza.
ר [Lesu]
29 Abakyala abalungi bangi,
Naye ggwe obasinga bonna.
ש [Sini]
30 Okusikiriza kuyinza okulimba, n’obulungi buyinza okuggwaawo amangu,*+
Naye omukazi atya Yakuwa y’atenderezebwa.+
ת [Tawu]